TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebimu ku bintu by'otasaanye kusubwa mu musomo (Great Sun downer)ogutegekeddwa Omukenkufu Julius Nyanzi

Ebimu ku bintu by'otasaanye kusubwa mu musomo (Great Sun downer)ogutegekeddwa Omukenkufu Julius Nyanzi

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd October 2018

Ebimu ku bintu by'otasaanye kusubwa mu musomo (Great Sun downer)ogutegekeddwa Omukenkufu Julius Nyanzi

Cab2 703x422

Omukenkufu Julius Nnyanzi ng'asomesa abantu mu musomo ogw'asooka

EKIMU ku biyinza okuyamba abantu okwekulaakulanya kwe kwegatta, kino kyangu kubanga bakubaganyiza wamu ebirowoozo ku bintu ebiyinza okubatwala mu maaso.

Mu mbeera eno, aba Prof Bioresearch twasalawo buli mwaka okutegeka olukuhhaana mwe twegattira n’abantu ab’enjawulo naddala abo bakasitoma baffe ne tugabana nabo amagezi ag’enjawulo agasobola okukyusa obulamu bwabwe okwo gattako okubayigiriza engeri gye bayinza okugatta omutindo ku bye balima n’okubalaga ennima ey’omulembe.

Mu musomo guno ogw’omulundi ogwokusatu ogwa ‘The Great Sundowner’ (kino kitegeeza nti enjuba ebeera egwa). Abazungu bakozeseza obudde buno ne boogera ku nsonga ezibazimba.

Mu mbeera eno tugenda kwogera ku bintu bina; saayanzi ne tekinologiya, ennima ey’omulembe, enzijjanjaba y’obutonde n’okutandikawo obukolero. Tulowooza ssinga tukwata ku bintu bino kigenda kuyamba omuntu atalina mulimu okwetandikirawo omulimu ate agulina asobola okwongerako omulimu omulala n’agaziya ennyingiza ye naddala abakyala ate bo basobola n’okukolera awaka.

 ngeri gye balembeka amasanda ga payini Engeri gye balembeka amasanda ga payini.

 

OKULIMA N’OKULUNDA Ekimu ku bigenda okusomesebwa y’ennunda y’enseenene. Abantu abamu tebakimanyi nti kisoboka okulunda enseenene naye mwattu kisoboka. Kubanga enseenene zirya bulo n’ebigimusa ng’obusa okuggyako n’okuziteeremu omusenyu mwe zibiikira amagi kubanga zibiikira mu ddungu naddala okusinga erya Kalahari e South Africa gye zisinga okubiika amagi era gye ziva okutuuka kuno.

Ogenda kuyiga bw’osobola okufuna amagi g’enseenene n’okuzirunda ng’osobola okubeera nazo ekiseera kyonna n’otalinda zino zigwa mu sizoni n’okola ssente. Ekirala abalimi b’emiti gya payini tugenda kukuyigiriza bw’ogikamulamu amasanda n’ofunamu ssente ate nga tokosezza muti ng’ogenda kusigala nga ojja kugusalamu embaawo. Olw’okuba wano tebadde nkola okulembeka amasanda ga payini, weesanga ng’abamusimba bafiirwa ssente olw’okulinda embaawo zokka.

Ng’oggyeeko okukolamu butto ajjanjaba abantu endwadde okuli kandida, namusuna, oluwumu, amabwa, embalabe n’ebirala.Wabula amasanda ga payini bagakolamu swiiti ow’okugaaya, amasanda agagatta embaawo n’ebipiira, bakolamu emi[iira gy’emmotoka n’ebirala. Abantu baakusoma bwe bagattako omutindo ku masanda n’okumanya akatale wekali kubanga kagazi mu Uganda n’ebweru.

Nkusuniddeko ku bigenda okubaayo ne wiiki ejja nja kwongera okukulamululira ku nnyama eva mu ffene n’okugatta omutindo ku nnaanansi. Ojja kusomesa ku ‘Black pepper’ mu musomo gwa ‘The great sundowner’ nga November 01, 2018 ku wooteeri ya Equatorial mu Kampala.

Tujja kusomesa n’ebintu ebirala okuli okulima flax, okukola ennyama okuva mu ffene, emirimu gy’oyinza okukolra awaka n’ofuna ssente, okugatta omutindo ku masanda ga payini n’ebirala. Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Img0317webuse 220x290

Obuwempe bw’oku mmeeza mwe nzudde...

Okuluka obuwempe bw'oku mmeeza mwe nazuula omukisa gw'okukola ssente

Aktalewebuse 220x290

Ab'e Kamuli bakaaba lwa mbeera...

Embeera y'akatale ne ppaaka y'e Kamuli bitulemesezza okukola ssente

Isaakwebuse333 220x290

Ensonga lwaki tolina kufumbira...

Ekivaako abantu okufiira mu nnyumba mwe bafumbira

Aging1 220x290

Ebyange ne Grace Khan bya ddala...

ABABADDE balowooza nti Kojja Kitonsa n’omuyimbi Grace Khan bali ku bubadi muwulire bino.

Anyagatangadaabirizaemupikizabakasitomabewebuse 220x290

Okukanika kumponyezza okukemebwa...

Okukola obwamakanika kinnyambye okwebeezaawo n'okuwona okukemebwa abasajja olwa ssente