TOP

Entalo ezibadde mu ssomero ery'ayidde e Rakai

By John Bosco Mulyowa

Added 14th November 2018

Entalo ezibadde mu ssomero ery'ayidde e Rakai

Fub2 703x422

Essomero eryayokeddwa e Rakai libaddemu entalo era mu mwaka gumu gwokka bakyusizza abalikulira basatu. Ate wiiki ewedde abayizi ababadde beemulugunya ku ngeri essomero gye liddukanyizibwamu baasibidde Faaza Fr. Emmanuel Kiwanuka mu Klezia.

We baalyokedde ku Ssande ekiro, olukiiko olukwasisa empisa lwabadde luyitiddwa bukubirire eggulo ku Lwokubiri okutunula mu nsonga okuli empisa z’abayizi, abasomesa abamenya amateeka ne basomesa mu masomero amalala mu nkola y’okukuba ekyeyo. Abayizi bangi mu ssomero lya St Bernard Manya S.S mu Rakai bava Tanzania.

Olupapula lw’amawulire olusinga obuganzi mu Tanzania olwa Citizen eggulo lwafulumizza ebimu ku bisongeddwaako okuvaako okwokya essomero. Ekimu ku bisulo kyayokeddwa nga mulimu abaana 50 ng’abasinga ba S3.

Abaana 11 baafudde ate abalala bapooca n’ebisago by’omuliro mu malwaliro e Kitovu ne Kaliisizo. Olupapula lwa Citizen lwategeezezza nti entalo mu ssomero zisinga kuva ku ssente ennyingi ezikozesebwa okuliddukanya eziva mu bagabi b’obuyambi naddala ab’omu Australia abaziyisa mu kitongole kya Cotton On Foundation.

Abayizi abasinga obungi ku abo 1,700 abali mu ssomero eryo basasulirwa kitongole ekyo okuva ku fiizi, ebitabo, okwambala n’endala ezibalabirira. Ekitongole kikola ku byetaago by’essomero ebirala okuli ebizimbe, amazzi, okulya n’okunywa.

Buli mwaka ekitongole ekyo kikuhhaanya ssente mu bagabi b’obuyambi era mu 2017, kyafunye ddoola obukadde 78. Ezo zigabanyizibwa mu pulojekiti z’ekitongole, ng’ettundutundu ligenda mu St. Bernard e Manya. Olupapula lwa Citizen lwategeezezza nti ssente ezo zivaako okusika omuguwa gattako Eklezia n’olukiiko olufuzi okulingiriza ennyo ebikolebwa heedimasita.

Embeera eyo evuddeko essomero okufuna abalikulira basatu mu mwaka gumu gwokka. Omumyuka w’akulira olukiiko olufuzi, Muky. Rose Nalubowa yategeezezza Bukedde eggulo nti kituufu wabaddewo okukyusa abakulira essomero basatu. Kyokka kino kikoleddwa mu myaka kumpi ebiri.

N’agamba nti eyali alikulira, Constantino Mpuuga yasomera Namiryango gye balina enkola y’okuwa ebifo abaasomerayo. Eyali akulira Namiryango bwe yavaawo ne balonda Mpuuga okumuddira mu bigere.

Dorothy Matovu eyaddira Mpuuga mu bigere yali yaakakolako emyezi esatu gyokka naye n’alondebwa ab’e Nabbingo gye yasomera okubeera omukulu w’essomero lya Nabbingo. Bwe yagenda kwe kulonda Henry Nsubuga abadde yaakamalawo ettaamu emu yokka, essomero ne lyokebwa.

Ku ky’okugoba abasomesa, Nalubowa yannyonnyodde nti olukiiko olufuzi lwaleese enkola empya eragira buli musomesa atali ku lukalala lwa musaala gwa Gavumenti, olukiiko olufuzi lwe lujja okumuwa omulimu. Ajja kuba ng’akugirwa okusomesa mu masomero amalala. Kino kirabika ng’ekinyigiriza abasomesa kyokka kyakoleddwa kutereeza nzirukanya ya mirimu.

Nalubowa yategeezeza aba Citizen nti bakyalowooza nti essomero lyayokeddwa bayizi abaagobwa mu kisulo ne balagibwa basome nga bava bweru. Kyokka baakizudde nti bano olwasiba engugu zaabwe ne bapangisa obuzigo mu kabuga k’e Manya we babadde bava okujja ku ssomero.

Annyonnyola nti abayizi bamawale baali bakoze olukwe okugezaako okwokya essomero mu wiiki ntono eziyiseewo kyokka ne badduka nga bakitegedde nti abayizi b’essomero eririraanyewo erya St Nicholas Primary School babalabye. Aba Cotton On Foundation bazimbye pulojekiti ezenjawulo ku ssomero lino okuli’ Kindergarten, pulayimale, siniya (St. Benards) n’ettendekero ly’ebyemikono. Gattako eddwaaliro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Freskid10 220x290

Fresh Kid akunze abato okweyiwa...

Fresh Kid akyaddeko ku kitebe kya Vision Group n'akunga abazadde okuleeta abaana baabwe mu kivvulu kya Toto Christmas...

Untitled4 220x290

Ow'emyaka 12 bamusse mu bukambwe:...

ABATEMU abatannategeerekeka bakkakkanye ku mwana abadde yaakawummula ne bamusobyako ne bamutta omulambo ne bagusuula...

Funa 220x290

Recho Rey naye engoye zimusiiwa...

OMUYIMBI Recho Rey yeerabidde okwambala engoye n’agenda mu kivvulu ng’ali mu kawale, akaleega n’agoye akalinga...

Untitled4 220x290

Aba Cryptocurrency babbye abantu...

KKAMPUNI ya Cryptocurrency endala efeze abasuubuzi obutitimbe bwa ssente mu Kampala ababadde bagiddukanya ne badduka...

Goba1 220x290

Bungereza egobye omwawule Munnayuganda...

REV. Nathan Ntege afunye nnyo ettutumu e Bungereza ng’omwawule mu kkanisa ya St.Jude mu kibuga London. Bukya ava...