TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'amagye balumbye edduuka ly'Abayindi okubanyaga poliisi n’ekwatako omu

Ab'amagye balumbye edduuka ly'Abayindi okubanyaga poliisi n’ekwatako omu

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd November 2018

Ab'amagye balumbye edduuka ly'Abayindi okubanyaga poliisi n’ekwatako omu

Kam2 703x422

ABAJAASI mukaaga beefudde abakozi b’ekitongole ekiwooza omusolo ekya Uganda Revenue Authority (URA) ne banyaga Abayindi emmaali ya bukadde ku Dewinton Road mu Kampala. Poliisi ekutteko omu ate abataano ne badduka. Baabadde batambulira mu mmotoka ssatu okwabadde n’eya Genero okulaga nti omulimu gwe baabadde bakola gwabatumiddwa bakulu ekitaabadde kituufu.

Baakozesezza mmotoka ya Brigadier Kamanyire akulira ebyensimbi mu UPDF. Mmotoka baabadde bagiggyeeko nnamba yaayo entuufu H4DF 1665 nga bataddeko endala H4DF 1796 baabadde n’endala H4DF 789. Baagenze ku dduuka eritunda kkompyuta erya Mitsumi nga beefudde nti waliwo ebyamaguzi ebyabadde bikukusiddwa ne biyingizibwa mu dduuka bye baabadde baagala okukwata.

Bwe baatuuse mu dduuka, baatadde abaabaddemu ku mudumu gw’emmundu nga bwe babasaba empapula kwe baasasulira omusolo ku byamaguzi bye batunda. Baatutte ssente enkalu (doola) n’eza Uganda ezitannamanyika muwendo. Okusinziira ku sitatimenti, Abayindi bannannyini dduuka gye baakoze ku CPS mu Kampala, kumpyuta ze babbye zibalirirwamu ddoola 3,750.

(Obukadde obusoba mu 10 mu za Uganda). Abasuubuzi abaabadde wabweru baatidde bwe baalabye ng’emmotoka z’amagye ennene ze zibalumbye okubowa emmaali yaabwe. Abayindi baggyeeyo empapula ne basooka bakalambira nti baasasula bulungi omusolo era tebabanjibwa.

Omu ku bannamagye eyabadde ne fayiro eraga nti bamulinako ebiwandiiko yamukambuwalidde n’alagira omu ku baserikale eyabadde n’emmundu ennene okumussaako empingu.

Baamusibye emikono ne bamuyingiza emmotoka ku kifuba. Abalala baakubye ssimu ku poliisi babayambe ate abamu ne balagira abaserikale b’ekisaakaate ky’ekizimbe kya Madvan Foundation baggalewo ggeeti bazisibeko ne kkufulu.

Ekiseera kino abasuubuzi baabadde bamaze okukuη− ηaana okulaba aba URA abatambulidde mu mmotoka za UPDF ssatu okulumba sitoowa y’Omuyindi. Ababbi bwe baalabye nga geeti zisibiddwa, abaabadde n’emmundu bataano ne badduka. Baayise mu lukuubo oluli emmanju w’ebizimbe bya Madvan Foundation ebisangibwa ku Jinja Road ne babuuka ekikomera ne badduka.

Oluvannyuma Omuyindi yategeezezza nti, ababbi abo nga beeyita bakozi ba kitongole kya URA era nga batambulira mu mmotoka z’amagye baabalumba nga bakyakolera ku luguudo lwa Bombo Road era ne bababba mu ngeri y’emu nga baatikka kompyuta zonna era ne babalagira nti bagende beeyanjule ku kitebe ky’omusolo e Nakawa kyokka bwe baatuukayo, baabagamba nti abo tebabamanyi.

Beemulugunyizza nti bizinensi ku Bombo Road baali bagisudde kwe kusengukira mu Madvan Foundation kyokka nayo babasanzeeyo. Poliisi yakutteko omu RA 215553 Lance Corporal Richard Isoke ng’agezaako okuggyawo mmotoka ya mukama we adduke. Abataano abadduse, nabo ebayigga bannyonnyole.

Poliisi yabasuuzizza n’emmundu nnamba UG UPDF 56-128125288 kika kya SMG emanyiddwa nga AK47 ne magaziini ejjudde amasasi. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Lucas Owoyesigyire yagambye nti, banoonyereza okuzuula abaaluse olukwe luno ne baggulawo omusango ku Fayiro CRB 1559/2018 ku CPS mu Kampala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...