TOP

Amagi amakolerere gakwatiddwa mu ggwanga

By Musasi wa Bukedde

Added 30th October 2018

EGGI lye walidde obadde okimanyi nti liyinza okuba nga si lya nkoko, wabula nga baalikoze era nga lisobola n’okukuviirako okulwala kookolo?

Eggs1 703x422

Amagi

Bya KIZITO MUSOKE

 

EGGI lye walidde obadde okimanyi nti liyinza okuba nga si lya nkoko, wabula nga baalikoze era nga lisobola n’okukuviirako okulwala kookolo? Ekibi kizibu okutunula ku ggi ku ngulu n’amaaso n’oyawula eggi ekkole ku lyabikiddwa enkoko!

 

Poliisi eri ku muyiggo gwa Bachina bana abagambibwa okuba nga baasangiddwa nga bakola amagi ge baabadde bagenda okutunda mu ‘super market’ n’obutale obunene mu Kampala.

 

Charles Twine, ofiisa wa Poli­isi avunaanyizibwa ku misango gy’ebyenfuna n’okulwanyisa enguzi ku kitebe kya bambega ba poliisi e Kibuli yagambye nti baagudde ku kifo omukolerwa amagi e Kawempe ku luguudo lwe Ttula.

 

Poliisi okufuna amawulire gano yamaze kutemezebwako omuntu ey­abadde omukozi wa Bachina. Wadde nga Poliisi yayanguye okutuuka mu kifo kino naye Abachina baabate­buse ne badduka, wabula ne bafunza Bannayuganda babiri abaabadde babakolera.

 

Mu muyiggo guno baasobodde okubowa ebyuma n’ebiralagala bye baabadde batabula ne basobola okukola amagi. Bye baakutte baabik­wasizza ab’ekitongole kya Gavumenti ekya Analytical Labaratory e Wan­degeya basobole okubyekeneenya n’okuzuula obulabe obubirimu.

 

Poliisi egamba nti okunoonyer­eza kwe baakakola ebiragala bye beeyambisa okukola amagi babi­jja bweru w’eggwanga olwo bwe bamala okubiyingiza mu ggwanga ne balyoka bakola amagi. Kigam­bibwa nti Abachina bano baasooka kukwatibwa mu Tanzania gye baava ne basengukira mu Uganda.

 

Amangi gano amakole okusinga gabadde gatundibwa nnyo mu Kam­pala mu ‘supermarket’ ennene awamu n’obutale obunene nga; Owino, Nakasero ne Kaleerwe.

 

ENGERI GY’OSOBOLA OKWAWULA EGGI EKKOLERERE

Singa obeera oyasizza eggi lino eki­kuta kivaako mangu ate kyonna nga tekuli kikuta kisikattira mabega.

 

Bw’obeera oyasizza eggi ly’enkoko waliwo akabubi akeeru akalinga akaveera akatera okuddirira ekikuta, kyokka ku ggi ekkole tekabeerako.

 

Singa obeera ofumbye eggi lino, bw’oteekako omunnyo te­gunywerako kuba gaakolebwa nga tegaliimu kirungo era libeera ng’erisiigiddwaako ebintu ebiseerera ebyefaananyiriza nga woyiro.

 

Bw’obeera olya eggi ekkole mu kamwa oliwulira nga terigenda lumu, kuba libeeramu akasikattira era n’engeri gye liwunyamu si ye yaabulijjo.

 

Amagi amakole gatera kubeera ku bbeeyi eya wansi bw’ogeraageranya ku bbeeyi eri ku katale era kye kimu ku bisikiriza abantu okugettanira. 

 Okugeza ttule y’ag’enkoko bw’ebeera ku 12,000/- amagi amakole gabeera ku 8,000/-.

Eggi ekkole libeera ddene mu ndabika okusinga ku lya bulijjo era nga limasamasa ekikuta.

Bw’obeera okubye ejji libeera lya mazzi nnyo kuba teririna kirungi kirikwatira wamu bulungi.

Dennis Odur, avunaanyizibwa okulondoola akatale k’ebintu mu kitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’ebintu ekya Uganda National Bureau of Statistics yakakasizza nga bwe baakutte ebintu eby­eyambisibwa okukola amagi.

 

Yategeezezza nti bakyalinda poliisi emalirize okukola okunoonyereza, olwo nabo oluvannyuma balyoke balabe engeri y’okuvunaana Abachina bano.

 

AMAGI AMAKOLE GALWAZA

Okunoonyereza okwakoleddwa mu Buyindi ne kufulumira ku mukutu gwa mawulire ogwa Zeenews.india.com kulaga nti amagi amakole gaso­bola okulwaza omuntu endwadde eziwerako.

 

Ebintu bye bakozesa okuweesa amagi gano bisobola okukosa ob­wongo bw’omuntu n’abeera nga taky­ategeera bulungi, okulwala ekibumba, kkansa n’ebirwadde ebirala.

Okukola amagi tekunaba kuzuul­wamu kalungi okuggyako ebizibu ebyereere.

 

Amagi amakolerere gaasooka kulabibwa mu Malaysia mu 2011 era okuva olwo gazze galabibwa mu nsi ez’enjawulo naye nga balumiriza nti gaatandikira mu China.

Kigambibwa nti Abachina be basinga okukola amagi gano, kyokka nga bazze bagatambuza okuva mu nsi emu okudda mu ndala.

 

Okusinziira ku mikutu gya yinta­nenti, ekikuta omuwuula n’enjuba byonna ebibeera mu ggi bijingirirwa nga bagatta ebirungo eby’enjawulo. Oluvannyuma babissa mu byuma eggi ne lisobola okwewumba okufaa­nanako ng’eryenkoko.

 

Okukola ekikuta bagatta ebirungo nga ekya calcium carbonate, ate ebi­tundu by’omunda bagatta ebirungo bya; alum, benzoic, sodium alginate, calcium, chloride, gelatin, amazzi n’ebirala.

 

EMIGASO EGIRI MU GGI LY’ENKOKO

Dr. Musa Nkalubo owa Your Clinic ku Mwanga II Road, yagambye nti eggi okusinga lirimu ekirungo lya Calcium ekigumya amagumba awamu ne proteins ezizimba omubiri.

Omuntu okufuna mu ggi obulungi alina okuba nga yalifumbye ne liggya bulungi. Omuntu okulya eggi olunaku kifaanana n’omuntu okulya eggi erimu wiiki. Omuntu bw’asussaamu afuna mukutto n’omugejjo naye nga tewali kiriisa kisingamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kt1 220x290

Poliisi ekoze ekikwekweto ku zi...

Poliisi ekoze ekikwekweto ku zi loogi n'egwa ku basinda omukwano

Cap1 220x290

AbaKulembeze mu kalungu batuuzizza...

AbaKulembeze mu kalungu batuuzizza olukiiko okutema empenda z'okulwanyisa COVID-19

Pop13 220x290

Poliisi etandise okunoonyereza...

Poliisi etandise okunoonyereza ku musirikale waayo eyakubye abaana be amasasi

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....