TOP

Mumpagire nkwate entebe - Bobi Wine

By Musasi wa Bukedde

Added 11th November 2018

Mumpagire nkwate entebe - Bobi Wine

Deb2 703x422

OMUBAKA Robert Kyagulanyi Sentamu ‘Bobi Wine’ (Kyadondo East) agambye nti kati entebe y’Obwapulezidenti ajaagala. Bwe yabadde mu lukuhhaana olwategekeddwa omubaka wa Munisipaali ya Makindye Ssaabagabo, Emmanuel Kigozi Ssajjalyabeene, e Namasuba, ku Lwokutaano, Bobi Wine yagambye nti banne bwe bamuwandako eddusu agenda kuvuganya ku bwapulezidenti.

Yayongeddeko nti ensonga y’okutwala obuyinza bagenda kutuula beerondemu omuntu anaavuganya ku ntebe y’obwapulezidenti, n’agamba bwe balonda ye, tajja kutiiririra Bannayuganda.

Yalabudde abavubuka okukomya okwenyigira mu ffujjo wabula bafube okulaba nga beewandiisa era bafune densite z’eggwanga, kubanga ly’essasi lye beetaaga okuggyako obukulembeze obuliwo. “Kye mbabbirako esigadde emyaka ebiri n’emyezi ebiri, tutuuke mu kulonda kwa 2021.

Abasinga babajerega nti, temulonda y’ensonga lwaki njagala mukole esisoboka mufune densite z’eggwanga muzitereke,” Bobi bwe yagambye. Yagasseeko nti, newankubadde waliwo ensimbi ezigenda zigabirwa abavubuka ne Bannayuganda ab’enjawulo kino tekirina kubaggya ku mulamwa gwa kulwanirira nkyukakyuka.

Yasabye aba ‘People Power, Our Power’, okubeera obumu era beewale okuboolagana olw’amawanga ge bavaamu, eddiini, oba enfuna yaabwe. “Bwe tulemererwa okubeera obumu, kijja kutunafuya, ekirungi mulaba tutambudde n’omubaka nga Mbwatekamwa owa NRM, Paul Mwiru, owa FDC, Medard Sseggona owa DP, n’abalala bangi, nga mu kino twagala kubalaga nti, endowooza zaffe mu byobufuzi tubisibye ku nkondo y’omuti tusobole okutuukiriza ekigendererwa kyaffe eky’okukyusa obukulembeze obuliwo,” Bobi bwe yagasseeko.

Ye omubaka wa Butambala, Muhammad Muwanga Kivumbi, yasinzidde mu lukuhhaana lwe lumu n’ategeeza nti, essuubi lyabwe erisinga libali mu bavubuka kuba kati be basinga obungi. “Abavubuka kati bali obukadde 23, nga ku bano, abaana abali wakati w’emyaka 0-18, bawera obukadde mukaaga, ate abali wakati w’emyaka 18-35, bali obukadde mwenda mu emitwalo nkaaga.

Bannayuganda abali wakati w’emyaka 35-55, bali obukadde mukaaga mu emitwalo abiri, olwo abali wakati w’emyaka 55, n’okweyongerayo ne bakola ebitundu bya bukadde bubiri,” Kuvumbi bwe yategeezezza.

Olukuhhaana luno lwetabiddwaamu ababaka abeegattira mu kibiina kyabwe ekya ‘Parliamentary Forum on Human Rights, Constitutionalism and Rule of Law’. Ekibiina kino, kigatta ababaka 27, ab’ekibiina kya NRM, abaasimbira ekkuuli eky’okuggya ekkomo ku myaka gy’okwesimbawo ku bwapulezidenti, n’ababaka abali ku ludda oluwabula Gavumenti, wabula nga nabo baawakanya enoongoosereza mu nnyingo 120 (b) Nga tebannagenda ku lukuhhaana, ababaka okwabadde Moses Kasibante, Allan Ssewannyana, Mbwatekamwa, Gonzaga Ssewungu, Kasiano Wadri, Zaake Butebi, Kalwanga, Patrick Nsamba, Wilfred Niwagaba, Ibrahim Semuju Nganda, ne Medard Lubega Sseggona, bagenze mu maka ga Emmanuel Kigozi Ssajjalyabeene, agasangibwa e Ndejje - Lufuka, gye baasimbye omuti ng’akabonero akalaga nti, basimbudde teri kudda mabega.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nrm1 220x290

Okulonda kwa ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa ssentebe wa NRM e Mityana kutandikidde mu ggiya

Kalendeweds1 220x290

Obunkenke e Namirembe nga Reverand...

Abooluganda n’emikwano gya bagole ababadde mu lutikko baasirikiridde buli omu nga bwatunuulira munne okutuusa Rev....

Saba 220x290

‘Muggya wange apangisizza abasajja...

AMALOBOOZI g’enkoko ezikookolima ge gaamuyambye okwewalula okuva mu kibira kya Mabira wakati okutuuka ku bantu...

Nakalembe1 220x290

‘Muggya wange apangisizza abasajja...

AMALOBOOZI g’enkoko ezikookolima ge gaamuyambye okwewalula okuva mu kibira kya Mabira wakati okutuuka ku bantu...

Sebulime1 220x290

Famire ya Ssebulime ekukkuluma...

FAMIRE y’omugenzi Ronald Ssebulime eyakubwa poliisi amasasi ng’ateeberezebwa okuba mu lukwe lw’okwagala okutta...