TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Najeemera ebiragiro by’abasawo ne nzaala omwana ng’alina siriimu

Najeemera ebiragiro by’abasawo ne nzaala omwana ng’alina siriimu

By Musasi wa Bukedde

Added 12th November 2018

Asiah Tusingwire mulwadde wamukenenya. Yejjusa lwaki teyagoberera basawo kye baamugamba eky’okumira eddagala okusobola okuzaala omwana nga talina mukenenya.

Aidslogo 703x422

Bya SAMUEL TEBUSEEKE
 
Asiah Tusingwire mulwadde wamukenenya. Yejjusa  lwaki teyagoberera basawo kye baamugamba eky’okumira eddagala okusobola okuzaala omwana nga talina mukenenya.
 
Tusingwire omutuuze ku kyalo kabubbu ng’alina edduuka eddene e Gayaza agamba nti nga yaakavubuka yafuna omusajja n’amufunyisa olubuto mu 2004.
 
Yagenda mu ddwaaliro e Mulago okufuna eddagala ng’abakyala abali embuto bwe bakola. Yategeezezza nti abasawo baamukebera ne bakamutema nti yali afunye mukenenya. Ebigambo by’abasawo byamutiisa era yabiwakanya ne mu ddwaaliro
teyaddayo olw’okuba yali atidde okutandika okumira empeke za ARVs eziweweeza ku siriimu.
 
Agamba nti olw’okuba yali takkiriza ng’alowooza nti e Mulago bamulimbye, yagenda ewaabwe e Mbarara mu ddwaaliro lya ‘Comboni Hospital Mbarara’ eno abasawo ne bamukakasa nti mulwadde wa siriimu.
 
Yakomawo e Mulago ng’anaatera okuzaala era abasawo baamutuuza ne bamugamba nti alina okumira eddagala asobole okutaasa omwana gw’anaazaala abeere mulamu.
 
Abasawo baamuwa eddagala naye yagaana okulimira.
 jjinja lyekizimbe aba mukenenya we bajjanjabibwa e abubbu yasimbibwa dward sekandi ngakyali sipiika Ejjinja ly’ekizimbe aba mukenenya we bajjanjabibwa e Kabubbu. Lyasimbibwa Edward Ssekandi ng’akyali sipiika.

 

 
Yategeezezza nti ekyamugaana okumira eddagala yali ng’awulira abantu bagamba nti bw’otandika okumira ARVs osiiwuuka naye n’atya okufuukuuka olususu.
 
Ng’atuuse okuzaala, abasawo e Mulago baamubuuza oba abadde amira bulungi eddagala. Yabaddamu nti ye naye ng’abalimba, yali tamirangako.
 
Bwe yazaala omwana abasawo baamumuggyako ne bamutwala okumukebera, ne bakamutema nti omwana alina akawuka.
 
Tusingwire agamba nti kino kyamumalako emirembe era yali ayagala na kuleka mwana we mu ddwaaliro olw’abantu bye baalinga boogera nti omulwadde wa siriimu tawangaala.
 
Yeegatta ku ddwaaliro lya kabubbu Omwana bwe yalwala yamuleeta ku ddwaaliro lya kabubbu Health Centre, bwe yamutuusa abasawo baasooka kumuggyako musaayi
era olwakitegeera nti mulwadde ne bamubuuza gy’abeera nga baagala bamunonenga mu Ambyulensi yaabwe bamuwonye olugendo ng’ajja okufuna obujjanjabi obw’obwereere.
 
Yagambye nti baamuwa abasawo abaagendanga awaka we ne bamubuulirira wamu n’okumuzzaamu amaanyi nti okubeera omulwadde wa mukenya tekitegeeza nti ogenda kufa.
 
Yakkiriza n’atandika okumira eddagala nga buli Lwakusatu emmotoka y’eddwaaliro emunona n’emuleeta ku ddwaaliro ate n’emuzzaayo awaka.
 
Agattako nti ng’atandise okumira eddagala obulamu bwe bwagenda bukyuka eyali alwalalwala kaakati takyalwala era asobola bulungi nnyo okukola emirimu gye.
 
YaAkazaala abaana basatu nga bonna balamu
 
Yagambye nti yaakamala ku ddagala kaakati emyaka 15.
 
Mu myaka gino gyonna azaaliddemu abaana basatu naye bonna balamu tebalina mukenenya era yejjusa nti ssinga yawuliriza ebigambo by’abasawo omulundi ogwasooka omwana we gwe yazaala yandibadde mulamu.
 
Omwana we Annet gwe yasooka okuzaala yamuteeka mangu ku ddagala era bwe yatuuse mu P6 n’amubuulira nti mulwadde y’ensonga lwaki amira eddagala.
 
Yagenda ne ku ssomero abasomesa n’abagamba nti emmotoka ye Kabubbu ejjanga kumunona afune eddagala.
 
Abasomesa nabo omwana bamuwa obudde obumira eddagala ng’abayizi banne tebategedde kubanga alimirira mu ddwaaliro ly’essomero.
 
“Olw’okuba mmira bulungi eddagala kino kinnyambye okwegatta bulungi n’omwami wange mu kikolwa eky’omukwano era ye omwami wange talina kawuka ka mukenenya
kyokka nze nnina era tweyagala,” Tusingwire bwe yakkaatirizza.
 
