TOP

Basaaye emmere y’abatuuze e Wakiso

By Paddy Bukenya

Added 2nd November 2018

Basaaye emmere y’abatuuze e Wakiso

Kap1 703x422

ABATUUZE ku kyalo Bulabakulu mu Wakiso basattira oluvannyuma lw’omuntu eyeeyita nnannyini ttaka okusaawa ebirime byabwe byonna nga kwatadde n’okubagobaganya. William Rwambula, ku Lwokubiri ng’asinziira ku kiwandiiko kya kkooti y’e Wakiso, yatutte bawannyondo ba kkooti ku ttaka nga bakuumibwa poliisi y’e Wakiso ne basaawa ebirime by’abatuuze nga bwe babagobaganya okuva ku ttaka ly’agamba nti baalyesenzaako.

Rwambula bwe yamaze okusaawa ebirime byonna, yatumizza ekimotoka ki weetiiye kisende amayumba agali ku ttaka lino, ekintu abatuuze kye baagaanye ne bakiremesa. Bino obwedda bikolebwa nga poliisi terina ky’ekola okuggyako okulabula abatuuze obutalemesa bawannyondo okukola omulimu gwabwe.

Omu ku batuuze ku ttaka lino, Robert Kyeswa yategeezezza nti ettaka liwezaako yiika 15 nga lya Geoffrey Nsubuga eyalisikira okuva ku kitaawe John Mutebi era liriko abatuuze abasoba mu 50 nga kwe babeera bonna.

Ono yategeezezza nti, baali babeera bulungi ku ttaka okutuusa mu 2005, Rwambula lwe yajja n’asaba Nsubuga okumuguza ku ttaka. Agamba nti, Nsubuga yakkiriza n’aguza Rwambula yiika bbiri wabula bwe yasenga ku ttaka n’atandika okulyefunza mu lukujjukujju.

Kigambibwa nti yajingirira ebiwandiiko ku ttaka n’ategeeza nga bw’ali nnannyini era n’asaba abatuuze okumuviira akolereko ebibye. Abatuuze baddukira mu kkooti e Wakiso mu 2013 ne bagitegeeza ensonga zino era baasinga omusango, omulamuzi wa kkooti ento e Wakiso, Francis Dawa Matenga eyaliwo ekiseera ekyo n’alagira abatuuze okusigala ku ttaka nga bakolerako emirimu gyabwe.

Abatuuze baategeezezza nti, kino Rwambula tekyamumalira n’ajulira mu kkooti e Wakiso mu 2018 era omulamuzi e Wakiso Martins Kiirya n’amuwa ekiragiro okukolera ku ttaka. Ekiragiro kya kkooti kyamuweebwa nga October 8 omwaka guno era nga kirina okuggwaako November 9 okusinziira ku munnamateeka wa Rwambula, Godfrey Kyenda.

Baayongeddeko nti oluvannyuma lwa kkooti okumuwa ekiragiro, yasalawo okusiba Geoffrey Nsubuga bo gwe bayita nnannyini ttaka nga kati ali mu kkomera e Ssentema. Bukedde bwe yagezezzaako okwogerako ne Rwambula ku nsonga zino, yategeezezza nti, bw’aba alwana entalo ze tayagalamu mawulire era n’atusaba okumwesonyiwa nti bw’anaaba yeetaaze amawulire anatutuukirira naatubuulira ensonga zonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye...

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye

Kab3 220x290

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza...

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza emmeeme

Gat2 220x290

Abayizi n’abaana nabo basobola...

Abayizi n’abaana nabo basobola okulumirirwa abalala mu kisiibo

Wab2 220x290

Nja kufiira ku babba eddagala -...

Nja kufiira ku babba eddagala - Ssentebe

Fut2 220x290

Omusawo bamukutte kufera bantu...

Omusawo bamukutte kufera bantu