TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Flying Squad bazinze kkooti ne baggyayo omusibe

Aba Flying Squad bazinze kkooti ne baggyayo omusibe

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd November 2018

Aba Flying Squad bazinze kkooti ne baggyayo omusibe

Kab2 703x422

Abamu ku booluganda lw’abaakwatibwa amagye.

ABA Flying Squad beesozze kkooti ya Buganda Road ne basikambulayo omusajja agambibwa okubeera omubbi w’emmotoka eyabadde atwaliddwaayo kyokka omulamuzi n’amuyimbula awoze ng’ava bweru.

Ssaalongo Ibrahim Ssemanda omutuuze w’e Kazinga Zooni mu Kasangati e Wakiso, yakwatibwa poliisi ya Kampala n’emiriraano ne banne abalala babiri okuli; Hassan Bukenya 39, omutuuze w’e Ndejje mu ggombolola ya Makindye Ssaabagabo ne Patrick Eridadi Odeke 23, omutuuze w’e Lungujja mu Munisipaali ya Lubaga.

Ku Lwokusatu akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Kampala n’emiriraano Johnson Plal Dale yalagidde batwalibwe mu kkooti ku Buganda Road bavunaanibwe omusango gw’okubba mmotoka ekika kya Toyota Noah nnamba UAN 459Y. Okusinziira ku mpaaba y’omusango gwe baabadde batwaliddwa okuvunaanibwa, Ssemanda ne banne abalala okuli n’abatannaba kukwatibwa nga June 20, omwaka guno baalumba Fred Mayanja omutuuze w’e Kabowa mu Kampala ne bamubbako mmotoka ye ekika kya Noah.

Baasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka Ketty Joan Acaa ne basomerwa omusango kyokka aba famire ya Ssemanda ne bakola buli ekisoboka okumuyimbula ku kakalu ka kkooti.

Okusinziira ku nsonda ku kkooti ya Buganda Road, aba famire ya Ssemanda baabadde beetala ng’abanaabaaga anti obwedda bava ofiisi ku ofiisi nga banoonya asobola okubatuusa ku mulamuzi basabe akakalu ka kkooti.

Bino aba Flying Squad olwabitegedde kwe kuzingako kkooti yonna. Mu kiseera kino, omulamuzi Acaa yabadde amaze okukkiriza okusaba kwa Ssemanda okw’okweyimirirwa ku kakalu ka kkooti era ng’atandise n’okujaganya nti adda waka. Baamusanze anaatera okufuluma aba famire olwakitegedde nti, aba Flying Squad baagala kukwata muntu waabwe, badduse za mbwa ew’omulamuzi ne bamutegeeza nti, waabaddewo abaabadde baagala okukwata omuntu waabwe azzibwe mu kaduukulu ka poliisi.

Kigambibwa nti, baaweereddwa amagezi asooke yeekweke mu kaduukulu ka kkooti bwe banaaba batwala abasibe alinnye bbaasi oluvannyuma alage ab’amakomera empapula ze kwe baamuyimbulidde olwo afulume. Olukwe lwonna aba FlyingSquad baaluguddemu era tebaamuganyizza kulinnya bbaasi y’amakomera ne beesogga akaduukulu ne bamuggyayo.

Ssemanda okuddamu okumukwata, yabadde alina omusango omulala ogw’okubba emmotoka ya muwala wa dayirekita w’ekitongole ky’amagye ekikola ebikwekweto ekya Joint Anti-Terrorism Task Force, Charlie Asiimwe amanyiddwa nga CK Asiimwe.

Omusango gwe bamuvunaana, gwa kubba mmotoka kika kya Toyota Spacio enkola empya nnamba UAW 653G gye babba mu Zanta Zooni e Ndejje oguli ku fayiro ya Flying Squad GEF 25/2018.

Ababbi baakozesa omukisa nga muwala wa Asiimwe bali mu kuddaabiriza ekikomera ky’amaka waasula ne bayingira ne babbamu mmotoka ye. Omusango yasooka kuguloopa ku poliisi y’e Ndejje oluvannyuma ne yeekubira enduulu mu Flying Squad eyazzeemu okukwata Ssemanda ng’ateereddwa.

Ssemanda bamulumiriza nti, omulimu gwe omukulu kubba mmotoka n’azitema sipeeya Aba Flying Squad bazinze kkooti ne baggyayo omusibe wadde nga yeerimbika mu bwamakanika.

Olwamutuusizza mu Flying Squad ku CPS, n’aba CMI baabadde baamulinze dda nga nabo bagamba nti balina emisango gy’okubba mmotoka egiwerako gye bamuvunaana era ne bamutwala mu kaduukulu kaabwe e Kireka gy’akuumirwa n’okutuusa kati.

Guno si gwe mulundi ogusoose ng’aba Flying Squad bamenya akaduukulu okuggyamu omusibe. Ku Mmande ya wiiki eno, aba Flying Squad baawaanyisiganyizza amasasi ne poliisi y’e Kitebi ng’entabwe eva ku baserikale ab’enjuyi zombi okufuna obutakkaanya ku kukwata omusajja eyategeerekeseeko erinnya erimu erya Jeremiah agambibwa nti yabadde abbye obukadde bw’ensimbi 200.

Aba Flying Squad abaabadde baduumirwa Baptist Kyambadde baagenze okununula bannaabe abaabadde bakwatiddwa poliisi y’omu kitundu era mu kavuvuhhano kano Jeremiah yeemuludde n’atoloka wakati mu masasi ng’enjuyi zombi zirwanagana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...