TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Bbanka Enkulu batunudde ebikalu mu Palamenti

Aba Bbanka Enkulu batunudde ebikalu mu Palamenti

By Kizito Musoke

Added 13th November 2018

ABAKULU okuva mu bbanka enkulu batunudde ebikalu mu kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa okulondoola emirimu n’ensaasanya mu bitongole bya gavumenti aka COSASE, ababaka bwe babatadde ku nninga okuleeta lipoota eraga ebintu bye baasanga mu Teefe Trust Bank nga tebannagiggala mu 1993.

Mutebile 703x422

Gavana wa Bbanka Enkulu, Mutebile (ku ddyo) n’omumyuka we Louis Kasekende nga bali mu kakiiko ka Palamenti aka COSASE.

Bya KIZITO MUSOKE
 
ABAKULU okuva mu bbanka enkulu batunudde ebikalu mu kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa okulondoola emirimu n’ensaasanya mu bitongole bya gavumenti aka
COSASE, ababaka bwe babatadde ku nninga okuleeta lipoota eraga ebintu bye baasanga mu Teefe Trust Bank nga tebannagiggala mu 1993.
 
Gavana wa Bbanka Enkulu, Emmanuel Mutebile n’omumyuka we, Louis Kasekende be baakulembeddemu abakulu abalala nga bannyonnyola engeri bbanka omusanvu
gye zizze ziggwalwawo okuli; Teefe Bank (1993), International Credit Bank Ltd (1998), Greenland Bank (1999), Co-operative Bank (1999), National Bank of Commerce
(2012), Global Trust Bank (2014) n’okuguza Crane Bank (CBL) eri DFCU bank (2016).
 
Bbanka ya Teefe gye baasookeddeko okubuuliriza nga lipooti y’omubalirizi w’ebitabo bya Gavumenti yalaga nti Bbanka Enkulu mu kugiggala teyalina biwandiiko biraga bya bugagga bya Bank gye baggalawo.
 
Akulira okulondoola emirimu mu bbanka z’ebyobusuubuzi, Tumubweine Twinemanzi yakkirizza nti kituufu ebiwandiiko tebaabirina.
 
Ssentebe w’akakiiko, Abdul Katuntu kino yakiwakanyizza n’asaba omu ku babalirizi b’ebitabo aba Bbanka Enkulu okunnyonnyola era n’ategeeza nti kye baabadde nakyo
si kye kiwandiiko ekituufu.
 
Ababaka okwabadde Moses Kasibante (Lubaga North), Medard Lubega Sseggona (Busiro East), Joseph Ssewungu (Kalungu West) baategeezezza nga bwe bataabadde bamativu ku ngeri bbanka ya Teefe gye yaggalwamu.
 
Dr. Kasekende yabaanukudde nti mu kiseera ekyo mu tteeka kyali tekibakakatako kubeera na kiwandiiko kiraga ebyali mu bbanka gye baggaddewo n’agamba naye amabaluwa baagalina kwe basinziira okuggala bbanka ya Teefe.
 
BANNAMATEEKA B’OBWANNANNYINI BABANJA BBANKA ENKULU BUWUMBI
Ababaka era beekebezze ebiwandiiko ebyaleeteddwa bannamateeka ababanja nga biraga nti babanja ssente ezisoba mu buwumbi 25 ze beeyambisa okuwolereza Bbanka
Enkulu.
 
Kampuni za bannamateeka kuliko; Masembe, Makubuya, Adriko, Karugaba & Ssekatawa (MMAKS Advocates), Bowman’s Uganda, Cohen and Collins Solicitors and
Notaries and Sebalu & Lule Advocates.
 
Ababaka ba Palamenti baagala kampuni za bannamateeka balage obukakafu nga ddala basasula omusolo gwa VAT kuba ssente ze babanja ziyitiridde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

B1 220x290

Bebe Cool oluwummula lw'abaddeko...

Bebe Cool oluyingiddewo n'awaga "nkomyewo zaabike emipiira.."

Pass 220x290

EBIKULU MU BUKEDDE W'OLWOKUBIRI...

Bawambye omwana omulala ne basaba obukadde mukaaga; bamusse omulambo ne bagusiba mu kadeeya.

Owakccangayogeramulukiiko 220x290

Ab'e Bwaise batabukidde aba KCCA...

“Twagala Pulezidenti Museveni y’aba atulagira okusasula kuba n’amazzi gakyatuyingirira mwe mulabika temuvudde na...

Kizito 220x290

Basajjabalaba alaalise okulwanyisa...

NNAGGAGGA Hassan Basajjabalaba asinzidde mu kuziika Charles Muhangi n’alabula abaggagga abaagala okutwala ebintu...

Rite6 220x290

Poliisi ekubaganye n'aba takisi...

Mu kanyoolagana akaabaddewo omuserikale eyategeerekeseeko erya Kasirye yakubiddwa ejjinja era ono yatwaliddwa...