TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri amagye gye gaakutte akulira Abatabbuliiki e Kawaala

Engeri amagye gye gaakutte akulira Abatabbuliiki e Kawaala

By Musasi wa Bukedde

Added 27th October 2018

Engeri amagye gye gaakutte akulira Abatabbuliiki e Kawaala

Hab2 703x422

Mukyala wa Kalule ng’ali n’abaana baabwe.

AKULIRA Abatabbuliiki e Kawaala abasirikale abagambibwa okuba aba CMI bamukutte ne bamutwala, aba famire ye n’abantu b’akulembera ne basigala nga basobeddwa. Abubakar Kasule y’abadde akulira Abatabbuliiki ku Masgid Noor e Kawaala mu zooni B nga kuno agattako okusomesa eddiini ku Haibah Primary School e Gganda.

Abaamukutte bajjidde mu mmotoka ya takisi kamunye ng’ava kusaala sswala ya Isha ku ssaawa nga 3:00 ez’ekiro ku Lwokusatu nga n’okutuusa kati tannamanyika gyali. Umar Wambuzi annyonnyola bwati Abasajja abaamututte bansanze naye nga twakamala okusaala nga n’abaana ba Kalule abalenzi babiri tuli nabo nga tudda waka. Abasajja babiri nga bali mu ngoye ezaabulijjo baatusanze tunaatera okwawukana Kalule akyame ku lidda ewuwe ne batuyimiriza.

Baalagidde Kalule ayimirire boogereko naye wabbali, era naye kye yakoze. Baamuzzizza ku bbali ne bamulagira abalage essimu ye kubanga yabaddemu obubaka bwe baabadde beetaaga okulaba ne bamulagira atambule ng’adda ku mmotoka yaabwe kamunye UAG 065R. Mmotoka yabadde erabika nga mpya kyokka ng’ennamba eziriko nkadde.

Mu kiseera kino, abasajja baabadde baweze basatu ne kwegattako n’ofiisa wa poliisi okuva e Kawaala ng’ali mu yunifoomu.

Abaabadde mu mmotoka baamubuuzizza oba be yabadde alaba kw’abaddeko gw’amanyi n’abategeeza nti omu yabadde mukyala we.

BAASOOSE KUKWATA MUKWANO GWA MUKYALA WA KALULE Zainabu Nakanjjako amanyiddwa nga Maama Fauthan yategeezezza nti essaawa zaabadde 6:00 ez’emisana omusajja n’amukubira ku nnamba 0757845423 ng’amubuuza oba amanyi awali ennyumba epangisibwa.

Yamugambye nti wadde si bbulooka wa mayumba naye amuyambe omufunire ennyumba epangisibwa mu kitundu. Agamba nti yakkirizza n’amulagirira basisinkane ku kizimbe ekimanyiddwa nga Bannamasaka kyokka yabaddetannatuukawo abasajja basatu ne bamwetooloola.

Baamutegeezezza nga bwe baabadde balina essimu enzibe gye banoonyerezaako. Agamba nti baamulagidde okuyingira mmotoka (kigege) bagende ku poliisi y’e Kawaala. Mwabaddemu abasajja bataano. Baamubuuzizza nnamba y’essimu ya muka Kalule n’abalimba nti tagirina.

Bwe baakebedde nnamba eyasoose okulabika ku kalabirwamu ka ssimu yabadde ya muka Kalule.

Nakanjakko agamba nti ababiri baabadde bateesa okugenda ewa muka Kalule omulala n’abawabula nti bayinza okufuna obuzibu bamukubire nga bakozesa eyange. Omu yaginsiseeko n’amukubira ng’amutegeeza nti, ndi mu ddwaaliro lya Den Clinic e Kawaala nti era embeera yabadde mbi ddala

MUKA KALULE NAYE BAMUKWATA Muka Kalule bwe baamugambye nti Nakanjakko ali bubi yatambudde mukungujjo n’ajja ku ddwaaliro. Abasajja olwamulabye ne bamukwata ne bamuyingiza mu mmotoka olwo bonna nga bafuuse basibe mu kiseera ekyo.

MUKA KALULE ANNYONNYOdde Faridah Nakintu amanyid-dwa nga Maama Umairu agamba nti abasajja baamutegeezezza nga bwe waliwo ssimu gye banoonyerezaako nti era ensonga zino zaabadde za kuggweera ku poliisi e Kawaala mu bwangu ddala. “Nagezezzaako okubasaba mmale okukubira baze essimu abasajja baagaanye. Bah− hambye nti mpozzi nga nabadde najagala kubaggya mu mbeera bakozese amaanyi agasukkiridde.

Ku Poliisi y’e Kawaala banjawudde ku Nakanjakko ne banziza mu ofiisi emu nzekka. Abasajja bano tekyabadde kyangu kubategeera mannya kuba bwe wabaawo alina ky’ategeeza munne amuyita lya ‘Kkojja’.Okuggyako omu eyaseeredde olulimi n’ayita munne erinnya lya Meddie. Meddie yabadde asaze enviiri ng’azimaze ku mutwe nga akuzizza ekirevu.

Omusajja eyabadde ne fayiro yatandise okumbuuza kino na kiri omwabadde amannya ga baze, omulimu gw’akola, abaana be nnaakazaala, essaawa baze z’atera okuddirako eka n’ebirala.” Yagambye nti nga bakyamubuuza, bba yaweerezza obubaka abaabadde bamukutte ne bamanya nti, akomyewo mu kitundu. “Bantadde mu mmotoka nga bwe bambuuza baze bw’ayambadde ne bagenda ku muzikiti we yabadde.

Baamulinze naamala esswala n’ava mu bantu abangi kubanga baabadde batono nga batya Abasiraamu okubakolako obulabe.” Olwamukutte, baamututte ku poliisi e Kawaala ssimu z’abakazi ne bazikwasa akulira poliisi eno ne fayiro y’omusango gwe baliko GEF/177/2017 n’eggulwawo. Nakintu agamba nti, baabagambye bakeere ku kitebe kya bambega e Kibuli gye bajja okumanyira ebisingawo ku misango egyakwasizza bba era gy’akuumirwa.

BATUUSE E KIBULI TALIIYO Kamaadi Mwanje atwala ebyokwerinda mu muluka gw’e Kasubi yagambye nti, ng’ali ne Hassan Buyondo muganda wa Kalule, atwala poliisi y’e Kawaala yabawadde amagezi bagende e Kibuli. Yabawadde nnamba y’essimu 0776125362 nti bwe baba tebamusanze Kibuli bakubire nnyini yo ababuulire eky’okukola. Agamba nti bwe baatuuse e Kibuli, baabuuzizza abaakutte Kalule bwe baabadde bambadde. “Bwe twabagambye nti ngoye za bulijjo ne batugamba tugende mu kitongole ky’amagye ekikessi ekya CMI.

Eno bwe twalazeeyo nnamba y’omusango (GEF/177/2017) eyakebedde mu kitabo yatugambye nti guno omusango gwa 2017 kyokka akola ku fayiro eyo taliiwo mulwadde. Ne batulaga n’emmotoka ze bakozesa mu bikwekweto n’agamba nti tebakozesa mmotoka nnene ne batugamba tunoonyeeko ku CPS oba Flying Squad.

Essimu OC w’e Kawaala gye yatugambye okukubako eyagikutte yatutegeezezza nti ye yawerekerako buwerekezi ku baagenda okukwata Kalule ne bayawukanira e Wandegeya.” Lucas Owoyesigyire omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano yagambye nti, okukwatibwa kwa Kalule yakuwuliddeko naye tamanyi baamukutte na gye bamukuumira.

ABAKULEMBEZE B’OBUSIRAAMU KYE BOOGERA 1 Sheikh Muhamood Kibaate omumyuka wa Supreme Mufti: Ndowooza kuno tekukyali kukwata bamenyi ba mateeka wabula banoonya Basiraamu. Bangi we balabikira baba batulugunyiziddwa ekisusse. 2 Sheikh Abdu Hamid Mbaziira ow’e Nakasero; Kino bakikola mu bugenderevu okuteeka Abasiraamu ku bunkenke. 3 Sheikh Mubarak Mugerwa owa SPIDQA; Abasiraamu twegatte tubeere bumu kuba omulabe ayingira lwa njawukana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda...

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda abaakwatibwa balaajanye

Lab2 220x290

Erias Lukwago alabudde abavubuka...

Erias Lukwago alabudde abavubuka abatava ku WhatsAapp ne Facebook

Hop2 220x290

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa...

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa

Jip1 220x290

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde...

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde obutwa

Kop2 220x290

Awonye okwokebwa abayizi be

Awonye okwokebwa abayizi be