TOP

Ettaka limubuutikidde

By Musasi wa Bukedde

Added 8th November 2018

Ettaka limubuutikidde

Reb1 703x422

ABATUUZE b’e Nakulabye baguddemu ekikangabwa oluvannyuma lw’omusajja abadde asima ttooyi, ettaka okumubuutikira n’afiirawo.

Enjega eno yabadde mu Nakulabye Zooni 2 ku Lwokubiri, Moses Kalungi, omutuuze w’e Seeta eyabadde asima ekinnya kya kaabuyonjo kye yabadde yakamalako ennaku bbiri nga kiteeberezebwa okubaako obuwanvu bwa fuuti 20 bwe kyamuziikiddemu.

Kalungi ne munne ataasobose kutegeerekeka mannya oluvannyuma lw’okufubutuka n’adduka ng’alabye munne ettaka limubuutikidde kyokka obwedda agenda bw’abuulira abantu nga munne ekinnya bwe kimuziise nabo abaatuuse amangu mu kifo awaabadde enjega eno okudduukirira.

Abadduukirize baalwanye okutaasa obulamu bwa Kalungi nga kyabatwalidde essaawa ezisoba mu 5 okuyoola ettaka mu kinnya nga bakozesa mikono. Baakozesezza ebitiiyo, ebiddomola, enkumbi n’emiguwa era bakira bateeka bannabwe ku miguwa ne babasindika mu kinnya okuyoola ettaka wakati mu kuwanyisiganya nga bayambibwako poliisi ya bazinyamwooto, okutuusa bwe batuuse ku mulambo ku ssaawa 10:30 ez’akawungeezi.

We baamuggyidde mu kinnya essuubi ly’okumusanga nga mulamu lyabadde libaweddemu era bwe baamuggyeyo baamutadde ku bbali abantu okumukubako eriiso okumanya ewatuufu gyaava, era poliisi yamutadde ku kabangali n’atwalibwa mu ddwaaliro okukakasa oba akyali mulamu ng’abamu bwe babadde bagamba.

Margret Masinzo, nannyini nyumba ezabadde zisimwako kabuyonjo olwalabye nga ensasagge eguddewo ne yeemulula n’adduka okwetegula abantu, kyokka tekyalobedde batuuze kumuteekako musango nga bagamba nti yawadde banne okusima ekinnya mu kifo wamanyidde ddala nti wabadde wakabaawo kaabuyonjo bbiri erudda n’erudda ate bbo n’abalagira okusima wakati waazo ekyaviirideko ettaka okubumbulukuka.

Musa Ssebaggala atwala eby’okwerinda mu kitundu kino yategeezezza nti obuzibu bwavudde ku bantu abangi mu kitundu kyabwe tebakyalina wakusima zikaabuyonjo ne batuuka n’okuziteeka mu bifo ebikyamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa