TOP

Kitamirike ne Uncle Dick owa UBC bafudde lumu

By Musasi wa Bukedde

Added 8th November 2018

Kitamirike ne Uncle Dick owa UBC bafudde lumu

Dik1 703x422

Abakungubazi nga bakuba eriiso evvannyuma ku mulambo gwa Uncle Dick. Baabadde ku UBC.

Munnakatemba Dickson Kitamirike abadde azannya nga Nadduli mu muzannyo gwa Ssuubi ogulagibwa ku Bukedde Ttivvi afudde waakayita ssaawa busaawa nga munnamawulire omugundiivu, Uncle Dick Mulima Ssempaka naye afudde.

Kitamirike afudde yaakafiirwa mutabani we, omuyimbi eyali amanyiddwa nga Denis Rackla eyafiira mu kabenje k’emmotoka gye yali yaakagula n’atomera ‘humps’ ne yeefuula era ye yekka eyafa abalala okwali ne nnyina baavaamu balamu. Baali ku lw’e Bugerere omwaka oguwedde.

Munnakatemba munne Ashraf Simwogerere agamba nti, Kitamirike alwalidde wiiki bbiri wabula ng’akola mulwadde era nga buli lwe basisinkana okuzannya emizannyo ng’akaaba olubuto ekyava ku kugwa emmeeme.

Prossy Kitamirike nga y’abadde amujjanjaba, yategeezezza Bukedde nti kitaawe yafudde ssaawa 7:00 ez’emisana eggulo nga yafudde musujja gwa mulalama n’okulumwa omutwe era n’atwalibwa mu ddwaaliro lya KCCA eppya e Kiruddu gye yafiiridde.

Aziikibwa ku biggya bya bajjajja be, Musajjalumbwa e Namulonge ku lw’e Gayaza. Ebyafaayo n’ebimu ku by’akoze Simwogerere agamba nti yali mu P7 mu 1977 nga waliwo omuzannyo ku UTV gwe baayitanga Lwaki baavu nga guzannyibwa aba Kayaayu Film Players era nga Kitamirike mwali naye nga muto. Kayayu kyali kikulirwa Christopher Mukiibi.

Yazannya n’omuzannyo gwe Liz ng’azannya ng’omukubi wa ppulaani wabula nga baazikubira bamubba nga gwali gwa siteegi si gwa ttivvi. Mu 1989-1990, yakola ekibiina kye yatuuma Esparias ne kitambulako ebbanga ne kigaana n’addayo mu bwamakanika kubanga bye yasoma n’okutuusa kati abadde makanika.

Yazannyirako mu Diamond Ensemble eya Kato Lubwama mu mizannyo omuli Abamegganyi n’emorala era we yatutumukira. Abadde azannya mu muzannyo Ssuubi ogulagibwa ku Bukedde Ttivvi ng’azannya nga Nadduli era erinnya eryo lyamukalirako ddala era okusinziira ku Simwogerere nga naye muzannyi mu muzannyo ogwo, babadde baakaguzannya endaga 350.

Yazannya mu firimu ya Mukajanga ng’azannya ng’omujulizi Balikuddembe. Eyo yawandiikibwa Simwogerere. Abadde dayirekita wa Ssuubi n’omuzannyo omulala gwe bayita Muzzukulu wa Wakayima.

Abadde mu kibiina kya Ashraf Simwogerere kye bayita Peal Afrique Pictures. Abadde atandiseewo akazannyo ka Ttivvi ke bayita Obusungu bwa Nadduli wabula afudde tebannamala bye balina kukwata.

Abadde n’amaka e Massooli e Kasangati ku lw’e Gayaza okuliraana amaka ga munnabyabufuzi Kiiza Besigye. Omugenzi alina oluganda n’omuyimbi Sarah Zawedde olw’okuba nga bakitaabwe baaluganda.

Kitaawe wa Zawedde ye mukulu wa taata wa Kitamirike. Nadduli Kibaale, ye mukulu wa bakitaabwe. Zawedde agamba nti eyo ebadde nsisi nnene kubanga baakaziika mutabani we Denis era ng’okudda ku malaalo ge gamu kigenda kubayisa bubi.

Agattako nti, abadde mukwano gwa Simwogerere wabula munnakatemba y’omu oyo naye yafiirwa omwana omwaka oguwedde ate kati afiiriddwa mukwano gwe!

Uncle Dick Mulima Ssempaka Ono ye yaweerezanga pulogulaamu ya ‘Music To Remember’ ku Radio Uganda afudde! Ssempaka yabadde mu ddiiro n’abamu ku baana be nga balaba ttivvi ku Lwokubiri, baagenze okulaba nga yeesika n’okulaajana obulumi ekyazzeeko puleesa kumukuba ne bamuddusa mu ddwaaliro lya St. Apollo Hospital e Namasuba ng’ataawa.

Olwo zaabadde mu ssaawa 12:00 ez’olweggulo ku Lwokubiri n’afa ku ssaawa 9:00 ogw’ekiro. Maureen Namubiru omu ku bawala b’omugenzi eyasangiddwa mu maka g’omugenzi e Namasuba yategeezezza nga kitaawe bw’amaze emyaka egisoba mu mukaaga ng’atawaanyizibwa ekirwadde kya ssukaali kyokka ku mulundi guno, abasawo baabagambye nti ssukaali yalinyidde kkumu ne puleesa. Uncle Dick yakyaka mu myaka gy’e 90 ng’aweereza pulogulaamu ya Music To Remember ku Radio Uganda buli Ssande ku ssaawa 8:00 ez’olweggulo. Wasookawo Eseza Omuto ku ssaawa 7:00, olwo Music To Remember n’eddako oluvannyuma Venansio Ssennoga n'Ebibuuzo by’Abatuwuliriza ku ssaawa 9:00.

Awo kwaddangako omuzannyo gwa Wycliffe Kiyingi ‘Muduuma kwe Kwaffe’ ku ssaawa 10:00. Ssande yonna ng’enyuma ku Radio kuba ne Tumutendereze ne Mukisa John Matembe kwe yabeererangako. Wafiiridde nga takyakolayo ku Star FM oluvannyuma lw’okuwummuzibwa n’asikizibwa Stephen Mugambe ku kifo kya maneja wa Star FM.

Aba UBC bamusiimye Ku ssaawa 6:00 ez’emisana omulambo gwa Uncle Dick gwatuusiddwa ku kitebe kya UBC bakozi banne n’ab’emikwano okumukubako eriiso evannyuma.

Winstone Agaba David akulira ekitongole kya UBC asiimye emirimu omugenzi gy’akoledde ekitongole era amwogeddeko ng’abadde omukozi omulungi ate ow’empisa y’ensonga lwaki awangaalidde ku mulimu gwe emyaka egikunnukiriza mu 50. Agaba yeeyamye okuzimba ekifo awanaateekebwa ebifaananyi b’abakozi nga Uncle Dick abakoze obulungi emirimu gyabwe abakozi abalala abannajja we banaabalabirako.

Mu bakungubazi abalala mwe mubadde ne kamisona ku kakiiko akanoonyereza ku by’ettaka, Robert Ssebunya ayogedde ku mugenzi ng’abadde omuntu ow’enjawulo ng’akola emirimu gye. “Ssempaka atusadde era y’omu ku bannamawulire abatazzikawo.

Nkoze naye pulogulaamu nnyingi omuli ez’ebyobufuuzi, eby’enkulaakulaana era abadde kyakulabirako eri abo bakoze nabo nsuubira bamuyigiddeko bingi. Mukama yatuwa era yatuggyako......” Alhaji Abdul Nsereko (taata w’omubaka Nsereko) abadde akola n’omugenzi amwogeddeko ng’omuntu abadde akola obulungi emirimu gye era ng’akolaganika naye.

Ate eyali minisita, Sulaiman Madaada yagambye nti; Ssempaka yali mukkakkamu ate asooka okunoonyereza ku nsonga nga tannagyogera ku mpewo. Pulezidenti w’ekibiina ekigatta bannamawulire mu Uganda ekya Uganda Journalists Association, Haji Kazibwe Bashir Mbaziira ategeezezza nti bannamawulire bagenda kusubwa obumanyirivu bwa Uncle Dick kubanga abadde kyakulabirako mu nkola y’emirimu gy’amawulire naddala mu kuweereza ku leediyo.

Bamusabidde Olwavudde ku UBC, omulambo gwatwaliddwa ku kkanisa ya St. Apollo Church of Uganda e Namasuba mu Kikajjo awaabadde okusaba n’okujjukira emirimu gy’omugenzi. Aziikibwa leero (Lwakuna) e Luswa mu Ssingo ku Mubende Road ku ssaawa 10 ez’olweggulo.

Uncle Dick yazaalibwa mu 1946 n’asomera ku Nabagereka P/S oluvannyuma ne yeegatta ku Lubiri SS. Yeegatta ku UBC mu 1971 era abamu ku bantu be yakola nabo kuliko; Abdul Nsereko (taata w’omubaka Muhammad Nsereko), Drake Ssekeba, eyali minisita Sulaiman Madada era akoledde ku UBC emyaka egikunnukiriza mu 50. Abadde yatandika essomero lya pulayimale awaka era ng’akola nga dayirekita

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte

Gata 220x290

Atutte malaaya ku poliisi lwa kumumma...

OMUSAJJA atabuse ne malaaya gwe yaguze okwesanyusaamu n’amutwala ku poliisi oluvannyuma lw’okumulumiriza okumuwa...

Tamale11 220x290

Mabirizi atutte Tamale Mirundi...

MALE Mabiriizi atutte Tamale Mirundi mu Kkooti Enkulu olw’okumulebula bwe yagamba nti minisita Kuteesa yamukozesa...