TOP

Abeebijambiya balumbye ab’e Kagoma

By Musasi wa Bukedde

Added 24th October 2018

Abeebijambiya balumbye ab’e Kagoma

Lib2 703x422

Emirambo gy’abattiddwa nga giteekebwa ku kabangali ya poliisi.

ZAABADDE ssaawa 6:00 ogw’ekiro ekyakeesezza Olwokubiri ababbi abaabadde basoba mu kkumi ne batandika okutigomya abatuuze nga bano baabadde balina n’ejjambiya n’obwambe.Bye baabadde bakozesa okutiiisatisa abatuuze okubawa ssente. Abatuuze nabo beekozeemu omulimu ne battako basatu. Obubbi obubadde buyitiridde mu bitundu by’e Maganjo ne Kagoma.

Ku mulundi guno ababbi bazze n’akakodyo k’okutambulira mu kibinja. Waliwo omukyala eyategeerekeseeko erya Ndagire gwe baayingiridde ne bamubba obutamulekera kantu. Ono ye yakubye enduulu eyasombodde baliraanwa olwo ne batandika omuyiggo.

Baakutteko basatu era baabatissa miggo n’amayinja. Tekwabadde wa mu kitundu. Ku bafu kuliko eyasangiddwa n’omwambe omwogi.

Omutuuze Naume Namusisi agamba nti ekikolwa kino kibeere kya kuyiga eri abavubuka abalala abeenyigira mu butemu nti kino ekyalo kyo kyetegekedde anakyahhahha yenna.

Abatuuze bategeezezza nti ebiduula ebiyitiridde mu kitundu bye bibudamya abamenyi b’amateeka, nebava omwo okubalumba. Oluvannyuma Poliisi yazze n’etwala emirambo gy’abagenzi e Mulago ng’okunoonyerezza bwe kugenda mu maaso era omusango guno guli ku fayiiro nnamba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....