TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mutabaazi alagidde amasabo gonna mu Lwengo gokyebwe

Mutabaazi alagidde amasabo gonna mu Lwengo gokyebwe

By Musasi wa Bukedde

Added 13th November 2018

SSENTEBE wa disitulikiti y'e Lwengo, Geroge Mutabaazi alagidde abatuuze basaanyewo amasabo agajjudde mu Lwengo agagambibwa nti ge gaviirideko ekitta bantu n'ekisaddaaka baana ekikyaase mu kitundu kino.

Mutabazi 703x422

Mutabaazi

Bya FLORENCE TUMUPENDE

SSENTEBE wa disitulikiti y'e Lwengo, Geroge Mutabaazi alagidde abatuuze
basaanyewo amasabo agajjudde mu Lwengo agagambibwa nti ge gaviirideko
ekitta bantu n'ekisaddaaka baana ekikyaase mu kitundu kino.
    "Wabula Mutabaazi ndabye, bulijjo mu mawulire bampandiikakonti maze ennyumba z’essubi mu Lwengo naye abasamize mu kinkoze.  Kino atooba kissusse, eggombolola emu bweti
okuba ng'erimu amasabo 500?
   Kaakati y’essaawa abatuuze mutandikirewo okwokya amasabo gano ndabe
omusamize anabavunaana? Mutabaazi bwe yategeezezza.

    Okwogera bino yasinzidde mu lukiiko mu ggombolola ye Kisekka
n’alagira abatuuze okuteeka mu nkola ekiragiro kino alabe omusamize
anavaayo okumwesimbamu.

Yalabudde abakulembeze abanagezaako okulemesa enteekateeka nti ajja kubaamula ku bukulembeze sinakindi abawewenyule kibooko.

Ekiragiro kya Mutabaazi kiddiridde Pulezidenti Museveni
okukyalako mu Lwengo wiiki ewedde n’alagira RPC Ratiifu Zaake okukwata
abasamize abavuddeko okutta abantu n'okusadaaka abaana ekivuddeko ettemu
okweyongera mu ggwanga.
      Abantu munaana be baakattibwa mu bbanga lya myezi esatu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...