TOP

Eyeewera okweyambulira Museveni ayimbuddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 4th November 2018

Eyeewera okweyambulira Museveni ayimbuddwa

Hap2 703x422

OMULAMUZI Stella Maria Amabilis, owa kkooti ya Buganda Road ayimbudde omuwala Suzan Namata avunaanibwa okukozesa obubi yintanenti n’okuvuma Pulezidenti. Namata 21, yayimbuddwa ku kakalu ka mitwalo 60 oluvannyuma lw’okuleeta abantu be babiri abamweyimirira kkooti b’ekkirizza olwo n’ayimbulwa.

Bano kwabaddeko maama we Jesca Namubiru ne Rose Nampala nga naye nnyina omuto. Okusaba kwe yakuyisizza mu munnamateeka Isaac Ssemakadde n’ategeeza omulamuzi nti mulwadde.

Okuva lwe yakwatibwa nga August 27 , abadde mu kadukulu ka poliisi nga tafuna bujjanjabi kyokka nga ne bwe yali akwatibwa yaggyibwa mu ddwaaliro. Omuwala ono yasimbiddwa mu kkooti n’avunaanibwa emisango ebiri okuli okukozesa obubi yintanenti ssaako okukozesa olulimi oluvvoola ekitiibwa kya Pulezidenti era gyonna n’agyegaana.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwa Mariam Njuki lulumiriza nti mu August omwaka guno omuwala ono ne mukwano gwe Sheilah Akampulira baafulumya akatambi nga bawera okulumba Museveni bamweyambulire ssinga tayimbula omubaka wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) eyali asibiddwa ebiseera ebyo

. Wadde ng’oludda oluwaabi lwagezezzaako okuwakanya okuyimbulwa kwa Namata kyokka omulamuzi yategeezezza nga bwe riri eddembe lye okweyimirirwa bw’atyo n’amulagira asasule emitwalo 60 adde awaka. Omusango guddamu nga November 20, 2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga

Hat13 220x290

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega...

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega

Tum1 220x290

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi...

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi bw’ebisolo n’emmere