TOP

Owa DP alaze amagye we gaamusozze emmundu

By Musasi wa Bukedde

Added 27th October 2018

Owa DP alaze amagye we gaamusozze emmundu

Lab1 703x422

OMUVUBUKA wa DP Yusuf Kawooya eyakubwa bannamagye ng’akwatibwa alaze ebisago ebyamutuusibwako n’ategeeza nti akyali mu bulumi. Kawooya yagambye nti baamukebedde ne bazuula ng’ebisago by’alina tebyakoma ku ngulu ku mubiri wabula byeyongera munda. Nti ekigala ky’emmundu kye baamukuba kyakosa ezimu ku mbiriizi munda. Kawooya yayimbuddwa ku Lwokusatu n’akwasibwa aba famire ye ne bamutwala butereevu mu ddwaaliro lya Kampala Hospital e Kololo.

Abasawo baamututte mu byuma ne basooka bamukuba ebifaananyi okutandikira ku kifuba n’okutuuka mu kiwato. Ekifaananyi kiraga nti ezimu ku mbiriizi ku ludda owa kkono zaakosebwa oluvannyuma lw’okumukuba obubi ebigala by’emmundu n’okumukulula ku kkoolaasi nga bamukwata.

Yalaze ekiwundu ekinene ku lubuto n’omukono n’ategeeza nti ebimu lwakuba bikaze naye nti munda obulumi abuwulira. Kawooya yategeezezza nti akatambi kaasinga kulaga kigala kya mmundu kye baamukuba ku bbunwe kyokka tekaalaga ngeri gye yatulugunyizibwa n’okukubwa ssaako okunyoolebwa emikono n’amagulu.

Yalaze ekiwundu ku mukono n’ebirala ku maviivi ssaako ebifaananyi ebiraga engeri obuvune gye bwamukosa munda mu lubuto n’amagumba ng’obulumi bukyali bw’amaanyi.

OKUTAMBULA Yategeezezza nti kye yasooka okunnyonnyolwa banne be yasangayo era n’akitegeera nti bw’ageza n’alaga nti alina obulumi tagenda kukkirizibwa kulaba muntu yenna wadde owa famire ye. “Babadde bakeera kumpa ddagala era buli lwe mbadde ndaba ng’abaserikale weebali nga nnegumya ng’atalina wannuma okusobola okunzikiriza ndabe abantu bange,” Kawooya bwe yagambye. Yagambye nti ekyamuyisizza mu mitayimbwa kulaga nti mulamu nnyo era asobola n’okweweta.

“Olowooza abaserikale bwe bakulaba ng’otambula oyuuga basobola okukuyimbula. Nabadde nkakasa kye baabadde baagala okulaba nti ndi mulamu nnyo naye nga nze mmanyi kye mpulira munda,” Kawooya bwe yagambye. Yategeezezza nti abadde asula ku seminti wansi asobole okukala n’okwongera okutereera omubiri kubanga abadde ayagala kulaba ku bantu be.

ABAAMUKUBA Yagambye nti baatwalamu ng’omutujju kubanga engeri gye baamukubamu yali mbi ddala awatali musango gwonna gwe bamugguddeko. Yeekokkodde munne gwe yayogeddeko nga ‘Dan’ nti alabika ye yawubisa abaserikale n’abawa amawulire amakyamu.

Yamalirizza alabula abantu okwegendereza be boogera nabo kuba kati abantu abasinga mu Uganda baafuuka bambega. “Mpulira ennaku okulaba nga bagamba nti nasemberera awaali mmotoka za pulezidenti. Ebbanga lye maze mu Kampala sisembererangako wali pulezidenti era neewuunya okunzisaako kye simanyi”, bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Leero mu mumboozi y'omukenkufu...

Leero mu mumboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'empirinvuma okulwanyisa obulumi ng'oli...

Kuba1 220x290

Abalamuzi mu nsi za Afrika 5 basisinkanye...

HENRY Peter Adonyo akulira ettendekero ly’abalamuzi akubirizza abalamuzi ba Kkooti Enkulu okwenyigiranga mu misomo...

Haki 220x290

Kamoga atongozza hakki eyookuna...

HAJJI Muhammadi Kamoga naye nno tasaaga. Ayingizzaawo hakki eyookuna Zanei Birungi.

Tuula 220x290

Spider Roxy atandise okukokoolima?...

ABANTU abaalabye omuyimbi Spider Roxy n’ekyana nga beekuba obuwuna n’obwama baasigadde beebuuza oba naye yatandise...

Tuma 220x290

Omuwala yankyawa lwa bwavu

NZE Wilson Musoga, nzaalibwa mu disitulikiti y’e Mayuge. Mu 2018, nnasalawo okufuna omwagalwa era amaaso gansuula...