TOP

Bagobye 90 mu Flying Squad

By Musasi wa Bukedde

Added 6th November 2018

POLIISI egobye abaserikale ababadde bakola ne Flying Squad n’eragira wabeewo okusunsula okw’enjawulo ku bantu abayambako ekitongole ekyo mu bikwekweto ebikolebwa.

Flyingsquad1 703x422

Aba poliisi n’aba Flying Squad nga bakola ebikwekweto ku myala mu Kampala gye buvuddeko.

Bya BASASI BAFFE
 
POLIISI egobye abaserikale ababadde bakola ne Flying Squad n’eragira wabeewo okusunsula okw’enjawulo ku bantu abayambako ekitongole ekyo mu bikwekweto
ebikolebwa.
 
Ekiragiro ekibagoba kyavudde wa muduumizi wa poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola oluvannyuma lw’okukizuula nti abayambako Flying Squad (bamanyiddwa nga Operatives) kumpi bonna tebaasunsulwa bulungi ekivaako okuwa amawulire amakyamu n’okukwata abantu mu ngeri etagoberera mateeka.
 
Wadde omuwendo gw’abaagobeddwa poliisi teyaguwadde, wabula ensonda mu
Flying Squad zaategeezezza nti abaagobeddwa bali 90.
 
Okubagoba kiddiridde akavuyo mu kitongole kya poliisi ekirwanyisa abazigu ab’emmundu n’okukola ku misango egy’amaanyi ekiyitibwa Flying Squad okweyongera.
 
Ensonda zaategeezezza nti, Ochola bwe yafunye okwemulugunya yakubidde dayirekita w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) AIGP Grace Akullo
n’omuduumizi wa Flying Squad Peter Kakonge batereeze ekitongole.
 
 akonge Kakonge

 

Omwezi oguwedde, katono abaserikale ba Flying Squad bakubagane n’abaserikale ba poliisi y’e Kitebi amasasi bwe baali bagenze okununula bannaabwe abaali bakwatiddwa ne baggalirwa ku poliisi eno.
 
Abaalumba okununula abasibe, kw’aliko abaserikale abalina nnamba mu poliisi n’abo abayamba ku Flying Squad okukola ebikwekweto byayo (Operatives) aba Flying Squad ne basinza aba poliisi y’e Kitebi amaanyi ne babaggyako abasibe.
 
Mu lipooti, atwala poliisi y’e Kitebi gye yakola mu bakama be ku byaliwo, yagamba nti nga October 28, ekiro ku kisaawe e Wankulukuku mu kivvulu kya Bukedde FaMa Embuutikizi ekyali kituumiddwa ‘Embuutu y’embuutikizi Kalakata’ aba Flying Squad ne ba ‘operatives’ baabwe nga n’abamu baali baagobwa dda mu poliisi, baayingira mu kisaawe e Wankulukuku nga bakaalakaala n’emmundu.
 
Yagamba nti, abamu baali bamenyi b’amateeka lukulwe ate abaalina emmundu baliko abantu be baali baagala okukwata ne bateekawo akavuyo kwe kulagira basajja be babakwate okutangira okuyiwa omusaayi.
 
Bataano ku bbo baatwalibwa ne baggalirwa ku poliisi y’e Kitebi bannaabwe gye baalumba ne bamenya akaduukulu ne babaggyamu ku mpaka.
 
Kyokka oluvannyuma kyategerekeka nti, gwe baali baagala okukwata, yali mumenyi
w’amateeka eyali anoonyezebwa ku misango gy’okubba mmotoka ne ssente obukadde
200. Lipooti y’atwala poliisi y’e Kitebi bwe yatuuka ew’omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, kwekulagira ensonga eyo enoonyerezebweko kubanga mu mateeka, ba ‘Operative’ tebateekeddwa kukwata ku mmundu, balina kuyambako ku baserikale.
 
Wiiki ewedde, bazzeemu ne balumba kkooti ya Buganda Road okukwata Ssaalongo Ibrahim Ssemanda agambibwa okubeera omubbi w’emmotoka owoolulango.
 
Ssemanda yabadde ayimbuddwa ku kakalu ka kkooti kyokka ng’alina emisango emirala egy’okubba mmotoka ya muwala wa dayirekita wa JATT Charlie Asiimwe. Baamenye akaduukulu ng’aba famire ye baagala okumutolosa ne bamusinkambulayo.
 
Wabaddewo n’okwemulugunya okuva mu bantu ku ngeri embi gye bakolamu omulimu gwabwe ng’ate abakulira poliisi baali baasalawo okutereeza ekitongole kino kituukane n’omutindo gwa poliisi mu nsi yonna.
 
Ensonda zaategeezezza nti, basoose kubayita bonna ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku misango e Kibuli ku nkomerero ya wiiki ewedde.
 
Ekyabayisizza e Kibuli mwabaddemu okumanya obungi bwabwe, ebibakwatako ne gye bakolera.
 
Omuduumuzi wa Flying Squad Peter Kakonge yagambye nti, abantu abo baabayimirizza nga bwe balinda okubasunsulamu balabe abalina ebisaanyizo be
basobola okukola nabo n’abo abatalina bisaanyizo bibasobozesa kukola na kitongole baddeyo bakole ebirala.
 
“Kituufu ba Operatives ababadde bakola ne Flying Squad
bayimiriziddwa ku mirimu nga waliwo ebintu bye twetegereza”
Kakonge bwe yategezezza Bukedde eggulo.
 
Yagasseeko nti: ba ‘Operative’ bangi tebalina butendeke mu bya kijaasi butuukana na bwa baserikale.
 
Omu ku bali mu poliisi yagasseeko nti: Abasinga amaanyi gaabwe ge gabadde gabeeyimirira mu kukola n’ekitongole kino, kyokka n’emmundu babadde bazikwata
wadde ng’abasinga tebalina bukugu bumala ku nkozesa yaazo, abaddukanya poliisi kye balabye nti kya bulabe.
 
Wabula ensonda mu poliisi zaategeezezza nti waliwo abaserikale abagwa mu ttuluba lino 10 abasigadde nga bakola oluvannyuma lw’okusunsulibwamu ne kizuulwa nti balina obusobozi obukola emirimu omuli okukola ebikwekweto ne bakwata ababbi n’abamenyi b’amateeka nga babalinako obujulizi obubaluma, okwawukanako
ku bannaabwe babadde bakozesa amaanyi ga Flying Squad okuggya ssente mu bantu be baba bayunzeeko emisango.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabuzi1 220x290

Uganda ekubye Malawi 2-0 n'ewaga...

MU Mupiira, waliwo enjogera egamba nti tewali buwanguzi bubi, wabula waliwo bw’otuuka ekiseera ng’olina okutunuulira...

Gendako 220x290

Engeri okwanjula kwa Hamza gye...

Ebika bibiri eky’Endiga n’Ekyolugave Rema mw’azaalwa byali tebimanyiganye era nga tebasisinkanangako.

Bwama 220x290

Rema annyonnyodde by'ayiseemu ng'anoonya...

Rema yabattottolera obuzibu bwe yayitamu ng’anoonya ekika kye. Nti olumu Rema yasisinkana Ssenga we Nabatanzi ku...

Laga 220x290

Rema yasoose kukolebwako mikolo...

E Kyengera mu wiiki eddirira emikolo, Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza, Rema yali ne...

Buuza 220x290

Embaga ya Rema eriko ebibuuza

Kirumira yagasseeko nti ennaku z’omwezi baakuzitegeeza abantu mu kiseera ekituufu; n’annyonnyola nti enteekateeka...