TOP

Ekkanisa esiimye emirimu gya Kikulwe

By Musasi wa Bukedde

Added 11th November 2018

Ekkanisa esiimye emirimu gya Kikulwe

Seb2 703x422

ABASUMBA basiimye emirimu n’obuweereza bw’omugenzi Paul Kikulwe ne babuulirira abantu okukolerera e Ggulu nga bayita mu bikolwa eby’obutuukirivu basobole okuwandiikibwa mu kitabo ky’obulamu.

Bino bibadde Bweya okumpi ne Kajjansi mu kuziika Kikulwe nga gwetabiddwaako abaweereza ab’enjawulo okubadde Omulabirizi eyawummula Eliphaz Maari ayali omumyuka w’Omulabirizi mu Bulabirizi bw’e Kampala, Rev. Can. Nelson Kaweesa omuwandiisi w’Obulabirizi bw’e Namirembe, Faith Kityo Luwalira mukyala w’Omulabirizi w’e Namirembe,Ven. Membe Kijjambu omuwanika w’Obulabirizi, Rev. Can. Benon Kityo Dean wa Luttiko, abasumba n’abantu abalala.

Omusumba Justace Niwamanya Njagala eyabuulidde enjiri yakuutidde Abakristaayo okweyisa obulungi amannya gaabwe gawandikibwa mu kitabo eky’obulamu baleme okusuulibwa mu muliro ogutazikira.

Yagambye nti omugenzi Kikulwe enjiri abadde takoma kugibuulira mu bigambo wabula ne mu bikolwa n’abasaba okukola nga ye. Ate Can. Musiwuufu Magala eyali Dean wa Luttiko eyawummula ate nga mukoddomi w’omugenzi yamwogeddeko ng’abadde yeenyumiriza mu mulimu gwe ogw’okukuba pulaani era ng’omulimu gwe abadde agukola n’okwagala.

Yagambye nti abadde musajja wa mazima, mulokole ng’abuulira enjiri mu bigambo ne mu bikolwa era akyusizza abantu bangi nebadda eri Katonda. Yagambye nti omugenzi abadde ayagala nnyo Ekkanisa era obuweereza bwe tebusobola kwerabirwa mu Kkanisa ya St. John Kitikko okuliraana e Lubowa.

Gladys Kikulwe maama w’omugenzi yamwogeddeko ng’abadde ayagala famire ye era ng’afaayo gy’ali nga maama we, abadde amulabirira era ng’alabirira ne baganda be. Abaana b’omugenzi abaakulembeddwaamu Ruth Kikulwe baamwogedde ng’abadde taata omulungi abalabiridde okuva obuto okutuusa ng’abakuze.

Baagambye nti yabakuza bulungi mu mpisa ez’okutya Katonda, okuwa abantu ekitiibwa n’okukolagana. Yazaalibwa nga November 18, 1947 n’afa nga November 5, 2018 ku myaka 71. Alese abaana bana n’abazzukulu mukaaga. Abadde mubuulirizi wa njiri mu biffo eby’enjawulo era asikirizza abantu bangi okulokoka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...