TOP

Museveni ayanukudde ku ssente z’agaba

By Muwanga Kakooza

Added 6th November 2018

PULEZIDENTI Museveni ayanukudde aba NRM abeemulugunya nti agenda amansa ssente mu bavubuka b’omu Kampala abatamuwagira mu kifo ky’okuziwa abawagizi be.

Bya Muwanga Kakooza
 
PULEZIDENTI Museveni ayanukudde aba NRM abeemulugunya nti agenda amansa ssente mu bavubuka b’omu Kampala abatamuwagira mu kifo ky’okuziwa abawagizi be.
 
Agambye nti n’abooludda oluvuganya Bannayuganda noolwekyo balina okuganyulwa mu ntegeka za gavumenti.
 
Era agambye nti ezimu ku nsonga kw’asinziira okuwa abantu obuyambi bw’ensimbi, kuliko okugoberera enkola y’eddiini eyogera ku kuyamba muliraanwa wo ofune empeera mu Ggulu.
 
Bino biri mu kiwandiiko Museveni kye yafulumizza okunnyonnyola ensimbi z’okwekulaakulanya z’agaba mu Kampala n’ebitundu ebirala n’okwemulugunya
okuva mu bamu ku bawagizi ba NRM nti ensimbi aziwa ba ludda luvuganya n’aleka ‘abali mu kintu.’
 
Yagambye nti eby’okuyamba okukulaakulanya abantu yabitandika mu myaka gya 1960 e Kiruhura kuba gye yali abeera nga tayagala baliraanwa be babe baavu.
 
Era eno abantu baakyuka nnyo ne badda mu kulima n’okulunda okw’okufuna ssente.
 
Era eno gye yava n’ajja ng’atalaaga ebitundu bya Uganda ebitali bimu ng’akunga abantu n’okubayamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...