TOP

Abasawo mubba mutya emifaliso - Kadaga

By Musasi wa Bukedde

Added 30th October 2018

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Alitwala Kadaga munyiivu olw’abasawo b’omu ddwaaliro ekkulu ery’e Kamuli okulidibaga ne batuuka n’okubbamu emifaliso.

Mifaliso1 703x422

Dr. Batesaki ng’akakasa eky’abasawo b’omu ddwaaliro ly’e Kamuli ekkulu bwe babba emifaliso.

Bya TOM GWEBAYANGA

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Alitwala Kadaga munyiivu olw’abasawo b’omu ddwaaliro ekkulu ery’e Kamuli okulidibaga ne batuuka n’okubbamu emifaliso.

 

Yagambye nti waliwo lwe baafulumya ebitanda ebiwerako emisana ttuku ne babittikka

ku loole n’ekuuliita nabyo!

 

Kadaga yagambye nti tebaakoma awo, babba n’ezimu ku “sikaana” ze yasaka okuva mu Amerika, era kati abalwadde abaagala okubasikaaninga babalagirira ez’obwannannyini ebusukkakkubo, ezigambibwa okuba eza badokita bennyini abo.

 

“Ndi munyiivu olw’abasawo bano abeefudde mukoko okubba emifaliso, nga beefuula abagenda okujooza ne gitakomawo,” Kadaga bwe yagambye.

 

Bino yabyogeredde ku Bugeywa SS mu ggombolola y’e Butansi ku Lwokutaano, n’agamba nti kiswaza eggwanga eryefuga emyaka 56 emabega okuba nga likyalimu bannansi abatalina mwoyo gwa ggwanga omuli ne dokita okubba ebintu ebitaasa obulamu bw’abantu.

 

Omukolo gwabadde gwa kujaguza Ameefuga. Kadaga yalagidde akulira ebyobulamu, Dr. Agrey Batesaki amunnyonnyole amazima, oba bamuleetera ngambo.

 

Yeewuunyizza abasawo okwekomya egimu ku mifaliso egy’ebbeeyi egyasabikibwa eddiba nga yagisaka mu mikwano gye n’agikwasa eddwaaliro, be yagikwasa ne bagitwala.

 

ALUMBYE AKAKIIKO AKAGABA EMIRIMU

Yalumbye akakiiko akagaba emirimu mu disitulikiti, okumala ebbanga ngakalya enguzi ku banoonya emirimu.

 

“Abakakiiko kano bakulyako ssente ate ne batakuwa mulimu.” Bwatyo bwe yagambye n’akyukira ssentebe wa LC 5, Tomas Ndimukika Kategere n’amunenya olw’okumujeemera bwe yamulagira okuyiwa akakiiko kano n’agaana.

 

OW’EBYOBULAMU AKAKASIZZA OBUBBI

Ng’ayanukula sipiika, akulira ebyobulamu, Dr Agrey Batesaki yakakasizza eky’emifaliso oku bula, nti era omuwendo gwagyo teguwera, ebitanda ebimu tegiriiko ng’ate n’egiri mu sitoowa mitono.

 

“Ebitanda, kituufu byatundibwa naye byali bikaddiye, by’atundibwa mu sikulaapu,” Dr. Batesaki bwe yagambye.

 

Kyokka teyannyonnyodde oba okutunda kwayita mu mitendera egy’okutunda ebya Gavumenti

ebikaddiye egya Public Procurement Disposal Unit (PPDU) bwe g’agenda, era eyabigula, byavaamu ssente mmeka oba zassibwa ku akawunti ki teyabyogedde.

 

Kadaga yasabye abakozi bafube okukuuma amannya gaabwe, kirongoose likodi zaabwe batuuke okuwummula nga tebaliiko bbala.

 

OMUYIZI ABUUZIZZA SIPIIKA KU BYA ‘MOBILE MONEY’

Omuyizi asoma P7 mu Holly Grace Nursery & Boarding P/S Bugeywa, Bena Nakate yatontomye ekitontome ekyasesezza abamu, bwe yategeezezza sipiika nti bukya

Palamenti eyisa etteeka ly’omusolo ku ‘Mobile Money’, abantu babonyeebonye

okukamala.

“Taata n’akuweereza ssente ne bakusalako, bw’okaggyayo ne basalako ate ne URA n’esalako omusolo. Tuli bubi Maama Kadaga, ekiteeso ekyo tekisoboka kukisazaamu?” bwe yabuuzizza, abantu ne bamukubira engalo wakati mu kusaakaanya nti, “Omwana akyogedde”.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tta 220x290

Eyatta owa bodaboda akkirizza okutuga...

Poliisi: Okimanyi nti obadde onoonyezebwa? Omusibe: Nkimanyi, kubanga akatambi akaatuleetera obuzibu nange nakalabako...

Pastorbugingo2703422350250 220x290

Bugingo asekeredde abaamututte...

Bugingo yasinzidde mu kusaba kw’omu ttuntu n’ategeeza nti tewali agenda kumugaana kwogera. Era ye talina muntu...

Abasumba 220x290

Abasumba bye baatudde ne basalawo...

ABASUMBA abakulira abalokole mu Uganda batudde ne bateesa ku nsonga za Paasita Aloysius Bugingo. Olukiiko lwakubiriziddwa...

Dpp 220x290

Omuwaabi wa Gavt. awadde ebiragiro...

OMUWAABI wa Gavumenti omukulu Mike Chibita asiimye okunoonyereza okwakoleddwa ttiimu ya Vision Group omuli ne Bukedde...

Teddybugingoaloysius 220x290

Enkambi ya Teddy evuddeyo ku by'obugagga...

ENKAMBI ya mukyala wa Bugingo ow’empeta Teddy Naluswa Bugingo etangaazizza nti, Teddy takkaanyangako kugabana byabugagga...