TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abazadde basabiddwa okukomya okukozesanga ebigambo ebisongovu mu maaso g'abaana

Abazadde basabiddwa okukomya okukozesanga ebigambo ebisongovu mu maaso g'abaana

By Moses Lemisa

Added 27th October 2018

Abazadde basabiddwa okukomya okukozesanga ebigambo ebisongovu mu maaso g'abaana

Rev1 703x422

OMULABIRIZI eyawummula  asabye bannayuganda  okwetegereza abantu be batambula nabo mu nsi kuba abano balina ebigendererwa birala .
 
Omulabirizi we Mukono eyawummula yasinzidde ku ssomero lya All Saints Junior School erisangibwa e Namataba Mukono ku Luguudo lwe Jinja  ku mukolo gw’okusabira abayizi 85 abagenda okutuula ebigezo bya PLE saako n’okuteeka emikono ku bayizi 60 abaamalirizza emisomo.

Yagambye  nti abantu abamu batambula n’abantu be batamaanyi  bikolwa byabwe ekibaviriddeko okufuna ebizibu  n’asaba buli muntu okutambuza obulamu nga yesigamye mu katonda  .

“Obulamu bwe nsi mulina kubutambuliza mu katonda okusobola okuwangula abantu bangi batambula n’abantu be batamanyi mu bintu ebyenjawulo ne bafundikira nga babakozesezza ensobi , mwe abayizi mugenda kukola ebigezo mulina  okwesigama ku katonda  ekirala ky’osiga ky’okungula  eno y’essaawa  okulaga abazadde  bamwe n’abassomesa nti mubadde mussoma ” Omulabiri bwe yategeezezza

 Godfrey Banana nannyini ssomero  yalabudde abazadde okukomya okuyingiza abayizi mu ntalo z’abakulu , yagasseeko nti abazadde abamu bwe bafuna obutakkaanya bayombera mu maaso ng’abaana baabwe kye yagambye nti ebiseera ebisinga kitaataaganya nnyo obwongo bw’abaana ne baviirako okwonooneka olw’ebigambo ebikozesebwa abazadde  mu busungu nga bayomba.

Yagenze mu maaso n’asaba abazadde okukomya okusuulira amasomero abaana ne batafaayo kulondoola bye bakola , yagambye abamu olumala okusasula ebisale by’amassomero tebaddamu kulinya ku massomero ng’ebiseera ebimu  kiviraako abayizi okwekubagiza  ng’abatalina bazadde .

 
Steven Matovu omukulu w’essomero y’alabudde abazadde obutalaga nnyo baana kwagala ne batuuka n’okubalekeera emikuttu gy'empuliziganya ne balabirako ebifaanyi eby’obuseegu ,yagambye kyaddibadde kirungi  Ttiivi abazadde ne bagibeerako n’obuvunanyizibwa ku baana bye balina okulaba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi

Kuba 220x290

Minisitule efulumizza entegeka...

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni azzizzaamu abazadde, abayizi n’abasomesa essuubi nti singa...

Kip1 220x290

Geo Steady ne mukazi we, Prima...

Geo Steady ne mukazi we, Prima omulamwa gwa Corona bagutegeera

Lab1 220x290

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa...

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa mu kiseera kya Kalantiini

Shutterstockeditorial10434333bm 220x290

Coronavirus: Amerika kiri bubi,...

Corona ayongedde okwewanisa abantu emitima okwetooloola ensi yonna era Pulezidenti wa Amerika Donald Trump yalabudde...