TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Olutalo lwa Muhangi ne Drake Lubega lusitudde enkundi, Ebbaluwa eyaweereddwa Muhangi esaziddwamu

Olutalo lwa Muhangi ne Drake Lubega lusitudde enkundi, Ebbaluwa eyaweereddwa Muhangi esaziddwamu

By Hannington Nkalubo

Added 8th November 2018

Olutalo lwa Muhangi ne Drake Lubega lusitudde enkundi, Ebbaluwa eyaweereddwa Muhangi esaziddwamu

Lab2 703x422

Drake Lubega

OLUTALO lw’abagagga abasatu abakaayanira ettaka n’ebizimbe mu Kampala okuli Francis Drake Lubega, Mansoor Matovu (Yanga) ne Charles Muhangi lwokezza abakungu mu kitongole ekiwabula Gavumenti ku byamateeka.

Omukungu Charity Nabasa eyatadde omukono ku bbaluwa eyalagidde poliisi okutwala Charles Muhangi mu paaka awandiise endala eyimiriza enkadde gye yasooka okuwandiika nga October 23 omwaka guno n’ategeeza nti eyasooka yawandiikibwa mu nsobi.

Ebbaluwa empya yagiwandiise ku Lwokubiri nga November 6 omwaka guno ng’ategeeza omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Okoth Ochola nti ebbaluwa yali teyeetaagisa kuwandiikibwa era n’ategeeza nti enkadde tekyakkirizibwa kukozesebwa.

Eggulo abagagga Drake Lubega ne Yanga, baayitiddwa ku kitebe kya poliisi e Naggulu ne babannyonnyola byonna ebyabaddewo ku bbaluwa eno era baavuddeyo nga basekera mu kikonde nti munnaabwe baamulabula nti byakola bimenya mateeka.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Emilian Kayima yategeezezza nti ebbaluwa empya eyawandiikiddwa Nabasa ng’amenyawo enkadde gye yasooka okubaweereza bagirabye kyokka balindiridde kiragiro kuva eri atwala ekitongole ekiwabula Gavumenti ku by’amateeka kubanga ekyakoleddwa mu kusooka kyabakoze bubi.

Yategeezezza nti enkiiko zigenda mu maaso kyokka basuubira nti atwala ekitongole agenda kutunuulira ebbaluwa enkadde n’empya balyoke bawandiikire Muhangi bamufulumye ku ttaka eryo. Ebbaluwa olugudde mu mikono gya Lubega ne Yanga ne bajaganya nga bagamba nti Muhangi azze awubisa ofiisi ezenjawulo nga ziwandiika ebbaluwa mu bukyamu awatali kusooka kwetegereza bbaluwa nkadde.

Eggulo Drake Lubega ne Yanga baategeezezza nti ensonga z’ettaka eryo zaava dda mu kkooti ng’Abalamuzi bataano mu kkooti ensukkulumu batudde ne basalawo babatabaganye era enjuyi zonna ne zikkiriziganya omusango guve mu kkooti kyokka nga takkirizibwa kutwala ttaka eryo.

Lubega yagambye nti Muhangi byonna abadde abimanyi era agenda kumutwala mu kkooti amuvunaane okumenya ekiragiro kya kkooti ate amuliyirire buwumbi. Charles Muhangi eggulo eyasangiddwa mu paaka ya Qualicel ng’ayooyoota kifo era nga n’obumu ku bugyo [ Pavers] n’ebinnya Lubega bye yali ayiikudde amaze okubiziba.

Yategeezezza nti eryo ttaka lye era tewali asobola kuddamu kumuggyawo kubanga alina ebiragiro bya kkooti n’ebbaluwa ezimuwa obuyinza okweddiza ettaka eryo kubanga lyali lirye. Ettaka lya paaka Lubega yaligula ku kkampuni musanvu ezeegatta ne zikola kkampuni emu eyitibwa UBOA Investments.

Wabula Muhangi agamba nti ye yalina emigabo emingi kyokka ye teyaliiwo nga banne batunda wadde ssente zonna ezaali zimalayo emigabo gye bagamba nti baazimusasula. Eggulo poliisi yabadde ekyakuumiddewo Muhangi kyokka nga Drake Lubega ne Yanga balinze ssaawa poliisi kubakwaasa ttaka lyaabwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...