TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusomesa wa Vision Group asinga alangirirwa leero

Omusomesa wa Vision Group asinga alangirirwa leero

By Musasi wa Bukedde

Added 1st November 2018

Omusomesa wa Vision Group asinga alangirirwa leero

Mab1 703x422

Minisita J C Muyingo (ku ddyo) ng'asiima omu ku basomesa abaasinga omwaka oguwedde.

KKAMPUNI ya Vision Group efulumya ne Bukedde egenda kusiima abasomesa abakoze obulungi era abasinze okubeera abayiiya mu byenjigiriza.

Bino byanjuddwa akulira kkampuni eno Robert Kabushenga n'ategeeza nti empaka z'abasomesa abakoze obulungi zibadde zikolebwa mu lupapula lwa New Vision era basunsudde abasomesa abakoze obulungi nga babadde bayiiya era nga bamaze emyezi egiwerako nga bawandiika ku byafaayo byabwe.

Empaka zino zibadde ziwagirwa Gavumenti ya Ireland, ne kkampuni ya Simba Travel ng'entikko y’omukolo guno ya leero kwe bagenda okulangirira abasomesa abaawangudde ku kitebe kya Vision Group e Lugogo nga abawanguzi bagenda kutwalibwa ne mu Ireland.

Bagenda kukyalira amasomero mu ggwanga lino bayigeyo engeri abasomesa gye batambuzaamu ebyenjigiriza, engeri gye bakwatamu abayizi, embeera y'ebyenjigiriza mu ggwanga lino n'engeri gye batumbudde ebyenjigiriza. Minisita omubeezi ow'ebyenjigiriza ebya pulayimale Rose Mary Senninde y'agenda okubeera omugenyi omukulu ku mukolo guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam

Dot1 220x290

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda...

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda