TOP

Don Bahat akomyewo ku maapu.

By Musasi wa Bukedde

Added 15th November 2018

Don Bahat awangudde engule mu mpaka za baseerebu e South Africa ne yewaana “abangoba bakongojja…”

Bah3 703x422

Don Bahat ku ddyo n'engule gye yawangudde

Don Bahat (Bahat Lubega) omu ku bavubuka abamanyiddwa okulya obulamu buli lwe bayingirawo mu ggwanga n’okutuusa kati akyanyumya ku ngule y’omuli w’obulamu asinga ettuttumu (Most Popular socialist) gye yawangudde mu mpaka za Bannayuganda ababeera e South Africa  eziyitibwaStarqt Awards 2018’

Amangu nga bakamukwasa engule ye, Bahat yasinzidde ku mukolo ogwabadde ku Bedford View City Hall mu kibuga Johannesburg  nategezza nti  ye ssaawa ababadde bamwogerera nti yagwamu okusirika kubanga akomyewo na nkuba mpya.

“omwaka oguwdde nafunamu ebizibu e Zambia gye naali nkolera naye embeera kati yatereera era bizinensi zange zitambula bulungi ne nfuna n’obudde obulya ku bulamu ate nkomeddewo mu sitayiro.”

 atsha a ank ku kkono ne on ahat ku mukolo Katsha Da Bank ku kkono ne Don Bahat ku mukolo

 

Olw’okuba guno mulundi gwa kubiri oguddiring’ana nga awangula engule mu mpaka zino, Bahat agamba ku mulundi guno obuwanguzi agenda kubujjaguliza wamu n’abawagizi be ku mukolo ogutegekeddwa ab’ekibiina kye ekya ‘The money Team’ (TMT) mu December e Kampala era ekibiina kino akirimu ne;  Katsha Da Bank wamu ne Meddie Kingdom.

Okuwangula yamezze abavubuka babadde avuganya nabbo okuli; PK Biggs Danny, Derick Jaun Pius Nathan n’abalala

Ate abavubuka abalala abamanyiddwa okulya obulamu mu Kampala okuli; King Lawrence, Cameroon Gitawo, Kenneth Muyanja ne Shafik Katumba (Katsha Da Bank) bavuganyizza ku ngule y’omutandisi w’emirimu asinga (Best Entrepreneur).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...