TOP

Ebyabaddewo ng'aba Poliisi bagobwa mu palamanti

By Musasi wa Bukedde

Added 14th November 2018

Ebyabaddewo ng'aba Poliisi bagobwa mu palamanti

Kab3 703x422

AIGP Asuman Mugenyi (ku kkono) ng’awayaamu n’omubaka Muwanga Kivumbi (Butambala). Wakati ye Edward

AKAKIIKO ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byokwerinda n’ensonga z’omunda mu ggwanga kagobye boofiisa ba poliisi ababadde bazze okubannyonnyola bye baakola mu myezi esatu egiyise, lwa butabeerawo minisita abatwala.

Ssentebe w’akakiiko kano, Ruth Moreen Amule (Amolatar) yawaliriziddwa okwabula olukiiko nga terunnaba kuggwa, oluvannyuma lw’okulinda baminisita abavunaanyizibwa ku nsonga z’omunda mu ggwanga obutalabikako.

Omuduumizi wa poliisi, Okoth Ochola, n’omumyuka we Sabiiti Muzeeyi be baasoose okufuluma Palamenti oluvannyuma lw’okutegeeza nga bwe baabadde bayitiddwa omukulembeze w’eggwanga mu bwangu. Amule yawaliriziddwa okukubira minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda, Obia Kania n’amutegeeza nti tafunangako bbaluwa emuyita mu kakiiko.

Yategeezezza ku ssimu nti yabadde ali mu kuziika e Terego East gy’akiikirira. Fred Mwesigye (Nyabushozi) yagezezzaako okuperereza babaka banne bakkirize okusisinkana boofiisa ba poliisi, nga buteerere ng’agamba nti baabadde balese emirimu gyabwe ne bajja nga bwe baayitibwa.

Kyokka Theodore Ssekikubo yamuwakanyizza n’agamba nti ensonga gye baliko si ya buntu bulamu, wabula kiri mu mateeka nti abakozi ba Gavumenti bwe baba bajja mu Palamenti bakulemberwa munnabyabufuzi abatwala. Oluvannyuma ssentebe yayabudde olutuula n’alagira boofiisa okukomawo ku Lwokubiri olujja nga November 20.

POLIISI ENOONYEREZZA KU MISANGO 112,527 Poliisi etegeezezza nti mu myezi esatu egiyise (July - October) esobodde okuweereza emisango 51,719 mu kkooti ku egyo 112,527 gye baanoonyerezaako.

Emisango 9,181 gyali gyekuusa ku nsonga za mukwano n’emisango egyekuusa ku baana. Mu birala poliisi by’esobodde okukola mulimu okuzimba ebifo omukuumirwa embwa eziketta e Nyeihanga ne Gomba, by’egasse ku bifo 65 ebibaddewo mu ggwanga lyonna. Ebikwekweto ebirwanyisa envuga embi okuli ekya ‘Fika Salama’ ne ‘Tweddeko’ byakolebwa era abaamenya amateeka abawera 72,740 ne baweebwa engassi.

Ku kyali kiragiddwa Poliisi eky’okuggya pikipiki ku crime preventers, Poliisi mu kiwandiiko baagambye nti piki zaali ziweereddwa ba crime intelligence Personnel, sso nga ba Crime preventers batwalibwa UPDF.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mag1 220x290

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi...

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi eyaleeta ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti aweereddwa obwa...

Bra1 220x290

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka...

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka z'emisono

Ritahpenny1 220x290

Akabaga k’amazaalibwa ga Ritah...

Ritah Penny bamukoledde akabaga k'amazaalibwa akamucamudde.

Lytobosswife4 220x290

Mukyala wa Lyto Boss asulirira...

Omuyimbi Lyto Boss yeesunga 'ssukaali' mukyala we asulirira kuzaala

Hazard333 220x290

Hazard asuubizza aba Chelsea

Hazard agamba nti bw'aliba avudde mu Real Madrid, ayinza okuddayo mu Chelsea.