TOP

Abayizi boogedde eyabookezza

By Musasi wa Bukedde

Added 15th November 2018

Abayizi boogedde eyabookezza

Hop2 703x422

EKITONGOLE ekiketta munda mu ggwanga ekya ISO kiyingidde mu kunoonyereza ku baayokezza ekisulo ky’essomero lya St. Bernards S.S Mannya ne mufiiramu abayizi n’emirambo ne gisiriira. Akulira ekitongole kino Col. Frank Kaka Bagyenda yasoose kutuuka ku ssomero lino ku Mmande, oluvannyuma n’ayungula ttiimu y’abaserikale b’akola nabo naddala bambega okunoonyereza ku kyavuddeko omuliro.

Col. Kaka yayogeddemu ne Minisita w’obutebenkevu Gen. Elly Tumwine ne bakkaanya okukola ekisoboka kyonna okuzuula abaasibidde abayizi ba S.3 mu kisulo ne babakumako omuliro. Bambega ba ISO mu bye batandikiddeko kwe kunoonyereza ku ntalo zonna ezibadde munda mu ssomero n’ebweru waalyo eziyinza okuba nga zirina akakwate ku butemu obwakoleddwa.

Banoonyereza ne ku bukuubagano obubadde mu bayizi, abasomesa n’amasomero amalala kw’ossa ensonga endala zonna eziyinza okuba n’akakwate n’omuliro guno. Abatemu okusooka okusiba amakufulu ku luggi lw’ekisulo ky’abayizi ba S.3 kye baayokezza kye kyesigamiziddwaako okukakasa nti omuliro guno tekaabadde kabenje wabula gwakumiddwa bukumwa era abayizi 10 ne bafa ate abalala ne baweebwa ebitanda nga bakyajjanjabwa mu malwaliro okuli Kaliisizo, Kitovu, Masaka, Mulago n’awalala.

Abamu ku bayizi abaafunye ebisago ebitonotono baasiibuddwa eggulo nga bassuuse. Okwekebejja okuzuula obujulizi obw’ekikugu obulaga nti omuliro gwabaddemu amafuta ga petulooli kyekimu ku byakoleddwa okwongera okukakasa nti gwakumiddwa batemu abaabadde n’ekigendererwa ekiruke obulungi okutta abayizi.

BATTOTTODDE EBYABADDEWO Musa Nyanzi omu ku bayizi abaasimattuse nga kati yasiibuddwa okuva mu ddwaaliro e Kaliisizo yategezeza nti munaabwe Rashid Bossa eyabdde asula okumpi ne ddirisa ye yasoose okuleekaana nti; “Bannange ani atuyiiridde amazzi?” Nga n’eddakiika tennawera, omuliro gwabaluse omulundi gumu era ekyazzeeko kuwulira misinde ng’abantu badduka!

‘’Kaabadde kaseera kazibu nnyo era oyo Bossa omuliro gwaamwokezza nnyo ebigere kuba kuba amafuta gaabadde gamuyiikidde mu bigere okusooka kwossa munnaffe omulala Frank Kamanda naye ali mu ddwaaliro e Kitovu ne Godfrey Arinaitwe ono omuliro gwamwookeza omutwe kuba omutwe gw’abadde atunuza ku ddirisa era ebintu bye twayita amazzi gaali amafuta!” Nyanzi bweyagaseeko.

David Muyombya nye eyasimattuse agamba nti baakoma kuwulira nga munnaabwe Rashid Bossa agamba waliwo abatuyiiridde amazzi kyokka kumpi yali yaakakimala mu kamwa olwo omuliro ne gutandika ne bawulira emisinde egidduka olwo buli mwana naataandika okunoonya w’afulumira okutaasa obulamu; wabula eky’ennaku nga n’enziggi zisibiddwaako ekkufulu.

Bosco Ssekyanzi nga naye yasiibuddwa okuva mu ddwaaliro e Kaliisizo yagaambye nti omuntu eyabakumako omuliro emisinde baawulira giddukira manju w’ekiziimbe ekyali kikutte omuliro era bateebereza nti baabuuka olukomera lw’akatimba oluli ku ssomero ne beeyokya ensiko. Abayizi abaasimattuse olunwe nabo balusonga ku bayizi bakyewaggula abaali bagobeddwa mu ssomero kubanga baalabwako akawungeezi nga bazze okulaba omupiira munda mu ssomero.

