TOP

Omuwendo gw’abafudde gweyongedde

By Musasi wa Bukedde

Added 14th November 2018

Omuwendo gw’abafudde gweyongedde

Web2 703x422

Brian Sendyowa nga tannafa.

OMUWENDO gw’abaana abaafiiridde mu muliro gulinnye oluvannyuma lw’omuyizi Brian Sendyowa 16, abadde asoma S.3 eyabadde addusiddwa e Kiruddu okufa. Sendyowa bwe yabadde tannafa, bino bye yannyonnyodde bazadde be. “Nabadde ng’ali mu kirooto nga ndaba tufa kyokka olwabbuludde amaaso nagenze okulaba ng’omuliro gutuntumuka n’ekikka nga kikutte wonna.

Nawawamuse ngezeeko okudduka ekibabu naye nga siraba waakuyita era owo buli kimu nakikwasizza Mukama kuba bwatyo n’ansobozesa obutafa,” Bino bye byabadde ebigambo omuyizi Brian Sendyowa, bye yasembye okwogera ne bazaddebe olwamaze naafa! Annet Nabuuma, nga ye maama w’omugenzi yategeezezza nti, ye ne bba bakolera wala era nga kye kyabawaliriza okutwala omwana mu kisulo.

Nabuuma muserikale wa poliisi ng’akolera Bwizi, mu disitulikiti y’e Kamwenge, ate nga bba Luke Mukalazi, akolera ku bizinga by’e Kalangala. “Olwafunye amawulire g’okwokebwa kw’omuwana wange nalinnye emmotoka mu bwangu okumutuukako mu ddwaliro e Kitovu gye yabadde atwaliddwa.

Nafunye ambyulensi ne mutwala e Mulago- Kiruddu, nga simanyi nti nabadde mulabako kasembawo,” Nabuuma bwe yategeezezza. Yagaseeko nti, eggulo bwe zaaweze essaawa 10:00 ez’oku makya, mutabani we yabadde yaakalaba ku kitaawe, n’asiriikiriramu, kyokka baagenze okuddamu okumukwatako ng’assizza omukka ogwenkomerero.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...