TOP

Engeri olutalo gye lwongedde okulanda

By Musasi wa Bukedde

Added 10th November 2018

Engeri olutalo gye lwongedde okulanda

Kam2 703x422

OLUTALO lw’abagagga abakaayanira ebizimbe lwongedde okulanda poliisi bw’ekalambidde nti, Muhangi eteekwa okufuna ebbaluwa endala okuva ew’akulira ekitongole kya Gavumenti ekitaputa amateeka (Solicitor General).

Kino kyewuunyisizza abagagga Drake Lubega ne Mansoor Matovu Yanga abaalangidde abakulu mu poliisi nti, balabika balina ebigendererwa ebirala kubanga eyabawadde ebbaluwa eyatutte Muhangi ku ttaka ate yazzeemu n’awandiika empya ng’emenyawo gye yasoose okuwandiika kyokka poliisi yagiziimudde.

Okuva ku Lwokubiri, Drake Lubega ne Yanga basiiba beewuuba mu ofiisi z’abanene mu poliisi basse mu nkola ebbaluwa ya Charity Nabasa eyamenyeewo gye yasoose okuwandiika nti yakikoze mu nsobi kyokka bagaanye. Kino kyabawalirizza okuggalawo ebizimbe byabwe ebisoba mu 49 nga beemulugunya nti, poliisi tebayambye . “Kati Muhangi akolera ku bbaluwa ki okulemera ku bizimbe byaffe. Eyabawadde ebbaluwa azzeemu n’abawa endala emenyawo enkadde kati lwaki bagaanye”, Yanga bwe yeebuuzizza.

Yanga yalabudde nti singa tebabakwasa bizimbe byabwe, bonna ababikoleramu bagenda kubawandiikira mu December w’omwaka guno babagobemu era bagenda kubiggalawo abapangisa bonna baveemu.

Eggulo baasisinkanye abakulu mu ofiisi ez’enjawulo ne babawabula nti, baggule ebizimbe era baabiguddewo nga babakakasizza nti poliisi egenda kussa mu nkola ebbaluwa ya Charity Nabasa gye yafulumizza oluvanyuma ng’esazaamu eyasooka. Wakati mu kulaga obutali bumativu abagagga ababiri eggulo beekandazze ne bava mu lukiiko lw’aduumira poliisi ya Kampala n’emiriraano Moses Kafeero nga tebategeeraganye.

Mu ngeri y’emu abasuubuzi abakolera ku bizimbe by’abagagga bano wadde ku Lwokuna baafiiriddwa wabula abasinga bagaanye okubaako kye boogera ku biki bye baafiriddwa nga bagamba nti, kino kyokka kiyinza okuviirako abagagga bannannyini okubaggyako amaaduuka.

ABAGAGGA BEERANGIDDE Abagagga basatu buli omu alangira munne okukozesa abanene mu Gavumenti okubeera ku ttaka eryo.

Charles Muhangi alumiriza nti Lubega akozesa ssente okugulirira ofiisi ez’enjawulo kyokka nga talina bwannannyini era yalaze nti, ye y’alina ebiwandiiko ebiraga obwannannyini obutuufu kyokka abadde yalemesebwa dda okudda ku ttaka lye. Yalumirizza nti ebitongole byonna okuli KCCA, Poliisi n’abataputa amateeka bamumanyi era ettaka eryo baaliwa ye naye ne bamugobawo mu bukyamu era kati akomyewo ateekwa okulibeerako.

Ate Drake Lubega alumiriza nti Charles Muhangi olw’okuba alina abanene bwe bava mu kitundu ekimu mu ofiisi ezitaputa amateeka ne poliisi eteeka mu nkola ebbaluwa n’ebiragiro y’ensonga lwaki abakajjaddeko.

Agamba nti kyewuunyisa Muhangi okuva ku ntandikwa ekyapa ky’ettaka eryo tekigendangako mu mannya ge okuggyako mu mannya ga kkampuni ya UBOA Investments eyali ebagatta bonna era nga tannaba kugula kifo ekyo yasooka kutwaala biwandiiko byonna mu bakugu ne bamutaputira nti abamuguza batuufu.

Lubega agamba bwe yagula ettaka n’ayita mu mugagga munne Yanga n’amusalirako poloti kwe yazimba akeedi eyitibwa Nabukeera Plaza kyokka olw’okuba munnaabwe akozesa abanene mu poliisi n’ekitongole ekitaputa amateeka y’ensonga lwaki emisango gyonna gyaggalwawo dda ate ne baddamu ne bagizuukusa nga tazzeeyo mu kkooti

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mub1 220x290

Pulezidenti ayimirizza omusolo...

Pulezidenti ayimirizza omusolo gw’amayumba

Lip1 220x290

Beti Kamya awadde Kitaka ekiragiro...

Beti Kamya awadde Kitaka ekiragiro Lukwago n'amukontola

Kid2 220x290

Ekiri mu Toto Festival e Namboole...

Ekiri mu Toto Festival e Namboole

Man2 220x290

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana...

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana ne mukyala we-Oyo omukazi anneesibako

Nom8 220x290

Norman Musinga mukyala we amuwadde...

Norman Musinga mukyala we amuwadde obukwakkulizo obukambwe nga baawukana