TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abalimi b’emmwaanyi babakuutidde okukuuma omutindo

Abalimi b’emmwaanyi babakuutidde okukuuma omutindo

By Benjamin Ssebaggala

Added 12th November 2018

KAWEEFUBE w’okutumbula okulima emmwaanyi mu ggwanga aba aBi bakwatagangye n’ekibiina ekigatta abalimi b’emmwaanyi ekya NUCAFE ne babagulira ebikozesebwa mu mirimu.

Nucafe 703x422

Nkandu (ku ddyo) ng’akwasa abalimi pikipiki okubayamba okutumbula omutindo.

Bya BENJAMIN SSEBAGGALA
 
KAWEEFUBE w’okutumbula okulima emmwaanyi mu ggwanga aba aBi bakwatagangye n’ekibiina ekigatta abalimi b’emmwaanyi ekya NUCAFE ne babagulira ebikozesebwa mu mirimu.
 
Baabawadde ebintu okuli emmotoka loole etambuza emmmwanyi nga tezikubwa nkuba ne kabangali, pikipiki, kompyuta za laptop basobole okukuumirako ebiwandiiko, minzaani ezipima emmwaanyi, ebyuma ebipima emmwaanyi okukakasa nti zikaze bulungi, emmeeza n’entebe ez’okuteeka mu ofiisi ze bakoleramu emirimu byonna bibalirwamu 4,905,745,000/-
 
Joseph Nkandu akulira NUCAFE bwe yabadde akwasa abakulira ebibiina by’abalimi b’emmwaanyi yagambye nti, baalonzeemu ebibiina ebisinze okukola obulungi bye byafunye obuyambi buno n’akuutira abalala okukola ennyo nabo basobole okufuna ku mulundi oguddako.
 
Yabakuutidde okukozesa ebibaweereddwa okutumbula omutindo gw’emmwaanyi kubanga bwe gugwa bonna basaanawo. Okubakwasa ebikozesebwa bino basoose kubatendeka mu mbeera ez’enjawulo okuli okukola n’okukuuma ssente okutumbula obulamu.
 kandu ku ddyo ngakwasa abalimi pikipiki okubayamba okutumbula omutindo Nkandu (ku ddyo) ng’akwasa abalimi pikipiki okubayamba okutumbula omutindo.

 

 
Abaatendekeddwa baabadde 429 okuva mu bibiina omwegattira abalimi b’emmwaanyi ebiwera 100 nga beebagenda okuddayo mu bitundu by’eggwanga ebirala ebiweza bammemba 25,000.
 
Omukolo gwabadde Nammanve ku kyuma ekisunsula emmwaanyi ekya NUCAFE. Wano era we baayanjulidde aba Technical Centre for Agricultural and Rural Cooperation (CTA) abaawaddeyo obukadde 800 ziyambeko okutendeka abalimi n’okutumbula okukozesa tekinologiya mu mulimu gwabwe.
 
Mu kaweefube w’okulaba nga batumbula omutindo baawereddwa obuuma obupima amazzi mu mmwaanyi kisobozese abalimi okumanya emmwaanyi zaabwe obukalu bwe zirina kuba abamu bakaluubirizibwa olw’okuzipima nga balumako ne kiba nga tezikala kutuuka ku mutindo gwe baagala ku kyuma ne mu kase ate ne kino kitta omutindo gwazo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...