TOP

Aba mmotoka badduukiridde ab'e Buduuda

By Musasi wa Bukedde

Added 8th November 2018

Aba mmotoka badduukiridde ab'e Buduuda

Rem2 703x422

Engule bw'eyimirdde
 
Jas Mangat 305
 
 
Susan Muwonge 295
 
Hassan Alwi 210

ABAVUZI ba mmotoka z'empaka abagenda okuvuganyiza e Mbale wiikendi eno, baakusooka kudduukirira bantu abaakosebwa amataba e Buduuda.

Ku ntandikwa ya October, enkuba ey'amaanyi yatonnya e Buduuda n'eviirako omugga okubooga, ekyaviirako ettaka okubumbulukuka ne litta abantu abasukka mu 30, ate abalala ne bafiirwa ebintu byabwe.

Kees Kagolo, pulezidenti wa kiraabu ya Eastern Motorsport ye yakulembedde kaweefube w’okulaba nti abavuzi badduukirira abaakosebwa nga babawa ebintu ebikalu, emmere ne ssente. “Ng’aba mmotoka, tulina abantu bangi abatuwagira era nga twetaaga okubaddizaako.

Eno y’ensonga etukuhhaanyisizza ebintu eby’enjawulo okudduukirira bannaffe ab'e Buduuda,” Kagolo bwe yagambye. Mu mpaka za wiikendi, nnantameggwa wa 2011 ‘Super Lady’ Suzan Muwonge, omukazi yekka avuganya ku ngule y’omwaka guno, y’omu ku baasooka okudduukirira omulanga guno.

Ono oluvannyuma yeegattibwako banne okuli; Musa Kabega, Arthur Blick, Hassan Alwi, Alex Wakabi, Timothy Gawaya, John Burrows, Duncan Mubiru, Dr. Nsereko, Godfrey Lubega, Kepher Walubi, Peter Kalule, Samuel Bwete, Dr. Ashraf Ahmed, n’abalala. Empaka z'e Mbale, ezimanyiddwa nga 'Oryx Energies Elgon Rally', zaakumala ennaku bbiri (Olwomukaaga ne Ssande), ng’abavuzi balwanira bubonero ku ngule y’eggwanga eya National Rally Championship (NRC).

Zaakutolontokera ku buwanvu bwa kiromita 264 nga 177 ze z’okuvuganyizibwako, era ze zigenda okusalawo omuwanguzi y’omwaka guno. Olutalo lw’engule luli wakati wa Ronald Ssebuguzi, Jas Mangat, Hassan Alwi ne Suzan Muwonge.

Abawangudde empaka zino emyaka egiyise: l2017- R. Ssebuguzi /L.Ssenyange l2016 - Jas Mangat/Joseph Kamya l2015 - Arthur Blick Jr/U. Bakunda l2014 - Ssebuguzi/Cedric Buzabo l 2013 - John Consta /M. Nsubuga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte