TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssegawa gw’alonze mu 50 ayogeza abantu ebikankana

Ssegawa gw’alonze mu 50 ayogeza abantu ebikankana

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd November 2018

Ssegawa gw’alonze mu 50 ayogeza abantu ebikankana

Fub1 703x422

Vincent Ssegawa n’omugole Prossy Mbabazi.

VINCENT Ssegawa okutuuka okulonda Prossy Mbabazi yasoose kumukozesa yintaviyu ttaano, zonna n’aziyita! Mu yintaviyu ezo mwabaddemu n’ebibuuzo ebyekuusa ku nsonga z’ekisenge era ne mu bibuuzo ebyo, Mbabazi n’amegga bawala banne bonna.

Wadde abakazi abaakuhhaana nga baagala okufumbirwa omuyimbi wa Kadongokamu ono baali basukka mu 50, kyokka abaatuuse ku mutendera gwa yintaviyu erimu ebibuuzo bya Ssenga, baabadde 11 bokka.

Mu bibuuzo ebyo ebigambibwa nti byabadde bikakali ng’atalina mutima mugumu tabirumbagana, Mbabazi era yasukkulumye ku banne. Oluvannyuma lwa yintaviyu zonna ettaano, olwo Ssegawa yayanjudde nti: Mu bakyala bonna, Prossy gwe nzudde nga ye mukyala omutuufu.

Prossy naye mu ssanyu ery’ekitalo yawaze nti: “Nneewangulidde olulenzi…” olwo n’alyoka abuuza abaabadde bakuhhaanidde ku Holly Farm e Nansana nti “Mmwe temululaba…?” Mu yintaviyu Ssegawa ze yawadde abakazi mwabaddemu ey’okugezesa ebigendererwa byabwe mu bufumbo, egezesa obugumiikiriza bw’omuwala, egezesa engeri gy’alabiriramu abaana, egezesa obutegeevu n’okwogera mu bantu kw’ossa ne yintaviyu eyasembyeyo ekwata ku by’omu kisenge.

Mu kulangirira omuwala gw’alonze mu bangi, Ssegawa yabadde wamu ne mwannyina era ono gwe yatumye okusitula Prossy mu bawala abalala. Omuyimbi era omuzinyi w’amazina amaganda Annet Nandujja ye yakoze nga Ssenga era ono yagumizza abawala abalala abaabadde ku lukalala nti abasajja bangi gye bali ebweru eyo banoonya ababeezi era ekiseera ky’abawala bano nga kituuse, nabo baakufuna ababeezi.

OMUWALA GWE YALONZE AYOGEZA ABANTU Amangu ddala nga yaakamulangirira, abaabaddewo baatandikiddewo okwekuba obwama nti; “Omuwala alina ffiga naye Endagamuntu terya ppate…” Olwo baabadde boogera ku ndabika mu ffeesi nga bagamba nti mu baabadde bavuganya okwewangulira Ssegawa, mwabaddemu abawala bangi abasinga Prossy obulungi.

Ssegawa naye alinga eyabadde awulidde obwama obwabadde buyitihhana, era bwe yatandise okwogera n’atangaaza nti bwe yabadde alonda Prossy mu bawala abangi, teyagoberedde bulungi, wabula yagoberedde mukwano n’okunoonya omuntu anaamutegeera nga basobola okukkaanya mu bufumbo ne batambuza amaka ne bakuza n’abaana mu ngeri eyeegombesa. Abavubuka abalala obwedda bawaga kimu: Prossy wamma olina waaka! Ku mikutu gya yintaneti, abantu era obwedda buli omu ayogera kikye ku Prossy.

Abamu obwedda bamuyozaayoza okuyita mu “ttanuulu” n’okuvuganya okw’amaanyi n’atuuka ku kirooto kye, ate abalala nga bagamba nti yasuula obubonero okukkiriza okulengebwa ku mudaala ng’avuganya ne bakyala banne mu lujjudde. Abamu obwedda bamulumba ku by’endabika ate abalala nga bamulumba ku nnyambala, kyokka abamuwolereza nga babaanukuza kimu nti, “omukwano gumegga ebyo byonna”.

Prossy yagambye nti ekya Ssegawa okubeera “Ssereebu” (omumanyifu) si ky’ekyamumwagazza, wabula omukwano gwe gwamuwaludde era agenda kutambuza obufumbo. Yagambye nti asaba kimu, waleme kubaawo anyiiza munne mu bufumbo bwabwe bwe baatandise.

Ssegawa yasooka kulabikira mu pulogulaamu y’Abanoonya ku Bukedde TV ng’agamba nti oluvannyuma lwa mukazi we Jamirah okunoba n’amwekubako amuzze mu maka ne birema, yasazeewo anoonye omubeezi mu lwatu yeewale embeera ey’okutomera abakazi abeeyogerako ng’abatalina basajja ate nga bafumbo.

Abaamukubiranga amasimu yabawa olunaku lumu n’essaawa yeemu bamusange ku Holly Fam e Nansana era okukkakkana ng’abakuhhaanye basukka mu 50 n’atandika okubasunsula ng’ayambibwako abamu ku booluganda ne mikwano gye okutuusa lwe baawunzise nga basibidde ku Prossy. Omuwala ono wiiki ewedde yannyonnyodde nti ennamba ya Ssegawa yali tagifunye era yagisaba muntu nga yeefudde nti waliwo mukwano gwe agyagala, so nga Prossy yennyini ye yali agyagala era olwagifuna n’akubira Ssegawa ne boogera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga