TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri Bamalaaya gye bakozesaamu Kalifoomu okubba abasajja

Engeri Bamalaaya gye bakozesaamu Kalifoomu okubba abasajja

By Musasi wa Bukedde

Added 24th October 2018

Engeri Bamalaaya gye bakozesaamu Kalifoomu okubba abasajja

Kab1 703x422

Abakazi abagambibwa okuba bamalaaya abaakwatibwa e Nakulabye.

ENSIMBI bwezongedde okufuuka enzibu okufuna abakazi abafere b’omukwano ne bamalaaya abalejjesa emibiri ne bayiiya obukodyo bw’okuziggya mu basajja mu bulungi ne mu bubi. Bali mu Kampala n’emiriraano mpozzi n’ebitundu ebirala.

Bano bwe bakwata ku basajja ekigendererwa kyabwe kibeera kya kubanyaga ssente ze balina ng’oluusi bazingiramu ebiwandiiko n’essimu. Akamu ku bukodyo mwe bongedde okunyagira abasajja ke k’okusendasenda omusajja naddala be balaba nga balina ku ssente ne babasaba babakyalireko gye basula kyokka bwe kakutanda n’oyitika okugendayo nga bakuwendulira abasajja abakukwata nga bagamba nti bakusanze okusinda omukwano ne mukazi waabwe.

Nashim Musoke abeera e Makindye akakodyo kano akanyumya nga lutabaalo. Agamba nti lumu yali agenze mu bbaala ne mikwano gye ne basanga abakazi abanyirira. Omu ye yasooka okujja we twali nga yeefudde abuliddwa ekifo ekirala w’atuula. Yatubuuza bulungi naye abeera tannabugumya na mbooge banne abalala ne bayingirawo. Twanywamu nabo wabula oluvannyuma tuba twawukana ne tuwaanyisiganya ennamba za ssimu.

Oluvannyuma lw’emyezi ng’ena omu ku bawala yankubira essimu wadde nnali namwerabira n’anneeyanjulira nga bwe twasisinkana mu bbaala emu ne musanyusa. Yansaba tusisinkanemu olwo ng’antegeezezza nti abeera Nakulabye.Olwatuuka e Nakulabye natuukira we yandagirira era olwamukubira essimu n’ajja ate n’annyongerayo we yali asula era emmotoka nagisimba mu luggya.

Okutuuka mu muzigo mw’asula yeebuga nnyo n’antegeeza nga bw’anoonya omulimu ogw’okukola nange ne musuubiza omugerezaako. Yambuuza kye nywa wabula mba nkyerowooza n’afuluma nti andeetera sooda wabula mbeera nkyatudde abasajja babiri ne bayingirawo omu n’abwatuka omulundi gumu nti ssebo leero nkukutte ggwe osigula mukyala wange.

Omuwala yabayingirira ku mugongo kyokka okwandibadde okumpolereza yafuluma omuzigo ng’alaba bantabukidde nga batandise okunnyambula n’okunkuba. Bandeka ndi bute ne batandika okunkuba ebifaananyi ku ssimu era mba nkyewozaako ne wajja omwami gwe bannyanjulira nga ssentebe.

Bwe baamunnyonnyola ekiriwo kwe kutusaba tuteese ensonga tuleme kuzitwala wala. Olwo baali bandaalise dda ng’ebifaananyi bwe bagenda okubisaasaanya ku facebook ne WhatsApp oba si kyo mbawe obukadde 3.

Mu kiseera ekyo nalinamu 360,000/- era mu kutya okungi ne nzibawa kyokka nga bwe bampeeka endala. Nakubira mukulu wange nga naye teyalinaawo ssente ne nkubira omulala eyajja kyokka bwe baategeera nti muserikale ne beemulula naffe ne tugenda tufune abaserikale abalala tubakwate.

Bwe twaddayo twasangawo omuwala omulala n’omuvubuka munda nga naye bamutadde mu bufere bwe bumu poliisi n’ekwata omuwala era bwe twetoolola emmanju w’akazigo nga nooli omuwala eyakola omupango gyali ne bakwatibwa kyokka nga ssente zange bazinzigyemu.

Mu May w’omwaka guno waliwo omuvubuka Hussein Ssekimuli eyasangibwa mu kazigo ke yali yakapangisa ng’afiiriddemu kyokka okusinziira ku baliraanwa kigambibwa nti yattibwa bamalaaya nga yosooka kujja n’omu ate omulala n’amwegattako nga kirabika ye yamuzigirira nga bw’alina ssente.

Kigambibwa nti bino byali Kasubi era abakyala baafuluma ssaawa 2.00 ez’ekiro kyokka bagenda okutuuka enkeera nga Ssekimuli mufu. Nga September 24, 2018 abakyala baneekoleragyange ku William Street kigambibwa nti baatayiza omusajja Teijje Tereje eyali abayitako ku lubalaza okumpi n’ebbaala ya ‘’Top pub” ne bamusikaasikanya ne bamuyingiza loogi eri okumpi awo ne bamubbako ebintu bye byonna era abaali okumpi nga balaba be baatemya ku poliisi ya CPS eyasitukiramu n’ekwata bamalaaya 6 abaali beenyigidde mu kikolwa kino.

