TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Stella Nyanzi akyakuumiddwa mu kaduukulu ka Poliisi

Stella Nyanzi akyakuumiddwa mu kaduukulu ka Poliisi

By Benjamin Ssebaggala

Added 6th November 2018

Nyanzi poliisi yamukutte wiiki ewedde ku poliisi e Wandegeya ne bamuggalira ku SIU e Kireka.

Stellannyanzi 703x422

Dr. Stella Nnyanzi

Bya BENJAMIN SSEBAGGALA
 
WE bwazibidde eggulo nga Dr. Stella Nyanzi akyali mu kaduukulu ka poliisi gye baamuggalira wiiki ewedde olw’okuvuma Pulezidenti Museveni n’amulangira amagufa.
 
Nyanzi poliisi yamukutte wiiki ewedde ku poliisi e Wandegeya ne bamuggalira ku SIU e Kireka. Yabadde agenze ku poliisi ng’ayagala emuwe obukuumi akumbe nga yeekalakaasa olwa yunivasite y’e Makerere okugaana okumuzza ku mulimu
so ng’akakiiko kaawuliriza ensonga ze ne kasalawo nti baali baamugoba mu bukyamu ne kalagira adde ku mulimu.
 
Nyanzi yabadde ategese okukumba nga yeekalakaasa okuva ku poliisi e Wandegeya atuuke e Makerere kyokka nga ne poliisi yamwetegekedde olw’ebigambo bye yatadde ku mukutu gwe ogwa ‘Facebook’ gye buvuddeko ng’avuma pulezidenti Museveni
nga n’ebigambo ebimu biwemula kwe kumukwata.
 
Omusango teguvunda, ebigambo ebyakwatisizza Nyanzi yabiwandiika September 14, 2018 ku mazaalibwa ga Museveni ag’emyaka 74. Nyanzi yasaba nnyina wa Museveni omugenzi Esteri Kokundeka ajje atwale mutabaniwe.
 
Wiiki ewedde, omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekibuuliriza ku misango Vincent
Ssekate, yakakasizza eri abaamawulire nti Nyanzi poliisi yamukutte.
 
Ku Mande baabadde basuubira okumuleeta mu kkooti kyokka tebaamuleese.
 
Omwaka oguwedde mu March, nga Polof. John Ddumba Ssentamu y’akyali Cansala
wa Makerere, ng’akolera ku biragiro bya ssentebe w’olukiiko lwa Makerere olugaba emirimu Bruce Balaba Kabaasa yayimiriza Dr. Nyanzi.
 
Isaac Ssemakadde munnamateeka wa Dr. Nyanzi yategeezezza BUKEDDE nti, eggulo baagenze ku poliisi e Kibuli gye baagaanidde okuggyako omuntu we sitetimenti kubanga baabadde tebamubuulira misango gye bamuggulako.
 
Ayongerako nti bbo omulimu gwe balina guli gumu kumuzza Makerere nga kkooti
bwe yalagira. Ekiseera kino bamulekedde poliisi esalewo eky’okumukolera kubanga tebamuggulako musango, tebamuta ate tebamututte mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu...

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu ggiya

Set1 220x290

Museveni awabudde ku nteekateeka...

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Tip2 220x290

Abbye abaana babiri n’abatwalira...

Abbye abaana babiri n’abatwalira muganzi we

Top2 220x290

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso...

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Nem1 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa...