TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akulira essomero eryayidde bamukutte lwa bulagajjavu

Akulira essomero eryayidde bamukutte lwa bulagajjavu

By John Bosco Mulyowa

Added 13th November 2018

MINISITA w’ebyenjigiriza Janet Kataha Museveni yagenze kipayoppayo mu nnyonyi ya nnamunkanga e Manya, Kifamba mu disistulikiti y’e Rakai okusaasira ku baakoseddwa n’okumanya ekituufu ekyabaddewo.

Musevenimanya1 703x422

Janet Museveni ( wakati), Omusumba w’e Masaka John Baptist Kaggwa ( ku ddyo) ng’addiriddwa omukulu w’essomero Nsubuga eyakwatiddwa. Ku kkono ye minisita Kasolo.

Bya JOHNBOSCO MULYOWA
 
MINISITA w’ebyenjigiriza Janet Kataha Museveni yagenze kipayoppayo mu nnyonyi ya nnamunkanga e Manya, Kifamba mu disistulikiti y’e Rakai okusaasira ku baakoseddwa n’okumanya ekituufu ekyabaddewo.
 
Yayaniriziddwa Omusumba w’e Masaka John Baptist Kaggwa n’abakungu abalala okwabadde minisita Kasolo, ssentebe wa Rakai Benon Mugabi, omubaka Kasamba n’abalala.
 
Janet Museveni yeevuumbye akafubo n’abamu ku bazadde b’abaana abaafudde ng’akafubo kano tekatakkiriziddwaamu bannamawulire nga keetabiddwamu
n’abakulu b’essomero lino era oluvannyuma n’asisinkana abantu bonna n’abaana b’essomero.
 
Yavumiridde ekikolwa ky’okusibira abaana munda mu bisulo n’agamba nti byali tebyetaagisa ku nziji z’ebisulo by’abaana.
 
Yagambye nti abaakikoze bajja kukwatibwa bavunaanibwe era ekikolwa kino bajja ku kisasulira ne mu maaso ga Katonda.
 
Kyokka yasabye abazadde okufaayo nabo okussaamu abaana baabwe empisa nti kijja kuba kibi nnyo bwe kinaazuulibwa nga ddaala be baakoze ekikolwa kino.
 
Yasuubizza okuyaambako ku balwadde abali mu ddwaaliro kwossa abazadde abafiiriddwa abaana baabwe mu ngeri eneesoboka.
 
OMUKULU W’ESSOMERO AGGALIDDWA
Oluvannyuma lw’omukulu w’essomero Henry Nsubuga okukunyizibwa Minisita Museveni ku ky’aviiriddeko abaana okufa mu ngeri eno.
 
Yamunnyonnyodde nti ku Lwokunaa oluwedde abaana ba Pulayimale erinaanyewo baalaba omuntu eyakooleza egimu ku mifaliso gy’abaana kyokka n’adduka yadde ng’ensonga eno teyasobola kugitegezaako bakulu mu byokwerinda.
 
Ono oluvannyuma lwa Minisita okusiibula yakwatiddwa abeebyokwerinda naggalirwa ku poliiis positi y’e Manya nga kigambibwa nti ekyamukwasizza kulagajjalira buvunaanyizibwa bwe ng’omukulu w’essomero ku mbeera y’okutiisibwa okwokya
essomero kyokka n’atabaako ky’akolawo.
 
Omu kubali ku kakiiko akafuga essomero lino, Rose Nalubowa kino akissa ku baana.
Yategeezezza nti oluvannyuma lw’okugezaako okwokya ekisulo ku Lwokuna baatandika okutya ku mbeera eyinza okuddirira ku ssomero ng’era baabadde baakutuuza
lukiiko olufuga essomero ku Mmande ate bwagenze okukya ng’essomero lyokeddwa.
 
Mu kiseera kino n’abakungu mu byokwerinda okwabadde Minisita w’obutebenkevu, Gen. Elly Tumwiine, kwossa akulira ekitongole ekikessi, Col. Bagyenda Kaka, nabo baatuuseeko ku ssomero lino okwetegereza embeera n’okwongera okuwa abeebyokwerinda amaanyi okusobola okukola okunoonyereza ku baabadde emabega
w’ekikolwa kino.
 
Wabula Gen.Tumwine yagambye nti abaakoze ekikolwa kino batujju abeetaaga amaanyi agenjawulo okunoonyerezaako okumanya ekigenderwa kyabwe!
 
Omusumba w’essaza ly’e Masaka, John Baptist Kaggwa yennyamidde olw’ekikolwa ekyatuuse ku ssomero n’okutwaliramu obulamu bw’abaana abato abatalina
musango n’agamba nti kibakubye wala ng’Eklezia evunaanyizibwa ku ssomero lino.
 
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Emilian Kayima n’abakungu ba poliisi abalala ab’oku ntikko we bwazibidde eggulo ng’amakanda bakyagasimbye ku ssomero okwongera
okuzuula ekituufu n’okuyigga abatemu.
alt=''

 

 
Omuliro ogwatta ab'e Buddo 20

Guno si gwe mulundi ogusoose omuliro okwokya ne gutta abaana ekirindi. Mu April 2008 omuliro gwakwata ekisulo kya Nassolo ku Budo Junior School ne gutta abayizi 20. 

  • Ennaku ezaddako byali biwoobe, miranga n’okwazirana. Pulezidenti Museveni yalambula ekifo n’okusaasira abazadde. Nga April 13, essomero lyaggalawo. 
  • Museveni yakunya omukulu w’essomero era abaana abaasimattuka ne bamunyumiza bye baayitamu. Ennaku ezaddako byatambula bwe biti: 
  • April 15: State House yasindika abakugu okukola okunoonyereza okwenjawulo era baakunya omukuku w’essomero eyaliwo Dr. Livingstone Ddungu n’omumyuka we Moses Ssewalu n’abasomesa abamu. 
  • April 15, 2018; ekibiina kya Save the Children in Uganda kyasaba Gavumenti esseewo enkola erambika ebyobulamu bw’abaana mu masomero. 
  •  April 17, 2008: poliisi ekunya eyali omukulu w’essomero Dr. William Kayongo, ekwata abaali abakuumi 10 ne metulooni. 
  •  April 22, 2008: Abakugu abeekebejja ekifo awaddiziddwa omusango (forensic) balemwa okuzuula ekituufu ekyavuddeko omuliro. 
  • April 23, 2008: Metulooni Damalie Basirika n’abakuumi bana basimbibwa ku kkooti ne babasomerwa omusango gw’okulagajjalira omulimu gw’okukuuma abayizi bwe batyo ne basindikibwa e Luzira. 
  • May 1, 2008: Abazadde b’e Budo beekunga bawawaabire essomero. 
  • May 5, 2008: Metulooni Damalie Basirika yaddamu okulabika mu kkooti n’asaba okweyimirirwa. Kkooti yagaana n’emuzzaayo e Luzira wiiki endala bbiri. 
  • May 8, 2008: Palamenti eyisa ekiteeso n’esemba omwana Yvonne Namaganda alangirirwe ng’omuzira. 
  • May 20, 2008: Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road (ekiseera ekyo) Margaret Tibulya akangula ku ddoboozi ng’agamba nti okunoonyereza poliisi yali ekukola kasoobo. 
  • June 3, 2008: Bisirikirwa ne banne kkooti yabakkiriza okweyimirirwa oluvannyuma lw’okumala ennaku 42 ku limanda. 
  • June 10, 2008: Essomero lya Budo liddamu okuggulibwawo wakati mu kuwakanyizibwa ng’abazadde basaba nti poliisi esooke ebawe lipooti ekwata ku kyavuddeko omuliro ogwatta abaana. 
  • July 18, 2008: Eyali ssentebe wa Wakiso Ian Kyeyune bwe yali ayogera eri abazadde yategeeza nti okunoonyereza disitulikiti kwe yali ekoze kulaga nti omuliro ogwayokya essomero tekaali kabenje. 
  • Julyly 22, 2008: Abazadde batwala ekiwandiiko w’eyali siipiika Sipiika Edward Ssekandi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.