TOP

Emivuyo mu ttaka lya Qualicel

By Musasi wa Bukedde

Added 10th November 2018

Emivuyo mu ttaka lya Qualicel

Muh2 703x422

Charles Muhangi

Mu July 2017 , Muhangi yawandiikira omuwandiisi wa kkooti Ejulirwamu nti ssente z’engassi yali azifunye.

Kyokka ng’asaba kiragiro ayingire ku ttaka lye. Omuwandiisi wa kkooti Ejulirwamu Deo Nizeyimana yawandiikira omulamuzi Remmy Kasule amuwabule ng’amugattiddeko okukkiriziganya okwali kutuukiddwaako era okukkiriziganya kuno Lubega kwe yasinziira okuggyayo omusango nga July 22, 2016.

Omulamuzi Remmy Kasule yawabula Deo Nizeyimana nti ekiragiro kyokka ekiteekeddwa okussibwa mu nkola kusasula ssente ezaakozesebwa Muhangi so ssi kuddiza Muhangi ttaka.

Muhangi yalemerako ne yeekubira enduulu eri Omulungamya wa Gavumenti ku byamateeka era Minisita Mwesiga Rukutana n’awabula ng’anyweza okuwabula kwa Kasule. Nga October 23, 2018, Muhangi yafunye ebbaluwa eva ewa Charity Nabasa egamba nti, Muhangi ye nnannyini ttaka omutuufu.

Ebbaluwa esaba poliisi eyambe Muhangi okweddiza ettaka lye. Poliisi yawerekedde Muhangi n’emukwasa ettaka n’ebizimbe ebiriko. Bino byabaddewo nga November 3, 2018.

Nga November 6, Lubega ne Yanga nabo baagenze mu ofiisi y’emu ate Charity Nabasa n’awandiika ebbaluwa endala ng’amenyawo gye yasoose okuwandiika nti yakikoze mu nsobi. Ebbaluwa eno Drake Lubega ne Yanga kwe basinziira okwagala Muhangi ave mu bintu byabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Taata alumirizza bawala be okumukuba...

Taata alumirizza bawala be okumukuba

Tip1 220x290

Sharif Bogere asomesezza abazannyi...

Sharif Bogere asomesezza abazannyi b'e bikonde e Lugogo

Kab2 220x290

Kabushenga bamwongedde ekisanja...

Kabushenga bamwongedde ekisanja ky'okutegeka emisinde gya Kabaka

Fot1 220x290

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu...

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu mu Hockey

Waliyoomutweogulumiramuliisowebuse 220x290

Engeri ez’enjawulo obulumi bw’omutwe...

Manya ekika ky'omutwe ekiranga endwadde ekutawaanya n'eky'okukola nga tonnatuuka mu ddwaaliro okugukkakkanya