TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni awadde ekiragiro ekikambwe ku bagoba abantu ku ttaka!

Museveni awadde ekiragiro ekikambwe ku bagoba abantu ku ttaka!

By Musasi wa Bukedde

Added 27th October 2018

Museveni awadde ekiragiro ekikambwe ku bagoba abantu ku ttaka!

Let1 703x422

Omulamuzi Bamugemereire ng’aliko ensonga z’afalaasira Museveni, wakati ye Kibuule.

PULEZIDENTI Museveni ayanukudde omulanga gw’abeebibanja abasoba mu 300 abasengulwa ku ttaka ku biragiro by’omugagga Dick Banoba n’alagira obutaddamu kusengula muntu n’omu.

Bano batuuze e Kirangira mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono nga Pulezidenti yabasisinkanye ku Lwokuna n’aleka ng’abazzizzaamu ku ssuubi. Museveni yalagidde aduumira poliisi y’e Mukono, Rogers Sseguya n’aduumira poliisi mu Kampala Metropolitan East, Michael Musani obutaddamu kukkiriza batuuze kusengulwa. “Ne bwe wa banga waliwo ekiragiro kya kkooti ekiragira okusengula abantu, empapula muzinsindikirenga,” Museveni bwe yalagidde.

Ku ky’abatuuze abaasengulwa edda abaamubuuzizza oba nabo kati kye kiseera badde mu bibanja byabwe balime emmere n’okuzzaawo amayumba gaabwe, Museveni yabalabudde nti ekyo basooke bakimulekere asooke akyekenneenye. “Ssaagala kugatta buvuyo ku buvuyo, njagala nsooke nneekenneenye engeri gye mwasengulwa ndabe oba yali mu mateeka oba nedda olwo ndabe eky’okukikolera.

Mu kiseera ekituufu nja kulaba engeri gye mukomawo mu bibanja byammwe mu ngeri ennambulukufu ng’eri mu mateeka,” Pulezidenti bwe yabategeezezza. Yabageredde olugero olugamba nti “Ekitatta Muyima, tekimumalaako nte ze.” N’abasuubiza nti kasita Katonda akyabakuumye, ssaawa yonna ensonga zaabwe zijja kutereera. Abatuuze baamutegeezezza nti tebalina kyakulya, n’abasuubiza okubaweereza akawunga n’ebijanjaalo.

Museveni yabalambululidde abantu abalina okubeera ku ttaka ng’abeebibanja ng’amateeka gabakuuma omuli; omuntu yenna nnannyini ttaka gwe yakkiriza okulibeerako mu myaka egy’edda. Omulala y’oyo eyeesenza ku ttaka ng’omwaka gwa1983 tegunnatuuka ssaako abadde ku kibanja emyaka 12 nga nnannyini ttaka tamugobyeko nti etteeka limuwa enkizo obutamala gagobwa ku ttaka nga bwe kibadde kitera okubeerawo.

Museveni yakukkulumidde abalamuzi be yagambye nti basusse okugobaganya abeebibanja nga bawa ebiragiro ebibagoba sso ne poliisi nayo n’etakola kwekenneenya n’emala gawa bukuumi abasengula abantu. “Eky’ennaku abalamuzi n’aba poliisi abaviirako okutulugunya abantu bange ate nze mbalonda.

Ate nno abantu bange abeebibanja be bannonda, noolwekyo siyinza kubavaamu nnina okulaba nga mbakuuma nga tebafunye kutaataaganyizibwa,” bwe yannyonnyodde. Abatuuze baalinze Pulezidenti watali kuseguka okuva ku ssaawa 4:00 ez’oku makya ze yabadde abasuubiza okutuukirako mu Kirangira kyokka nga yatuuseeyo nga zigenda kuwera emu ey’ekiro.

Muzeeyi Hosea Ssonko 84 ye yasoose okwogera n’alaga okunnyolwa olw’engeri omugagga Banoba gy’azze abalisaamu akakanja okumala emyaka 40. Ssonko yagambye nti ettaka kwe bali lyali lya Ham Mukasa nga yaliwaako Omuyindi liizi kyokka bwe yali enaatera okuggwaako olwo eyali Pulezidenti mu kadde ako Idi Amin n’abagoba mu ggwanga, ng’awo Banoba ayakoleranga mu kkampuni y’Omuyindi oyo we yafunira omukisa n’agwa ku biwandiiko by’ettaka lino n’akozesa olukujjukujju n’alyezza.

“Banoba bwe yatweyanjulira nti ye nnannyini ttaka, twasalawo okugenda ewuwe ne tumweyanjulira ng’abeebibanja nga tututte n’obusuulu. Ebyembi yatugamba nti yali mugagga ng’ensimbi akyalya na ku za jjajjaawe.

Yatulagira ezaffe ez’obusuulu ze twali tumutwalidde tuzitereke lw’alijja ewaffe tulizinywamu omwenge,” Banoba bwe yategeezezza. Omulamuzi Catherine Bamugemereire n’ab’akakiiko ke bonna, minisita omubeezi ow’ebyettaka, Persis Namuganza, omubaka wa Palamenti owa Mukono North Ronald Kibuule n’abakulembeze abalala.

Bamugemereire yategeezezza nti bakyekenneenya ensonga z’ettaka lino n’okulaba oba ekiragiro ekyabasengula kyali mu mateeka ng’okunoonyereza bwe kunaggwa bajja kuvaayo ne lipoota eraga bye baliba bazudde.

Minisita Namuganza yalabudde abakozi ba Gavumenti omuli abapoliisi, abalamuzi, RDC n’abalala abagufudde omugano okumala gadibaga nsonga eziruma abantu olw’omusimbi ogubavujjirirwa abagagga n’agamba nti ssinga tebeddako emirimu gituuse okubafa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.