TOP

Abayizi baggyiiridde mu kisulo

By John Bosco Mulyowa

Added 13th November 2018

Eyo mu ttumbi ng’abayizi beebase, abantu ab’ettima baabasibidde munda mu kisulo, ne balyoka bakikumako omuliro ne kiteta.

Manya1 703x422

Bya JOHNBOSCO MULYOWA

 

Eyo mu ttumbi ng’abayizi beebase, abantu ab’ettima baabasibidde munda mu kisulo,

ne balyoka bakikumako omuliro ne kiteta.

Ekisulo ky’abalenzi kyabaddemu abaana 50. Ku bano mwenda baayidde ne basiriira ate abalala munaana baayidde nnyo, bajjanjabirwa Kitovu - Masaka ne Kalisizo mu Kyotera.

 

 

Ekikangabwa kino kyagudde mu ssomero lya Eklezia erya St. Benards Manya SS mu Ggombolola y’e Kifamba e Rakai mu kiro ekyakeesezza eggulo.

 

Abadduukirize baalwanye okumenya enzigi, wakati mu kulaajana n’okukaaba kw’abayizi

abaabadde munda mu kisulo, mu muliro ogugambibwa nti abaagukumye baasoose kuyiwamu

petulooli nga kirowoozebwa nti baamuyisizza mu madirisa.

 muzadde ngayaziirana Omuzadde ng’ayaziirana.

 Ekizimbe ekyayidde kuliko ebisulo bitaano (5) kyokka ebyayidde byabadde bisatu. Abaana

abaafudde baabadde mu kisulo kimu eky’abayizi 50.

 

Ab’ettima balabika baabadde bamanyi bulungi essomero naddala obumu ku bunafu bwalyo

okuli okuba nga wadde ddene nnyo eritudde ku yiika ezisoba mu 10, kyokka likuumibwa

abakuumi babiri ab’emiggo.

 Omu ku bayizi eyakoseddwa (wakati) ng’ali ku ddwaaliro.

 

We baayokedde ekisulo abakuumi tekinnamanyika kitundu kye nnyini we baabadde. 

 

Ku kimu ku bisulo ebyasimattuse omuliro kwasangiddwaako ekipapula ku mulyango nga kikubiddwaako akafaananyi n’ebigambo ebisoma nti “Kabi Danger” n’ebirala mu Lungereza nti “Out of bounds”. 

 bamu ku bantu abazze okulaba engeri omuliro gye gwayokezza abayizi Abamu ku bantu abazze okulaba engeri omuliro gye gwayokezza abayizi.

 Abatuuze n’abasomesa abaawulidde abaana nga balaajana baayanguye okutuuka. Bakira abamu bakoona enzigi okuyingira ng’abalala basena amazzi nga bakozesa ebidomola,

ebbaafu n’obulobo eby’abayizi nga bagayiwa munda.

 

Essomero lirina amazzi mangi agaakolebwa Abazungu okuva mu Australia nga bayita mu

kitongole kya Cotton On Foundation ekiwa obuyambi Essaza lya Eklezia ery’e Masaka.

 

Ekitongole ekyo era kyaligaziya ne kizimbako pulayimale ne nnasale n’eddwaaliro. Lisangibbwa Manya.

 mbyulensi ngenonye abayizi abaggyiiridde mu kisulo emabega Ambyulensi ng’enonye abayizi abaggyiiridde mu kisulo (emabega).

 

Okutuukayo oluva e Masaka okwata ly’e Kyotera, okuva awo n’okwata ery’e Mutukula okutuuka mu kabuga k’e Sanji we wali ekkubo erigenda e Manya ekyesudde kkiromita mwenda okuva e Sanji.

 

Abaana abamu abaasimattuse badduse kiwalazima, abalala baddussiddwa mu Manya Health

Centre, abalala abayi ne bongerwayo mu ddwaaliro e Kalisizo n’e Kitovu.

 booluganda lwabayizi abaaweereddwa ebitanda mu ddwaaliro e itovu Abooluganda lw’abayizi abaaweereddwa ebitanda mu ddwaaliro e Kitovu.

 

 

Poliisi ezikiza omuliro okuva e Masaka we yatuukidde ng’omuliro ogusinga abatuuze

baguzikizza. Mu kiseera kino ambyulensi zaabadde zeetawula okuddusa abalwadde. Egimu ku mirambo gy’abaana gyasangiddwa gisiridde ne bagizinga mu biveera okugitwala okukola endaga butonde (DNA) okuzuula ekituufu.

 

Abasawo b’e Manya kyabayitiriddeko olw’abaana abangi abaatwaliddwaayo era abamu baabataddeko eccupa nga beebase ku seminti olw’obutabaawo bitanda na mifaliso.

 e bano abaana baabwe baggyiiridde mu kisulo Ne bano abaana baabwe baggyiiridde mu kisulo.

 

 

Poliisi eyabadde eduumira RPC Latif Zaake yazikizza omuliro gwonna. Eggulo essomero

lyasiibye mu kiyongobero, kyokka okuggyako abayizi ba siniya eyookuna abakola ebigezo n’aba siniya eyomukaaga abaatandise ebigezo eggulo, abaana abalala baabadde mu kukungubaga.

 

Abazadde bangi beeyiye ku ssomero era abaafiiriddwa abaana bakira baaziirana nga basobeddwa. 

 kapande akalabula akaabadde ku luggi olumu Akapande akalabula akaabadde ku luggi olumu.

 

Omuyima w’essomero era Omusumba w’e Masaka, Bp. John Baptist Kaggwa yatuuzizza olukiiko olufuzi okuteesa ku kiki ekiddako. 

 

Essomero lyatandika mu 1989 kyokka lyafuna nnyo amaanyi bwe lyafuna obuyambi bw’Abazungu abaazimbawo ebizimbe ebyatongozebwa Pulezidenti Museveni mu

2013.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kenzo 220x290

Kenzo alayidde obutaddamu kuyimbira...

Muzaata bwataneetondera sidda ku siteegi-Kenzo

Bukedde TV Live Stream

Bukedde TV Live Stream

Bk 220x290

Bukedde TV Live Stream

Laba wano Bukedde TV Live

Bukedde Tv Livestream

Bukedde Tv Livestream

Uni 220x290

RDC ayingidde mu nsonga y'omuyizi...

OFIISI ya RDC e Kalungu ne Poliisi bawaliriziddwa okuyingira mu nsonga z'omuyizi ategeerekeseeko erya Ssembuusi...