TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Olutalo lwa Muhangi ne Drake luzzeemu ku ttaka lwa Qualicel, Amasasi ganyoose!

Olutalo lwa Muhangi ne Drake luzzeemu ku ttaka lwa Qualicel, Amasasi ganyoose!

By Musasi wa Bukedde

Added 7th November 2018

Olutalo lwa Muhangi ne Drake luzzeemu ku ttaka lwa Qualicel, Amasasi ganyoose!

Ha1 703x422

Drake Lubega ku kkono ate ku ddyo ye Charles Muhangi bano bakaayanira bwannanyini ttaka okuli ppaaka ya Bbaasi n'ekizimbe kya Qualicel

ABASERIKALE basumuludde amasasi n’embwa wakati mu kibuga ng’abagagga basatu balwanira ebizimbe ebitudde ku ttaka lya bbaasi za Qualicel e Nakivubo. Omugagga wa bbaasi Charles Muhangi olwafunye ebbaluwa eyassiddwaako omukono gwa Charity Nabasa ku lwa Ssaabaluhhamya wa Gavumenti mu by'amateeka n’awerekerwa poliisi n’akwasibwa ettaka.

Wakati mu kwagala okutwaliramu ebizimbe bya Drake Lubega n’ekya Mansoor Matovu (Yanga) nga batandise n’okukyusa kkufulu, abaserikale b’abagagga (Lubega ne Yanga) baabawakanyizza. Baabateeredde embwa. Poliisi wakati mu kwetaasa n’esumulula amasasi agaasaanikidde ekibuga n’okubunyisa abasuubuzi emiwabo.

Omu ku bakulembeze b’abasuubuzi mu kitundu ekyo Ibrahim Mboowa yategeezezza nti, “Zaabade ssaawa nga 1:30 ey'akawungeezi abaserikale abakuuma ekizimbe kya Nabukeera ne bayingirawo n’embwa nga bagamba nti baagala kunyweza byakwerinda by’ekifo kino. Aba Muhangi baabadde bakyabannyonnyola ng’ekifo kino bwe kyabadde mu mikono gyabwe ne babateeera embwa ekintu ekyabasaanudde ne basumulula amasasi olwo abakuumi ba Yanga n’abasuubuzi abaabaddewo ne babuna emiwabo”.

Ate abalala abakolera mu bizimbe okuli ekya Nabukeera ne Qualicel basattira olw’ebiragiro ebipya ebyabaweeredwa omugagga Charles Muhangi nga yaakamala okweddiza ettaka okutudde ebizimbe bino.

OBUKWAKKULIZO Ekiwandiiko kya Muhangi kitegeezezza abasuubuzi nti buli omu addemu yeewandiise mu ofiisi ya Horizon ne ssente 200,000/-. okweyanjula mu ofiisi eyo ate basasule ne ssente z’obupangisa mu bbanga ttono. Kino kisattizza abasuubuzi nga batya nti bakyayinza okuzisasula ate Muhangi n'addamu okusiguukululwa mu kifo kino nga bwe baabakola okusooka ate nga baasasula dda Lubega. Wabula Drake Lubega yeewuunyizza Muhangi okwagala okubba abasuubuzi. “Oyo hhenda kumuggulako omusango gw’okumenya ebiragiro bya kkooti.

Emisango gyonna gyavaayo dda mu kkooti era ebiwandiiko bye nnina bimenyawo ebya Muhangi naye yabuzaabuzizza poliisi n’emuyingiza paaka yange. hhenda kumugobako ate andiyirire buwumbi era ndabula abasuubuzi okwegendereza okubuzaabuzibwa", Lubega bwe yagambye. Ate Yanga yategeezezza nti eryo ttaka lyabwe era yeewuunya Muhangi okulowooza nti bayinza okumuzimbira akeedi ye n’akozesa akabaluwa okutwala ebizimbe byabwe. “Gundi oyo tamanyi ppeesa lye yanyize.

Awo waliwo ebyapa era ekyapa tekimala gasazibwamu. Mmulabula tazannyira ku bizimbe byaffe kubanga tamanyi muliro gw'asaagirako", Yanga bwe yagambye.