Bagamba nti waaliwo akakuubagano ak’amaanyi wakati w’abayizi bano aba S.4 abaali bagobeddwa n’abayizi ba S.3 abaayokeddwa ng’abaagobwa balumiriza aba S.3 nti be baabaloopa. ‘’Kitwewuunyisa abaana aboogerwaako abo, tekuli noomu yadduukirira nduulu ng’omuliro gukutte, so ng’abantu okuva mu katawuni ke Mannya bonna baggwaayo okuyamba” Omu ku bayizi bwe yagambye.

Nti abayizi bano bwe baagobwa baasigala bapangisa akazigo mu katawuni k’e Mannya, nti era abantu mu kudduukirira, abayizi bano baali mu kazigo kaabwe tebaanyega. Kigambibwa nti baanyumizaako abayizi b’essomero eddala nti balina okwesasuza ku bayizi ba S.3 era ensonga ne zimanyibwa ne ku ssomero, wabula abaliddukanya ne batafaayo.

SSENDYOWA AZIIKIDDWA Gyabadde miranga nabiwoobe mu kuziika omwana Brian Ssendyowa omu ku baafiiridde mu muliro ogwakutte essomero lya St.Benards Mannya ss mu gombolola ye Kifamba e Rakai.

Ssendyoowa yaziikiddwa ku kyalo Kitonto mu ggombolola y’e Ddwaaniro mu Rakai wakati mu bakungubazi okwambalira abakulira essomero lino okubeera abalajajjavu ku byokwerinda by’abaana n’okusaba gavumenti ku luno okufulumya lipoota ku muliro guno n’ekyokya massomero ekizze kibaawo.

Rev.Fr. Johnbaptist Serugo ow’e Kigo kye Buyamba yatadde akaka eri Gavumenti okulemwa bulijjo okufulumya lipoota ezikwata ku kyokya masomero ekizze kibaawo mu ggwanga . Ssentebe wa Rakai Robert Benon Mugabi yakaayuukidde abakulira essomero lino olw’okuba abalagajjavu ku byokwerinda by’abaana ekyavuddeko okufiirwa abaana n’asaba n’azadde okufaayo ku nkuza y’abaana baabwe okwewala okukuza emiyaayu egikola ebikolobero nga kino.

Omubaka omukyala owa Rakai Juliet Kinyamatama yategezeza nti abaayokeza abaana abantu ba kitundu Ye taata w’omwana, Luka Mukalazi yasabye Gavumenti okubayambako ng’abazadde abafiiriddwa okubaweererera ku baana baabwe abasigadde kuba ng’abazadde essuubi libaweddemu ery’okuwerera abaana olw’ekikangabwa kino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pass 220x290

EBIKULU MU BUKEDDE W'OLWOKUBIRI...

Bawambye omwana omulala ne basaba obukadde mukaaga; bamusse omulambo ne bagusiba mu kadeeya.

Kizito 220x290

Basajjabalaba alaalise okulwanyisa...

NNAGGAGGA Hassan Basajjabalaba asinzidde mu kuziika Charles Muhangi n’alabula abaggagga abaagala okutwala ebintu...

Rite6 220x290

Poliisi ekubaganye n'aba takisi...

Mu kanyoolagana akaabaddewo omuserikale eyategeerekeseeko erya Kasirye yakubiddwa ejjinja era ono yatwaliddwa...

Lekwa 220x290

Muhangi afudde akkirizza okuliyirira...

Ssentebe w’e Nsangi, Abdul Kiyimba yasabye Ruhakana Rugunda okugonjoola eby’ebizimbe ebikaayanirwa kubanga bwe...

Nyo 220x290

Ebigambo bya Nnamwandu ebikaabizza...

Nnamwandu wa Muhangi, Patience Mbabazi yakaabizza abakungubazi bwe yalombozze embeera enzibu gy’abadde ayitamu...