TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Vision Group etongozza kaweefube ku kulwanyisa siriimu

Vision Group etongozza kaweefube ku kulwanyisa siriimu

By Musasi wa Bukedde

Added 1st November 2018

Vision Group etongozza kaweefube ku kulwanyisa siriimu

Rob1 703x422

Akulira Vision Group Robert Kabushenga ng'annyonnyola

KKAMPUNI ya Vision Group efulumya ne Bukedde ezzeemu okuttukiza kaweefube waayo ow’okulwanyisa akawuka akaleeta siriimu. Kaweefube ono atongozeddwa akulira kkampuni eno, Robert Kabushenga ku kitebe kyayo mu kibangirizi kya bannamakolera e Lugogo.

Kabushenga agambye nti ensagi zino abantu bagenze beerabira nti akawuka ka siriimu kakyaliwo era nga bwe bumu ku bulwadde obuluma abantu era nga bukyatta abantu kyokka nga tebakyabwogerako nnyo nga bwe kyali gye buvuddeko.

Yagambye nti, nga bakozesa emikutu gy’amawulire kkampuni ya Vision Group z’erina okuli leediyo, empapula z’amawulire, ttiivi n’omukutu gwa yintanenti mu mwezi guno ogwa November gwonna okutuukira ddala nga December1, 2018, bagenda kwogera wamu n’okuwandiika ku kawuka ka siriimu balage engeri akawuka kano gye kaatandikamu, biki ebyaliwo nga kaakazuulibwa, kiki ekikoleddwa okukakendeeza wamu n’engeri gye katawaanyizzaamu Bannayuganda.

Ayongedde n’agamba nti ensangi zino engeri abantu gye beeyisaamu ya njawulo. Waliwo abaana abazaaliddwa nga tebamanyi kawuka kano ate abalala bazaaliddwa nako wabula beetaaba mu bikolwa by’omukwano nga tebafuddeeyo kugezaako kwewala kukasaasaanya kubanga tebamanyi oba bakalina.

Kabushenga yagambye nti Vision Group egenda kwegatta ku gavumenti mu kulwanyisa akawuka kano era olwa December 1, 2018 ensi yonna lw’ennejjuukirirako akawuka ka Siriimu we lunaatuukira, Bannayuganda bajja kuba bategedde bingi ebifa ku bulwadde buno.

Yategeezezza nti eddagala eryaleetebwa okukendeeza ku kawuka ka siriimu lye lireetedde abantu obutafaayo kumanya bifa ku kawuka kano wamu n’enneeyisa yaabwe okukyuka kyokka ng’akawuka kano kakyaliwo era kasaasaanyizibwa mu bantu. Yagambye nti waliwo okunoonyereza okwakolebwa ng’abawala ennaku zino basinga kutya kufuna mbuto okusinga okufuna siriimu kye yagambye nti kya bulabe nnyo mu kaweefube w’okulwanyisa obulwadde buno

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye