TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni alagidde ekikwekweto ku basawo b’ekinnannsi e Masaka

Museveni alagidde ekikwekweto ku basawo b’ekinnannsi e Masaka

By Musasi wa Bukedde

Added 11th November 2018

Museveni alagidde ekikwekweto ku basawo b’ekinnannsi e Masaka

Hib1 703x422

Pulezidenti Museveni (ku ddyo), omubaka wa Bukoto South Hajji Muyanja Mbabaali n’omubaka omukazi owa Lwengo Cissy Namuju.

PULEZIDENTI w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni alagidde omuduumizi wa poliisi mu Greater Masaka Ratif Zaake okufuuza amasabo agali mu kitundu kino bakwate abasawo b'ekinnansi abali mu kusaddaaka abantu ky’agambye nti be bavuddeko ettemu okwesiba mu ggwanga. "Zaake tandikirawo omulimu guno awatali kuttira musawo yenna ku liiso ... ebisigadde obimanyi kuba watendekebwa”, Pulezidenti bwe yategeezezza.

Okwogera bino asinzidde ku kisaawe ky’e Kaswa mu ggombolola y'e Kkingo mu disitulikti y'e Lwengo nga yasoose kuggulawo bbanka y'abakyala eya Rural Women Microfinance eyatandikibwawo omubaka w'ekitundu kino, Hajji Muyanja Mbabaali kw’ossa n'okutongoza amazzi ga taapu amayonjo mu kabuga k’e Kaswa - Kiwanyi.

Museveni yeeyamye okumalawo obutemu mu ggwanga ng'akozesa obukodyo abatemu bwe batasobola kwewala omuli okussa kkamera okuketta nga bwekiri mu bitundu bya Kampala.

Mu ngeri y'emu aweze okukola enguudo za kolaasi mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu n’akuutira abantu okwenyigira mu kulima, okulunda n'okusuubula nga ly’ekkubo ery’okubaggya mu bwavu.

Agasseeko eky’abantu abeediima okwenyigira mu pulojekiti za Gavumenti ng’ekitongole kya ‘Operation Wealth Creation’ kuba ekitongole kino kigabira abantu endokwa z'ebirime, ebinyonyi n'ebisolo n'ensigo nga tebatalizza mu bibiina byabufuzi abantu bye beesibyemu.

Akalaatidde bassentebe b'ebyalo okulondoola abasomesa ba Gavumenti abaggya ensimbi ku bazadde bavunaanibwe kuba enkola eno ey'omuzadde okusasula ssente yagirinnya ku nfeeta ng’abakikola bakikola mu bukyamu.

Omubaka wa Bukoto South Hajji Muyanja Mbabaali asiimye Pulezidenti Museveni okuggulawo bbanka eno n’ategeeza nti, ekigendererwa kya bbanka eno okugifuula ey’abakyala kwe kutumbula ennyingiza y'omukyala kuba y’asinga okuddukanya awaka era n’asaba Museveni ensimbi z’abakyala, abakadde, n'abavubuka asiime ziyisibwe mu bbanka eno Museveni n’ategeeza nti ekirowoozo kino agenda kukitunulamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi

Kuba 220x290

Minisitule efulumizza entegeka...

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni azzizzaamu abazadde, abayizi n’abasomesa essuubi nti singa...

Kip1 220x290

Geo Steady ne mukazi we, Prima...

Geo Steady ne mukazi we, Prima omulamwa gwa Corona bagutegeera

Lab1 220x290

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa...

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa mu kiseera kya Kalantiini

Shutterstockeditorial10434333bm 220x290

Coronavirus: Amerika kiri bubi,...

Corona ayongedde okwewanisa abantu emitima okwetooloola ensi yonna era Pulezidenti wa Amerika Donald Trump yalabudde...