ENTALO KU TTAKA LINO Entalo ku ttaka liwa Qualicel Bus Terminal zikulungudde emyaaka 14 ng’abagagga babiri okuli Drake Lubega ne Charles Muhangi buli omu tatunula ku munne. Drake Lubega okusinziira ku biwandiiko by’alina awaga nti, Muhangi ne bwe yeetooloola atya mu ofiisi za Gavumenti ez’enjawulo tasobola kumutwalako ttaka eryo.

Ate Muhangi naye awera nti babadde baamulemesa dda okulinnya ku ttaka naye nga bw’alizzeeko buli ekiririko kimuddidde. Mu 2002, KCCA eyali KCC ekiseera ekyo yakkiriza okuguza ettaka mu nkola ya liizi kkampuni mwenda ezeegatta ne zikola ekibiina kimu ekiyitibwa Uganda Bus Operators Association (UBOA) oluvannyuma gye baafuula kkampuni eyitibwa UBOA Investments Ltd. Kkampuni zino kwaliko Lowi Road way Ltd, Long Freighters Ltd, Kyn and Reyne Investments, Horizon Coaches Ltd., Kabonesa Investments Ltd., Travelers Choice Ltd., Hajj Asuman Junju and Sons Ltd., UBOA Central Ltd. ne Global Technical Works Ltd. Okusika omuguwa kwasooka mu bakulira kkampuni zino zennyini abamu nga balumiriza bannaabwe okwekomya ettaka n’obuyinza bwonna ku nzirukanya ya ppaaka ya bbaasi ate ng'ettaka lyabwe bonna. Ekiseera ekyo kkampuni ya Horizon Coaches Ltd. ye yali eddukanya ppaaka ya bbaasi. Ku ttaka eryo eriweza yiika bbiri, kwaliko akatale akayitibwa aka Katimba ng’akatale ako kaali ka kiseera. Akatale kaasendebwa era ekibangirizi we kaali kkampuni ya UBOA Investments Ltd. n’etundawo. Yaguzaawo John Bosco Muwonge, John Ssebalamu ne Christine Nabukeera era ne bazimbawo ebizimbe okuli Premium n’ebirala era eyo teri nkaayana.

Okutunda ekitundu ky’ettaka lino tekyasanyusa abamu ku bakulira kkampuni ez'enjawulo ezeegattaKCC n'eziwa ettaka. Baali bakyayogera ku butunzi obwo ate ne bawulira ebigambibwa nti kkampuni ya Total nayo baagisaliddeko ekitundu ezimbeko essundiro ly’amafuta.

Kino kyatabula abakulira kkampuni endala omunaana ezeegatta bagule ettaka eryo. Baalumiriza nti okutunda abamu tebaategeezebwa era kigambibwa nti baatuula ne basalawo nti ettaka eryo balitunde kubanga n’emyaka gya liizi etaano KCC gye yali ebawadde nga gikunukkiriza okuggwaako. Mu 2005, abakulira kkampuni munaana baatuula nga munnaabwe owa kkampuni ya Horizon Coaches Ltd. taliiwo ng’afunidde ebizibu e Mbarara gye yali aggaliddwa mu kkomera ne basalawo okunoonya omugagga atwale ettaka balitaase okuddayo mu KCC.

KCC yali ebataddeko akakwakkulizo nti bwe balemererwa okukulaakulanya ettaka eryo mu myaka etaano liizi bagenda kugibaggyako. Baafuna omugagga Drake Lubega naye eyakkiriza okuligula.

Nga December 23 2005, kkampuni musanvu ku kkampuni mwenda zaaguza Drake Lubega ettaka. Eno ye yali entandikwa y’olutalo wakati wa Drake Lubega ne Charles Muhangi. Muhangi yawakanya obutunzi buno nti bwakolebwa taliiwo era emigabo gye gyonna gyabalibwamu ssente naye byonna n’abigaana.

Lubega olwasasula ettaka ssente ezisoba mu buwumbi butaano buli kkampuni. Mu ggandaalo lya Ssekukkulu yamenya ebiyumba by’abasaabaze ebyaliko ekitundu ekimu n’azimbako ebizimbe bya Qualicel Bus Terminal era n’aguzaako ne mugagga munne Mansoor Matovu (Yanga) naye eyazimbako akeedi ya Nabukeera Plaza. Mu 2006 Muhangi yamulumba n’ayagala okuwambawo kyokka n’amulemesa era okuzimba ku ppaaka awo amasasi gaanyooka. Drake Lubega yamumegga n’azimba n’amaliriza byonna ku biragiro bya kkooti.