Wano we nsabira abantu bonna obutaboola bantu olw’okubeera nti balina akawuka ka mukenenya wabula bababudeebude.
 
OMUSAWO NAYE AYOGEDDE
Ms. Suzan Babirye omusawo akulira eddwaaliro lya Kabubbu Health Center III, erisangibwa mu Kasangati town council mu wakiso disitulikiti yategeezezza nti eddwaaliro lino liri wansi w’ekitongole kya Kabubbu Development Project.
 
Babirye agamba nti ekitongole kino ekya Kabubbu Development Project kiteekebwamu ssente Abazungu okuva mu Amerika abeegattira mu kitongole kya
Quicken Trust-UK era nga bano ekigendererwa kyabwe kwali kuwa
bantu byanjigiriza wabula beesanga ng’abalwadde ba mukenenya bangi
nnyo.
 
Quiken Trust kitongole okuva mu Bungereza, bwe kyazimba essomero lya Trust High
Kabubbu ne Kabubbu Trust Primary School mu kitundu kino baazimba n’eddwaaliro okusobola okwejjanjabira abayizi.
 
Babirye yagambye nti abaana n’abazadde baali obujjanjabi bafuna bwa bwereere ku ddwaaliro lino naye buli lwe baakeberanga abantu abaali bazze ku ddwaaliro
nga balina obulwadde bwa mukenenya kyokka nga baliyita ddogo olw’okuba baali tebamanyi bikwata ku mukenenya.
 
Abantu abasinga baabutukanga omubiri gwonna nga baliyita ddogo. Enock Kagoda akulira Kabubbu Development Project bino olwabitegeera nti abantu abasinga
obungi mu kitundu balwadde ba mukenenya naye kwe kusalawo okutegeeza omwami n’omukyala Booker abakulira ekitongole kya Quicken Trust –Uk e Bungereza nti waliwo obwetaavu bw’okuwa abalwadde ba mukenenya obujjanjabi.
 
Booker yasitukiramu ne bazimba eddwaaliro nga lyo likola ku kubudaabudda balwadde
ba mukenenya mu muluka gwe kabubbu n’ebitundu ebyetooloddewo.
 
Eddwaaliro lyaggulibwawo Edward Ssekandi ng’akyali sipiika wa palamenti.
 
Babirye yategeezezza nti amangu ddala baakwatagana n’ebitongole okuli Minisitule y’ebyobulamu, Wakiso District Health Department, Mildmay Uganda, Medical Access
Uganda Ltd, ne bibayambako n’okubawa amagezi kubanga baali baakazimba eddwaaliro.
 
Baatandika okugenda mu byalo bye kabubbu okuli Manyangwa, Ndazabazadde, Nakwero, Gayaza n’ebirala nga bategeeza abantu nti balina abasawo abakugu ababudaabudda abalwadde ba mukenenya.
 
Baatandika n’abalwadde bataano, nga ku bano abasatu eddagala baali balifuna Mulago
mu ddwaaliro naye ng’olugendo luwanvu nnyo, abalala baali bazze ku ddwaaliro
kufuna bujjanjabi obwa bulijjo bwe twakizuula nga balwadde twayogera nabo ne bakkiriza okutandika eddagala.
 
Twagenda mu maaso n’okukebera abaana bonna abaali mu masomero gaffe
ne bazadde baabwe era buli eyazuulwa nga mulwadde nga tumulagira okutandika eddagala. Abazadde abamu baatuuka n’okuggya abaana mu masomero kyokka
ng’Abazungu be baali babaweerera naye twasobola okutuula n’abazadde ne tubakkirizisa okukomyawo abaana mu masomero.
 
Obudde buno tulina abalwadde ba mukenenya 1,012 be tubudaabudda nga mu bano
tusobodde okutaasa abaana baabwe ne bazaalibwa nga tebalina mukenenya. Waliwo n’abafumbo be tuyambyeko okuzaala abaana abalamu wadde nga taata alina
mukenenya naye nga maama talina.
 
Musawo Babirye yakubirizza abantu okwekuumira ku baagalwa baabwe baleme kusaasaanya mukenenya oba bakozese kondomu.
 
Yasabye abantu okugenda e Kabubbu okwekebeza mukenenya ku bwereere wamu n’okufuna eddagala ku bwereere kubanga buli kimu Abazungu bakisasulira.
 
Ayongerako nti abazungu baagula ne Ambyulensi etwala abasawo mu byalo ne basomesa abantu ku mukenenya wamu n’okugabira abavubuka kondomu n’okubayigiriza enkozesa yaazo n’ekigendererwa eky’okumalawo mukenenya.
 
Asiah Tusingwire ,yagambye nti omwami we yamukkirizza okutubuulira buli kimu wabula yamugaanyi okukubwa ekifaananyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira

Abetz 220x290

Abtex totya abasajja tubalina -...

POLIISI yagaana Bobi Wine okuddamu okulinnya ku siteegi. Bino byagenda okubaawo ng’abategesi b’ebivvulu, Abbey...

Kenzo 220x290

Aziz wangoba kati oyagala nkusiime...

OMUYIMBI Eddy Kenzo addizza Aziz Azion omuliro olw’okumulangira nga bwe yamuyamba n’atamusiima n’agamba nti Aziz...