TOP

Omukazi n’abaana be 3 basirikkidde mu muliro

By Musasi wa Bukedde

Added 8th November 2018

Omukazi n’abaana be 3 basirikkidde mu muliro

Sab2 703x422

Ennyumba gye bagyiiriddemu.

FAMIRE ya bantu bana esirikkidde mu muliro e Kansanga. Ekikangabwa kino kyabuutikidde abatuuze mu zooni ya Nabutitti e Kansanga mu Munisipaali y’e Makindye, abantu bana okwabadde maama n’abaana be basatu bwe baggyiiridde mu muliro ogwakutte ennyumba mu kiro ekyakeesezza Olwokusatu.

Abafudde kuliko, maama wa baana Enid Tukyiire 32, Rebecca Mukisa ow’emyezi omukaaga, Musa Rwaheru 5 ne Eria Rwaheru 8. Jonah Ndyowe mutabani w’omugenzi, omu ku bakaawonawo, yanyumizza bwati, “ Twabadde mu nnyumba ng’obudde buzibye, ffenna twabadde tuli waka nga taata agenze wa mukwano gwe. Maama yatugabudde ekyeggulo naye engeri gye yabadde omugonvugonvu ye yasoose okwebaka. Mu nnyumba temwabaddemu masannyalaze, era maama yabadde akumye omusubbaawa kubanga taata yabadde amusuubizza okudda mu bwangu.

Ekiseera kyatuuse otulo ne tutandika okututwata omu ku omu. Nawawamuse mu tulo ku ssaawa nga 3:30 hhenda okutunula mu nnyumba ng’ekutte omuliro. Nasoose kuzuukusa maama ne Kyakuwa muto wange eyabadde ansemberedde, olwo ne maama n’alyoka agolokoka. Olw’okuba omuliro gwabadde gw’amaanyi, bato bange abalala babadde bakyali mu buliri.

maama yagezezzaako nga bw’asobola okubataasa kyokka mu kiseera we yakikoledde gwabadde kumpi gumaze okusaasaanira ennyumba yonna era ye olw’okwagala okubawonya yayingidde munda okubasikayo nga ffe atulese wabweru naye ne gumubaka ne gumwokya era naye yafiiridde mu nnyumba”. Aggrey Madunga muliraanwa wa famire : Twawulidde omwana Enid Tukyiire Bba w’omugenzi Ronald Rwaheru ng’ali ne mutabani be Joshua Kyakuwa (ku ddyo) eyawonyewo.

Ennyumba gye bagyiiriddemu. ng’akaaba ne twewuunya akuba omwana ekiro ekyo era mukyala wange n’afuluma wabweru.

Oluvannyuma namugoberedde ne tusanga abaana nga bakuba enduulu nga balaajana okubadduukirira. Wano amaaso twagakubye ku muliro ogwabadde gubuutikidde ennyumba yonna.Twakubidde poliisi essimu naye nga batubuuza ebibuuzo bingi, olwo ne tukozesa amazzi ge twasenye mu mwala okuzikiza omuliro era poliisi we yatuukidde nga guweddewo,” Madunga bwe yayongeddeko.

Poliisi mu kiseera we yatuukidde tewaabaddewo kintu kyonna kisobola kutaasibwa. Bano emirambo gyabwe poliisi yagitisse ku kabangali n’egitwala mu ggwanika e Mulago, ng’okunoonyereza ku kyavuddeko omuliro guno bwe kukyagenda mu maaso.

E Mulago Emirambo gy’abagenzi oluvannyuma lw’abasawo okugyekebejja baazudde nga baafudde kiziyiro era oluvannyuma gyakwasiddwa abehhanda ne gitwalibwa e Namataba ekisangibwa e Mukono gye gigenda okuziikibwa olwaleero.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa

Reb2 220x290

Atiisatiisa okusobya ku Basisita...

Atiisatiisa okusobya ku Basisita lwa ttaka

Lab 220x290

Looya alaze ekiyinza okumalawo...

Looya alaze ekiyinza okumalawo enkalu z’abagagga ku bizimbe ebikaayanirwa