Mu 2007 Muhangi yaggulawo omusango n’afuna ekiragiro. Yayingira mu ppaaka n’amalamu omwezi ng’asolooza kyokka Drake n’addayo mu kkooti era n’amufulumya. Oluvannyuma baafulumya lipooti okuva mu ofiisi ya Pulezidenti ekola ku by’ettaka ng'eragira nti waaliwo ensobi eyakolebwa mu kukyusa obwannannyini bw’ettaka okuva mu mikono kya UBOA Investments Ltd. era ebyapa biddemu byekebejjebwe. Kino kyawa Muhangi amaanyi n’ayagala okuddayo ku ttaka era n’agobwa ng’ateekwa kuggulawo musango mu Kkooti Enkulu n’eragira nti ebyapa bisazibwemu kubanga kkooti y’erina obuyinza okulagira ku byapa.

Lubega yafuna ekiragiro kya kkooti ekinyweza ettaka lye. Mu 2011, Lubega yeekubira enduulu mu kkooti ya Ssemateeka ng’awakanya lipooti eyali ekoleddwa ku ttaka okwemulugunya ne bakugoba era olutalo ne lubeerawo lunene. Drake Lubega yajulira mu kkooti Ensukkulumu era abalamuzi bataano ne batuula ne balagira nti bakkiriziganye.

Waliwo ekiwandiiko ekiriko omukono gwa Drake Lubega ne looya we Abdul Kirumira, Charles Muhangi ne balooya be. Nga July 2017 , Muhangi yawandiikira omuwandiisi wa kkooti Ejulirwamu ng’amutegeeza nti ssente z’engassi yazifuna kati ayagala kiragiro ayingire ku ttaka lye.

Omuwandiisi wa kkooti Ejulirwamu Deo Nizeyimana yawandiikira omulamuzi Remy Kasule amuwabule ng’amugattiddeko okukkiriziganya okwali mu kkooti nga Lubega aggyayo omusango nga July 22 2016.

Omulamuzi Remmy Kasule yawabula Ssaabawandiisi wa kkooti Deo Nizeyimana nti ekiragiro kyokka ekiteekeddwa okussibwa mu kkooti kusasula ssente ezaakozesebwa mu kkooti naye amateeka tegakkiriza kuddiza Muhangi ttaka. Muhangi yalemerako okusaba ekiragiro kya kkooti era ebbaluwa nnyingi nga ziva mu ofiisi ya Ssaabaluhhamya wa Gavumenti ku by’amateeka zaafuluma ng’omu bwe bamuwandiikira nga n’omulala bamuwa.

Olutalo lwakoma okuwulirwa nga July 21, 2017 omumyuka wa Ssaabawolereza wa Gavumenti Mwesigwa Rukutana bwe yawandiika ebbaluwa ng’erimu ebiragiro byonna ebizze bifulumizibwa okuva 2011 era n’alagira nti tewali kiragiro kya kkooti kikkiriza Muhangi kuyingira ku ttaka nti embeera esigale nga bw'eri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip1 220x290

Sharif Bogere asomesezza abazannyi...

Sharif Bogere asomesezza abazannyi b'e bikonde e Lugogo

Kab2 220x290

Kabushenga bamwongedde ekisanja...

Kabushenga bamwongedde ekisanja ky'okutegeka emisinde gya Kabaka

Fot1 220x290

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu...

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu mu Hockey

Waliyoomutweogulumiramuliisowebuse 220x290

Engeri ez’enjawulo obulumi bw’omutwe...

Manya ekika ky'omutwe ekiranga endwadde ekutawaanya n'eky'okukola nga tonnatuuka mu ddwaaliro okugukkakkanya

Web2 220x290

Ab'ebyokwerinda bazudde bwiino...

Ab'ebyokwerinda bazudde bwiino ku wa UPDF eyattiddwa mu bubbi