TOP

Eyanoba ewa Ssegawa abotodde ebyama

By Josephat Sseguya

Added 4th November 2018

Eyanoba ewa Ssegawa abotodde ebyama

Reb1 703x422

Nabakooza ng’akutte ekifaananyi kya Ssegawa (ku kkono).

OMUKAZI eyanoba ewa Ssegawa ayogedde emize gy’omuyimbi ono egyamulemesa obufumbo n’alabula omugole Prossy Mbabazi okwenyweza kubanga ky’ayingidde si kyangu.

Shamim Nabakooza omutuuze w’e Wantoni mu kibuga ky’e Mukono, yali mufumbo ewa Vincent Ssegawa ne bazaala n’omwana kati wa myaka ena kyokka agamba nti, okufumba ewa Ssegawa olina kwesiba bbiri! Yalabudde omugole Prossy nti, alina okwegerendereza ebintu bisatu ku Ssegawa bw’abigumira ajja kufumba bwe bimulema okugumiikiriza, eddya nga limulemye.

Yagambye nti ebbanga lye yamala ne Ssegawa yamuzuula nga;

1 Aliko ekintu ekimulinnya ekiro n’agugumuka n’afuluma ebweru amatumbi budde nti era akomawo obudde busaasaana nti kyokka bwe yamubuuzanga gy’abadde ng’amuddamu nti, bwe budde mw’ayiiyiza ennyimba era ebigambo bijja afulumyeko ebweru.

2 Nti ebbanga lye yamala ne Ssegawa ng’alina omwana, teyamuzimbira nnyumba wadde okusiinya ku nteekateeka y’okwezimba.

Agattako nti, “Maama wange yafa nga ndi lubuto lwa Ssegawa era ne mmubikira kyokka teyalinnyayo, ate ne bwe nafuna akabenje ng’era ndi lubuto lwa Ssegawa era teyalinnya mu ddwaaliro”.

3 Yagasseeko nti, talaba nga ku musajja muzibu nga Ssegawa, ebbanga lyonna kubanga bwe yafunanga ebizibu, ye yaleebuukananga n’atuuka n’okuvuma abantu ab’obwereere ku kkooti nga John Kabanda amuwawaabidde kyokka mpaawo kye yafuna mu Ssegawa.

4 Ekisembayo yagambye nti, Mbabazi ky’alina okugumira bwe bwenzi bwa Ssegawa. Yagambye nti, okuyita abakazi alondemu yabadde atuukiriza nkola ye ey’okwagala ennyo abakazi n’okukola amawulire kubanga muntu wa kwagala butaala.

Yagambye nti, lwe yeewambira mu Mabiri, yasooka kumutegeeza nti waliwo ebyali binaatera okufulumira mu mawulire era bw’abiraba teyeewuunya era ekyaddako kuwulira nti bba baali bamuwambye. Yagambye nti, bwe yazaala, Ssegawa yagaana okulabirira omwana n’atuuka n’okugenda ku ssomero nga y’atetenkanya n’amuweerera.

Yagasseeko nti, jjuuzi Ssegawa bwe yaddamu okutegeka ekivvulu e Mukono, yasalawo amulumbe amubuulire lwaki tamuwa buyambi. Yagambye nti, Ssegawa yamuwendulira bakanyama ne bamutangira n’asalawo okumulinda ng’ekivvulu kiwedde.

Bwe yamulumba amunnyonnyole badda mu kwesika era Ssegawa yaddusa bigere okuva e Mukono okutuuka e Seeta nga Nabakooza amugoba. Bwe yakubira bannyina, yabagamba nti, Nabakooza yali amukubye era ne basala amagezi omwana ne bamumuggyako.

Yagambye nti, abakazi bonna abafumbye ewa Ssegawa abadde abawa amagezi nga tebagawulira era nti amagezi gano yabakazigawa ne Jamirah (eyasembyeyo okunoba ewa Ssegawa) nti naye n’atagawuliriza wabula amaka yagavuddemu naye yeekokkola linnya Ssegawa.

SSEGAWA AYANUKUDDE Ssegawa bwe yatuukiriddwa yagambye nti teyeewuunya bigambo bya Shamim kubanga bye boogerwa omukazi yenna anobye oba gwe bakyaye. Yagambye nti Shamim yamusisinkana mu kivvulu era mu bivvulu eyo omukazi ono nti gye yafunira abasajja abaamuggya ku mulamwa.

Ssegawa yagasseeko nti, “Oyo yansuulira omwana omuto era nze mmulabirira!” Ssegawa yagambye nti: Okumanya omukyala oyo yali muzibu, oyinza okukikkiriza nti yankubanga, nga tampa kitiibwa ng’omusajja naye byonna nga nsirika busirisi.

Yalumirizza nti abayimbi abali mu nkambi erwanyisa Ssegawa nti be baawabya Shamim ne bamuwa amagezi abeegatteko balwanyise omuyimbi wa Kadongokamu ono eyayimba ennyimba nga ‘Siisiiri twamukooye’, ‘Balemeddwa okwekolera’, ‘Ekyatusomosa Lwera’ n’endala.

Yawunzise agamba nti obuggya bwe butawaanya Shamim era n’agumya mukyala we omuggya Prossy nti eby’okugugumuka ekiro Shamim ky’ayogerako kya kumusiiga nziro amulemese obufumbo bwe baatandise.

ABAKAZI BE YAKOZESEZZA YINTAVIYU Y’EBYA SSENGA BATABUSE Abakazi abalumiriza Ssegawa nti yabakozesezza yintaviyu ekwata ku nsonga z’ekisenge kyokka n’abasuula nabo bakutte wansi ne waggulu nga bagamba nti omuyimbi ono yabajolonze nnyo.

Kigambibwa nti ku bawala abasukka mu 50 abeesowolayo nga baagala okufumbirwa Ssegawa kuliko 11 abaatuuse ku mutendera ogukola yintaviyu ku nsonga za Ssenga. Yintaviyu ku nsonga za Ssenga nti baagikoledde mu bifo bya njawulo era abamu baagikoledde Nansana, abalala Nakulabye ate abalala Nateete era abasinga yintaviyu Ssegawa yagibaweeredde mu wooteeri munda.

Abakazi bana kw’abo 11 abaakoze yintaviyu ku bya Ssenga basitudde enkundi era baagala n’ebibiina ebirwanirira eddembe ly’abakyala bibalwanirireko nga bagamba nti yintaviyu eno yabadde etyoboola ekitiibwa kyabwe ng’abakyala.Abakazi bano (amannya galekeddwa) baagaanye okunnyonnyolaakawonvu n’akagga ku byabadde mu yintaviyu eno, kyokka obwedda beekokkola nti yabadde mbi gye bali.

Bonna baagambye nti tebandikifuddeko nnyo singa be baayiseemu, wabula okubakozesa yintaviyu eno ate ne batayitamu kufumbirwa Ssegawa kibakosezza nnyo mu birowoozo. Omu ku bawala eyagambye nti yavudde Mbarara yagambye nti yintaviyu eno yagikoledde ku wooteeri emu e Nateete nti era omu ku bayambi ba Ssegawa ye yamututte ku wooteeri eno gye yasisinkanidde Ssegawa mu kyama.

Omuwala ono yagambye nti Ssegawa okumumatiza okukola yintaviyu eno yamusuubizza nti muyabakazi bonna abaakuhhaanye, omuwala ono nti y’alina enkizo era nti n’amukakasa nti yintaviyu eyo bw’eggwa nga kiwedde. Yagambye nti kyamubuuseeko ate ku ssaawa esembayo nga Ssegawa alonze Prossy Mbabazi nti gw’agenda okuwasa!

Omuwala ono mu nnyiike yagambye nti: Okumanya yaswadde (Ssegawa), yatidde n’okuyimirira ng’omusajja okulonda omukazi gw’anaawasa, n’akuba mwannyina akaama era mwannyina oyo ye yasituse okulonda Prossy.

Omukazi omulala yavudde Fort Portal era ono yatabukidde Ssegawa ng’amubuuza lwaki yabamalidde obudde bwabwe ng’ate akimanyi tagenda kubawasa. Mu kumukkakkanya, Ssegawa baamuwadde amagezi amuwe ssente z’entambula emuzza e Fort Portal ng’amuteereddemu n’ezinaagula ka sooda k’anaanywera mu kkubo ng’adda ewaabwe.

Ku mukolo Ssegawa kwe yalangiriridde omukazi gw’alonze mu bawala bonna be yasimbya layini, ogwabadde ku Holly Farm e Nansana ku Lwokuna, Jacent Namugerwa mwannyina wa Ssegawa ye yasonze ku Prossy nti gw’alonze ku lwa mwannyina. Kigambibwa nti Ssegawa ye yalagidde Namugerwa alonde Prossy mu bawala abataano abaabadde batuuse ku mutendera ogusembayo.

Wadde abamu baabadde bagamba nti Ssegawa yali yayagalana dda ne Prossy kyokka ng’anoonya engeri gy’amutongoza aleme kulabika ng’abadde yamwagala edda nga ne mukazi we tannanoba; kyokka abamuli ku lusegere bino baabiwakanyizza.

Ensonda zaategeezezza nti okwawukanako ku bawala ababadde bavuganya, Ssegawa yasisinkanye Prossy enfunda nnyingi ku wooteeri ez’enjawulo era okulangirira kwagenze okukolebwa nga Prossy ne Ssegawa buli omu ategeera munne okuva ku mutwe okutuuka ku kagere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mpolo9webusebig 220x290

Bakatikkiro b'ebika bafunye essuubi...

Ssaabawolereza wa Mmengo, Christopher Bwanika yasabye ebika okuwandiisa enkiiko z'abayima era balambike bulungi...

Renah1 220x290

Renah Nalumansi azaalidde maneja...

Omuyimbi Renah Nalumansi azaalidde Justin Bas omusika ne yeewaana "sikyali mu kiraasi ya ba laavu nigga"

Tegula 220x290

Mutabani, buno bwe butaka bwaffe...

MUTABANI wa Bobi Wine akuze. Era nga taata ow’obuvunaanyizibwa, Bobi Wine takyaleka mutabani we waka.

Fun 220x290

Nakakande yeeriisa nkuuli mu Miss...

NNALULUNGI wa Uganda, Oliver Nakakande (owookubiri ku ddyo) ayongedde okutangaaza emikisa gye okuvuganya mu mpaka...

Kubayo 220x290

Eddy Kenzo Guma newange bibuuza...

ABAYIMBI Jose Chameleone ne Eddy Kenzo baabaddeko mu kivvulu kya Wizkid e Lugogo. Baalabiddwaako nga beesika mu...