TOP

Kitatta gamwesibye ku by’okuyimbulwa

By Musasi wa Bukedde

Added 24th October 2018

Kitatta gamwesibye ku by’okuyimbulwa

Seb2 703x422

Abdallah Kitatta ng'ava mu kaduukulu ka kkooti eggulo

EYALI omuyima wa bodaboda 2010, Abudallah Kitatta eby’okuyimbulwa kwe byesibye oludda oluwaabi bwe lumwongeddeko akazito nga luwakanya ensonga ze yateeka mu kusaba kwe okw’okweyimirirwa kwe yassa mu kkooti. Captain Samuel Masereje, ku ludda oluwaabi yawadde kkooti y’amagye ensonga kwe baasinzidde okuwakanya okuyimbulwa kwa Kitatta mu kirayiro ekyakubiddwa eyakulira okunoonyereza mu misango gyonna egivunaanibwa Kitatta ne banne.

Mu kirayiro kino ekyakubiddwa Maj. David Katambuka akola n’ekitongole ekikessi ekya SIB (Special Investigations Bureau) yategeezezza kkooti eno ekulirwa Lt. Gen. Andrew Gutti nti ye yakulira okunoonyereza ku misango egivunaanibwa Kitatta era tawagira kya kkooti kumuyimbula okusinziira ku bye yazuula.

Yategeezezza kkooti nti, Kitatta musajja alina obusobozi bwonna okutaataaganya abajulizi kubanga basula mu kitundu ky’e Lubaga Kitatta ky’akulira nga Ssentebe wa NRM ate nga Ssentebe wa bodaboda 2010 erina abantu abangi mu kitundu ekyo n’asaba agira abeera mu kkomera.

Masereje era yategeezezza kkooti nti, bannamateeka ba UPDF bawabudde nti okusinziira ku kitabo ekigobererwa ng’omuntu akkirizibwa okweyimrirwa, omuntu abeera alina okulaga kkooti ebbaluwa okuva mu kkomera gy’akuumiirwa ekakasa nti ddala obulwadde bwe ab’amakomera bubalemeredde kyokka kino Kitatta teyakiraga. Ebbaluwa yaleeta z’e Luzira kyokka ng’akuumira Makindye.

Bano era bagamba nti, Makindye lye limu ku makomera agalina obujjanjabi obwawaggulu naye Kitatta alabika tabanjuliranga bulwadde bwe ng’ayagala bumulume ayimbulwe, oludda oluwaabi ne lusaba akaligibwe okutuusa ng’omusango guwedde.

Ekyekwaso eky’emyaka nakyo bakigobye nga bagamba nti omuntu owa 39 aba wa maanyi nnyo era talina nsonga ebeera emukkiriza kuyimbulwa kubanga abakadde n’abaana abato ennyo amateeka be gakkiriza okuyimbula ku kakalu ka kkooti. Oludda oluwaabi lulumiriza nti, emisango egivunaanibwa Kitatta gya naggomola era omuntu avunaanibwa emisango egyo abeera talina kuyimbulwa wadde nga ddembe lye erimuweebwa Ssemateeka.

Looya wa Kitatta eyamusabira okuyimbulwa, Sienna Owomugisha yeegayiridde kkooti ereme kutunulira ebyo oludda oluwaabi bye luleese wabula ekozese obuyinza bwayo eyimbule Kitatta yeetaaye. Gutti awadde olwa November 6, kkooti lw’eneesalawo oba Kitatta ayimbulwa okuva mu kkomera lya miritale poliisi e Makindye gye yaakamala emyezi mwenda.

Okusooka omujulizi, Maj. David Agaba yabuuziddwa ebibuuzo okuva mu baalooya ba Kitatta okuli Shaban Sanywa, Martin Mututa ne Emmanuel Turyomwe, , kyokka Agaba yakakasizza nti emisango gyonna egivunaanibwa Kitatta mituufu. Kitatta ne banne bavunaanibwa emisango mukaaga egy’okusangibwa n’emmundu eya zaabu, eya pisito n’endala ekika kya SMG, amasasi agasoba mu 30, ebyambalo by’amagye ssaako ebissi ebirala okuli ebijambiya emisumeeni n’emitayimbwa nga byonna baabirina mu bukyamu.

Bano baakwatibwa nga Januray 19, 2018 ne nga 21 lwe baakwata mukama waabwe Kitatta yennyini

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....