TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssegawa be yaleseewo bafunye abasajja ababatwala

Ssegawa be yaleseewo bafunye abasajja ababatwala

By Josephat Sseguya

Added 6th November 2018

Omuwala ono omweruyeru mu ndabika nga muwanvu, mutonotono, yabadde asibye akatambaala aka kyenvu ku mutwe n’akamwenyumwenyu era ng’alabika bulungi. Mawanda eyabadde alabika ng’amwetaaga, yazze n’abaana be babiri n’alekawo n’endagiriro ye n’ennamba z’essimu n’asaba omuwala oyo ajje ku BUKEDDE bazimuwe bakwatagane.

Mawanda 703x422

Omuwala Mawanda gwanoonya.

Bya JOSEPHAT SSEGUYA NE MOSES KIGONGO

 

ABAKAZI abalala 49 abaafi kka ku abo 50 Vincent Ssegawa mwe yalonda, batandise

okufuna ababatwala. Omusajja omusuubuzi w’omu Kampala yazze mu ofiisi za BUKEDDE ku Ssande n’ategeeza ng’omu ku bawala abaagenda e Nansana ku bbaala ya Holly Fam okusisinkana Ssegawa bwe yafaanana maama w’abaana be n’amumalayo n’asaba ennamba

bakwatagane agende amuwase.

 

Omusajja, Samuel Mawanda agamba nti mukaziwe yafa kibwatukira emyaka mukaaga egiyise n’amulekera abaana wabula bwe yatunuulidde ekifaananyi ky’omuwala oyo, asobola okumwagala ebya ddala nga bwe yayagalanga mukyalawe kuba alaba bafaanaganya bingi mu

ndabika.

 

Omuwala ono omweruyeru mu ndabika nga muwanvu, mutonotono, yabadde asibye akatambaala aka kyenvu ku mutwe n’akamwenyumwenyu era ng’alabika bulungi.

Mawanda eyabadde alabika ng’amwetaaga, yazze n’abaana be babiri n’alekawo n’endagiriro

ye n’ennamba z’essimu n’asaba omuwala oyo ajje ku BUKEDDE bazimuwe bakwatagane.

 

Oyo si ye yekka, wabula abasajja abalala bangi abajja mu BUKEDDE wadde ng’abasinga

tebaagala kubalaga mu mawulire nga basaba ennamba z’abawala abaasigalawo babeetwalire nga bagamba nti balinga mata g’e Kenya.

 

Ennamba ezisinga ez’abawala bano, Ssegawa n’abayambi be, be bazirina ate ng’ababatuukirira okuzibawa tebababeerera bangu. 

 

Abalala abaagala batuukirira akola ku nsonga z’abanoonya ku BUKEDDE ttivvi n’avunaanyizibwa ku SSENGA wa BUKEDDE olupapula nga baagala okumanya bwe bayinza okufuna abawala bano.

 

Abakazi 50 be baasooka okukuηηaanira ku bbaala ya Holly fam e Nansana nga baagala Ssegawa era n’alondamu bataano abaakomyewo ku Lwokuna oluwedde era nga Ssegawa ayambibwako mwannyina Annet Nandujja, yalonzeemu Prossy Mbabazi kati akaayanirwa.

 segawa nomugole we babazi gwe yalonze Ssegawa n'omugole we Mbabazi gwe yalonze.

 

 

OMUGOLE WA SSEGAWA BAMUKAAYANIRA

Ebyo nga biri awo, eby’omugole Prossy Mbabazi, omuyimbi Ssegawa gwe yalonda mu 50

bitandise okumwonoonekera bwe weesowoddeyo omuvubuka ng’akaayana nti Ssegawa yamutwalidde omukazi.

 

‘Oyo Mbabazi muntu wange era mwetaaga, amanye nti kye yakoze kikyamu kubanga alina

kubeera wange,’ bw’atyo Steven Ddamba bw’agamba. Ono agamba nti, akolera mu

Kampala, wabula nga Mbabazi yamusanga Masaka bwe yali ku mirimu gye ne baagalana. Nti

abadde yamubulako ennaku nga ziizo nga bafunyeemu obutakkaanya ate yagenze okumwekanga ng’ali ku ttivvi amulaba afuuse mukazi wa Ssegawa.

 

Ddamba anyumya nti, yeekanze n’akubira Mbabazi n’amubuuza ekigenda mu maaso n’amutegeeza nga bwe yasazeewo bw’atyo kyokka n’amusuubiza nga bwe bajja okusisinkana amuyitiremu ebisingawo.

 

BABIYINGIZZAAMU MATHIAS WALUKAGGA

Vincent Ssegawa eggulo yavuddeyo n’ategeeza BUKEDDE nti ekyamukyayisa omu ku baasooka okubeera bakazibe, Shamim Nabakooza ow’e Mukono, ye mukyala oyo okufuuka mukwano gwa Mathias Walukagga ate ng’akimanyi nti Ssegawa takolagana na Walukagga. 

 

 alukagga Walukagga

 

Ssegawa agamba nti, Walukagga tamwagalira ddala ate yagenda okulaba ng’afunye enkolagana ey’amangu ate nga ya njawulo ne mukyalawe n’asalawo abiveemu kwe kumulekawo n’omwanawe ow’emyaka ena.

 

Shamim yakkirizza nga bw’ali mukwano gwa Walukagga wabula nti enkolagana ye n’omuyimbi oyo teriimu laavu era Ssegawa yeekwasa bwekwasa.

 

Yakalambidde nga bwe yakyawa Ssegawa olw’obwenzi n’okuzuukukanga ekiro n’agenda ye gy’atamanyi ate bw’akomawo n’amugamba nti ava kuyiiya nnyimba kyokka ye ng’alowooza nti aba agenze kusera.

 

Walukagga agamba nti, omukyala oyo mukwano gwe naye ate kirabika mukwano gwa Walukagga bwe bakola naye mu kibiina kya Vision Heroes amanyiddwa nga Kiviiri, ayinza okuba nga gw’alina naye enkolagana ey’enjawulo ekyanyiiza Ssegawa ne yeekwasa ye (Walukagga).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi