TOP

Okello ne Waiswa battunka ku ngule

By Musasi wa Bukedde

Added 8th November 2018

Okello ne Waiswa battunka ku ngule

Web1 703x422

OMUWANGUZI ku bazannyi b'omupiira okuli; Moses Waisswa, Allan Okello ne Vianne Sekajjugo waakuwona ‘okukuuta enfudu’. Abasatu bano bavuganya ku ky’omuzannyi w’omupiira asinze mu 2018 mu ngule za Airtel FUFA Awards ng’omuwanguzi waakuweebwa mmotoka kapyata.

Waiswa muwuwuttanyi wa Vipers, Okello wa KCCA ate nga Ssekajugo, agucangira mu Onduparaka. Empaka zino za mulundi gwakuna nga kkampuni ya Airtel ettaddemu obukadde 100 ate eya NIC n'eteekamu bukadde 10 ng’omukolo gw’okulangirira omuwanguzi, gwakubaawo nga December 7.

Ku mukolo gw’okuzitongoza, Moses Magogo, pulezidenti wa FUFA yategeezezza nti musanyufu olw’okuzitegeka emyaka ena egiddiring'ana era n'asiima Airtel abaziteekamu ensimbi. "Empaka zino ziyamba okulinnyisa omutindo mu mupiira era kituwa essanyu okulaba ng’abazannyi abazze baziwangula obulamu bwabwe bukyuse," Magogo bwe yategeezezza.

Muzamir Mutyaba owa KCCA FC ye yawangula engule eno omwaka oguwedde ate Farouk Miya ne Shaban Muhamad, be balala abaali baziwanguddeko wabula kati bazannya gwa nsimbi ebweru w'eggwanga.

Ku ngule y’omuzannyi w’omwaka omukazi, kapiteeni wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ey’abakazi, The Crested Cranes, Tracy Jones Akiror azannyira Kawempe muslim Ladies attunka n’omukwasi wa ggoolo Ruth Aturo owa UCU Lady Cardinals n’omuzibizi Shadia Nankya owa Uganda Martyrs HS Women FC era nga ne ku bano omuwanguzi waakuweebwa emmotoka.

Engule endala 14 ze zigenda okugabwa nga ku zino kuliko; omutendesi w’omwaka, ddiifiri w’omwaka, ttiimu y’omwaka, ttiimu esinga empisa, omuzannyi asinga empisa, ddiifiri omuto asinga, omuzannyi w’omwaka owa beach soccer, omuzannyi asinga okwagalwa abawagizi, omuzannyi omugwira asinga okwagalwa abawagizi, omuwagizi w’omwaka, n’omuntu pulezidenti wa FUFA gw’asiimye emirimu gy'akoledde omupiira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte