TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amagye googezza abali ku gw’okutta ow’e Najjeera

Amagye googezza abali ku gw’okutta ow’e Najjeera

By Musasi wa Bukedde

Added 11th November 2018

Amagye googezza abali ku gw’okutta ow’e Najjeera

Rab2 703x422

ABAAKWATIDDWA ku by’okutta omugagga w’e Najjeera Archie Rwego era eyali omukozi wa kkampuni ya Rwego eyali omukozi wa Bomanite Tiles Uganda Ltd, amagye gaboogezza ne bakkiriza okumutta!

Wabula abajaasi bakyakalambidde nti wandiba nga waliwo omuntu eyabatuma gwe bakyagaanye okwogera. Rwego baamutta nga October 24, 2018 mu namutikwa w’enkuba eyali afudembe. Baamutema emirundi 10 ku mutwe n’ekiso ekirala mu kifuba.

Ettemu lino lyakolebwa mukazi we, Dorah Asio alaba. Poliisi yasooka n’ekwata Johnson Kisuule mu kalwaliro e Kamwokya gye yali addukidde okumujjanjaba ebisago by’embwa we yali emulumye mu bibatu n’enkwagulo ku mugongo.

Yaddamu okuwata Abdul Luyombo gwe baggya e Mayuge nga yeekukumye. Ne Luyombo yalina ebisago mu ngalo ebigambibwa nti edabirwamu yamusala bwe yali agezaako okumenya okweggulira ewa Rwego.

Abalala abaakwatibwa kuliko; Lawrence Okoth, Jonson Ongema ne Ismael Kasozi bayita Maaso oba oluusi eyeyita Isma. Omulala amanyiddwaako lya Wasswa ng’oluusi yeeyita Papa. Okusinziira ku nsonda, Wasswa y’abadde akulira akabinja kano. Alina ekibanda kya firimu mu Kyebando - Kisalosalo mu Kyamuka Zooni.

Abatuuze ono bamwogerako ng’omusajja atambula n’ebiso mu bbuutusi. Ku kyalo nga tannaba kudduka yasoose kubategeeza nti tagenda kufa yekka agenda kwerwanako era omuserikale anaamusookerako okumukwata, ajja kufa naye. Amagye bwe gaakunyizza Kisuule ne Luyombo, baategeezezza nti, Wasswa ye mukama waabwe era y’abadde aleeta emirimu gyonna.

Baagambye nti guno si gwe mulimu gwe basoose okukola, abantu bangi be bayingridde, abamu ne babateega mu kkubo ne babatta. Ku kyalo gye babadde basula abatuuze baategeezezza nti, babadde beekweka mu bizinensi entono naye nga beenyigira mu bumenyi bw’amateeka era poliisi mu Mulimira Zooni ezze abakwata efunda eziwerako ne batwalibwa e Luzira nga bwe bavaayo.

Baagaseeko nti, olw’emize gyabwe, bbo babadde tebabatambaala.

BAZZE BATTIBWA NA MASASI “Ekibinja kyali kinene nnyo bazze babatta n’amasasi mu bubbi, waliwo gwe baali bayita Virus, Arafa, baabatta ate Cosma ye yaakava e Luzira.” Omu ku batuuze bwe yategeezezza. YagasSeeko nti, waliwo abalala abakyali e Luzira okuli; Bosco, Andrew, Mawanda, Kasujja, Kahinda, Patrick, Fire, Tonny, Goddie, Baluku n’abalala bangi abaasibwa.

Omu ku baliraanwa ba Kasozi w’abadde asula yagambye nti, yamulaba n’enkwagulo n’atuma omuvubuka Abdul ammwetegereze n’amugamba nti talina buzibu. Bwe yazuukuka enkeera yamugamba nti pikipiki yabakubye nga batamidde.

Yagambye nti y’omu ku bavubuka ab’empisa nga kizibu okumulowoolereza obutemu. Abadde yeekweka mu kutunda swiiti nti kyokka engeri gy’abadde asasulamu ssente z’ennyumba yamwewuunyisa kubanga omulimu gw’akola kiba kizibu okufuna ssente ezisasula ennyumba buli mwezi nga tabanjibwa.

Yagasseekon nti, bwe baamala okubba ewa Rwego Kasozi yamala ennaku ng’asiiba mu nnyumba nga yeebase agenda okuwulira nti banne be yali abeera nabo baabakutte. Bwe yagenda ewa mukwano gwe, Abdul yasanga taliiyo ne bamugamba nti, yagenze kulaba nnyina.

Yagasseeko nti, bwe yaddayo enkeera, baamugamba nti mukyala we ne nnyina baabadde babakutte nti, batta omuntu. Ssentebe w’ekyalo Joseph Kakooza yagambye nti, abasinga ku baakwatiddwa babadde baakasenga mu kitundu.

Abdul yava mu Kyebando Kisalosalo era bwe yakwatibwa ow’ebyokwerinda mu Kisalosalo yakubira Kakooza essimu n’amugamba nti emize egyamugobya ku kyalo kubba na kuteega bantu okubatulugunya. Yagambye nti, buli lwe babadde bazza omusango nga basenguka bagenda awalala.

Babadde tebeenyigira mu nkiiko n’agamba nti, abavubuka babadde tebaagala kukola ate nga baagala eby’ebbeeyi n’agamba nti babadde basiiba mu zzaala, enjaga n’amayirungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...