Obukodyo obulala mwe bayita okubba abasajja mulimu

  1. Okusiiga kalifoomu ku mabeere. Kano akakodyo kettaniddwa nnyo bamalaaya. Bw’omusanga n’omukwana ng’akugamba ye tagenda wuwo nga muteesa kugenda mu loogi bw’atuukayo nga yeefuula agenda mu kinaabiro okunaabako ng’asiiga kalifoomu ku mabeere era oluba okudda g’asooka okukutega era oluganuuna ng’otandika mpola okuggwaamu amaanyi ekiddirira kwebaka. Wano aleka akunyaze buli k’olina mu nsawo.
  2. 2. Bakozesa abasajja abalala okukuggyamu ensimbi. Abakyala abamu bambala bulungi ne bagenda mu bifo ebisanyukirwamu ng’omukwana. Ono bwati takutawaanya era akulaga nga kiyinza okuggweera awo era bwe kakutanda n’okkiriza okugenda mu loogi ng’atemya ku banne nga bakulinnya akagere era oluba okutuuka mu loogi ng’abasajja bakonkona nga bacwana nga bwe bakukutte ne mukazi waabwe olwo nga batandika kukupeeka ssente bw’oba toyagala kukwongerayo ku poliisi oba kukuswaza ku mikutu gya ‘social media’
  3. 4. Bakolagana n’abavubuka ababbi Omukazi bw’amanya nti olina emmotoka bwe muba muyingira mu loogi babeera ne ssabuuni mu nsawo zaabwe ng’akugamba nti ebisumuluzo leeta tubitereke muno. Olw’omukwano gwobaako essaawa eyo naawe ng’obiwaayo ky’akola ng’ekisumuluzo akituuza ku ssabbuuni nga bagenda bakisazisa. bwe mwawuka wayita ebbanga ttono ng’emmotoka bagibba. Emirundi egisinga bakubba oli naye nga yabuulira n’ababbi ekigenda mu maaso, akusalira amagezi n’olwawo okukebera ku mmotoka ogenda okizuula nga batuuse wala. 5.Bakuba abasajja obuyondo n’okubazinga mu masuuka.
  4. Ng’oggyeko abakyala abalala ababbisa obukodyo obutali bwa kitemu ate bamalaaya abamu batuuka ku mbeera y’okukuba abasajja ababa babaguze obuyondo ku mitwe ne bazinga mu masuuka nga bafudde. 6. Bakozesa obwana obuto ne bakazi bannaabwe ne babateeka wansi w’ebitanda. olutuuka munda mu loogi gy’aba akututte bw’oyambulamu empale takukkiriza kugiwanika akugamba ogiteke wansi olwo abali wansi w’ekitanda ne bagikebera mugenda okumaliriza nga tosigazza kantu nakamu. Ate tolina bw’omulumiriza kuba obwedda muli mwenna era awo akujuliza nga bwe wabisudde dda.
  5. 7. Bayuza obupiira (kondomu). Bano abamu balina omuze gw’okulagira abasajja okwambala obupiira era akola olukujjukujju n’ayuza akapiira olwo n’akugamba nga bwoyinza okubanga ng’omulwaziza, omufunyisizza olubuto. Olwo akugamba musooke mugende mwekebeze bw’alaba ogaana ng’akusaba obukadde nga bubiri naawe olw’okutya okuswala bw’oba ozirina oziwaayo.
  6. 7. Bakozesa akakodyo k’okunaaba. Emirundi egisinga bakolagana ne bannanyini loogi ne muyingira olumala okweyambula mwesanyuse ng’akutegeeza nga bw’awulira ebbugumu era mwetaaga okunaaba olwo mulyoke mubeeko kye mukola. Akugamba osookeeyo mu kinaabiro kubanga ye alina ensonyi naawe olw’okuba weesunga kyogendako ng’okkiriza ogenda okudda nga taliiwo, okubuuza bannannyini loogi nga bakutegeeza nti yaakafuluma ate bano batwala empale oleme kwanguwa kubagoberera. 8. Bakwata mu nsawo z’abasajja Abamu kasita amanya ensawo mw’otadde ssente akuweeweeta n’akuteeka mu mbeera nalyoka akubba.
  7. 9. Betunda mu biwagu. Kano akakodyo bakakozesa nnyo ,ennaku zino, bw’omusanga n’omusiima ng’akugamba nti okwesanyusaamu nga tonkubye kiisi ziba 10,000/- olutuuka eyo nga akugamba bw’oba oyagala kiisi osasula 20,000/- ate bwoba oyagala okukwata ku bbeere ziba 40,000/- Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyesigire yategeezezza nti abakola ebikolwa nga bino poliisi efuba okubakwata ng’eyita mu bikwekweto by’ekola ne basindikibwa mu kkooti. Alabula abantu okuba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo