TOP

ISO ekutte abafere ba zaabu 13Bruce

By Musasi wa Bukedde

Added 8th November 2018

ISO ekutte abafere ba zaabu 13Bruce

Seb2 703x422

EKITONGOLE ky’amagye ekikettera munda mu ggwanga ekya Internal Security Organization (ISO) kigudde ku kibondo ky’abasajja Bannayuganda, Abacongo ne bannansi ba Cameroon ababadde bafera bamusigansimbi mu ddiiru za zaabu. Abaakwatiddwa bali 13.

Baabasanze ne kkiro za zaabu ow’ebicupuli ezisoba mu 100. Babadde baapangisa amaka ag’ebbeeyi mwe baakola ofiisi e Muyenga nga basasula ssente 3,800,000/- buli mwezi. Babadde bakulemberwa James Byaruhanga 40 ow’e Kabowa gwe babadde baakazaako erya Gavana.

Ofiisi yaabwe ebadde etemya ng’omuntu okwanguyiza gwe banaafera okumatira nti batuufu okukolagana nabo. Babadde bakozesa abakuumi abambadde yunifoomu ya kkampuni enkuumi ey’obwannannyini eya G4S kyokka nga kyazuuliddwa nti, tebalina ndagaano yonna na kkampuni eno okubakuuma.

Baafuna omuwala abadde akola ku mmeeza etuukirwako Evelyn Kanya gwe babadde tebakkiriza kulingiza mu ofiisi yaabwe. Omulimu gwe, gubadde gwa kwaniriza bantu na kukuba ssimu mu ofiisi waggulu ne banona omugenyi. Ku mulyango babadde baateekaako akuuma akasoma ekinkumu omuntu atali waabwe wa munda nga kizibu okubatuukako.

Eggulo baabunye emiwabo ng’abajaasi ba ISO babazinzeeko, baabalengedde nga bayingira ekikomera ng’emmundu ze bakulembezza buli eyabaddewo n’anoonya we yeekukuma. ‘Gavana’ Byaruhanga ku bunene bwe n’olubuto, yakozesezza obwangu obusoboka okwekukuma mu ngalama waggulu.

Abalala badduse ne beekweka mu kaabuyonjo abataafunye we beekukuma, baabakutte nga nseenene. Okubakwata, kiddiridde okufera Omuchina Star Yang doola 100,000 (eza Uganda, obukadde 400) nga bamulimbye nti, bagenda kumuguza zaabu. Ensonda mu ISO zaategeezezza nti, Yang si gwe basoose okufera waliwo omulala gwe baafera doola 1,000,000 naye abanoonya.

Abaakwatiddwa kuliko; James Byaruhanga 40, abadde abakulira omutuuze w’e Kabowa, Patrick Ndenzi 21 munnansi wa Congo. Boniface Munagabe 34, Frank Ngabirano 33, Ummo Amati 38 ne Mike Lota 43. Abalala ye; Walter Adenyo, Fred Ndayi 16, John Tumukunde 20, Robert Sseguya 30, Bruce Kamugisha 33, Junior Okungi, Sayid Musanji gwe bakozesa okukebera zaabu ne Benjamin Sande abadde alabirira abakuumi n’omukozi ku mmeeza etuukirwako.

Zaabu gwe babadde bafera abantu, babadde bamuyiiyiza mu kimu ku bifo bye baakola ku ofiisi zaabwe. Abajaasi baakutte obutiba bwe babadde bakozesa, kkiro za zaabu ezisoba mu 100, ebyuma bye bakozesa okumupima, ekyuma kye bakozesa okukebera oba mulamu n’ebirala. Okusinziira ku ISO, Yang yasooka kubawaako doola 83,000 ne bamusuubiza okuddayo ku Mmande akime zaabu.

Baamulaga zaabu omutuufu obuweke nga bubiri ne baleeta n’omuntu (Sayid Musanji) eyamukebera Omuchina n’akakasa nti mutuufu. Yabawa akakwakkulizo bw’afuna ssente zaabwe, okuzibawa zaabu bamutwale e Kenya baddemu okumukebera olwo abawe ezaabwe kyokka bwe yafunamu okwekengera nga tannabawa zaasigaddeyo kwe kugenda ku ISO n’abaloopa.

Bwe baavudde e Muyenga ku ofiisi za Byaruhanga baagenze mu maka ge e Kabowa okwazaayo. Mmotoka ssatu okuli Toyota Alphard, Harrier Kawundo ne Toyota Wish ze babadde batambuliramu nazo zaakwatiddwa.

James Byaruhanga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Deb2 220x290

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero...

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero eryayidde e Rakai

Leb2 220x290

Emmotoka mwe ntambulira etuuse...

Emmotoka mwe ntambulira etuuse okunsuza ku kkuno-Bp. Ssebaggala

Pop1 220x290

Aba Poliisi ababadde bavunaanibwa...

Aba Poliisi ababadde bavunaanibwa okutta Kirumira bateereddwa

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala