TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

By Musasi wa Bukedde

Added 15th November 2018

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Muh1 703x422

ABASUUBUZI abakolera mu kizimbe bya Qualicel Bus Terminal (kati ekiyitibwa Horizon City) ne Nabukeera (Bazannya n’Engo) basattira olw’obukwakkulizo omugagga Charles Muhangi bwe yabataddeko. Mu bumu ku bukwakkulizo mulimu ak’okusooka okusasula akakadde kamu n’emitwalo 20 (1,200,000/-) ez’okulwawo okwewandiisa eri kkampuni ya Horizoni Coaches (eddukanya ebizimbe bino kati) n’okusasula ssente z’obupangisa za myezi ebiri (ogwa November ne December) awatali kwekwasa nsonga yonna.

Bino byabadde mu kiwandiiko ekyafulumizidwa Muhangi ku Lwokubiri akawungeezi nga kiragira abasuubuzi ababadde tebanneewandiisa okukikola mu bwangu. Muhangi bwe yali yaakatwala ebizimbe abasuubuzi beewandiisa nga baasasula 200,000/-.Yabalabudde nti okw’ewandiisa okwe nnaku essatu nga kukoma leero nga November 15, 2018 era anaalemererwa okwewandiisa mu kiseera kino waakusasula 5,000,000/- bwanaaba akyayagala okusigaza edduuka lye.

Ekiwandiiko kye kimu era kyalabude abasuubuzi obutasussa November 15, okusasuliramu ssente z’obupangisa n’okwewandiisa nga anaalemererwa waakuggyibwako edduuka obutasukka November 18. Ekiwandiiko kino kyasattizza abasuubuzi ne bayita olukiiko olw’amangu olwatudde ku kizimbe kya Qualicel waggulu mwe baasabidde ebitongole bya Gavumenti okuli; KCCA, minisitule ya Kampala, ey’ebyobusuubuzi ne kkooti okuvaayo babataase ku kutulugunyizibwa kw’abagagga ababafuukidde ekizibu mu kibuga.

Erick Lumansi, omu ku basuubuzi abakolera mu Qualicel yawanjagidde baminisita okuli owa Kampala Beti Kamya, ow’ebyobusuubuzi Amelia Kyambadde okuvaayo bayingire mu nsonga zaabwe kuba ebikolebwa byakubatulugunya. “Tetugenda kuddamu kusasula mugagga yenna ssente okuggyako ng’azze n’obukakafu obuva mu bitongole bya Gavumenti okuli kkooti, KCCA oba minisitule zaayo okuli eya Kampala oba ebya mayumba kubanga tukooye okubuzaabuzibwa”, Lumansi bwe yategeezezza. Yawagiddwa Joan Ndagire eyategeezezza nti baasooka ne basasula 200,000/- ku mulundi ogwasooka Muhangi lwe yeddiza ekifo kino.

Kyokka waayita mbale ne bamusiguukulula olwo ne basigala mu bbanga. Abasuubuzi abalala okwabadde; Alice Nanyonga baasimbidde ekkuuli eky’okuddamu okubasasuza ssente z’obupangisa nga bagamba nti Muhangi yagenze okuwamba ekifo kino nga November 5, ng’abasinga baamaze dda okusasula Drake Lubega ssente z’obupangisa.

ABAKULIRA ABASUUBUZI BA AKEEDI BAVUDDEYO Abakulira ekibiina kya “Kampala Arcader’s Advocacy Forum (KAAFO)” omwegattira abasuubuzi abakolera mu akeedi z’omu Kampala boogedde; Hussein Kato akulira KAAFO yeewuunyizza engeri ebitongole bya Gavumenti okuli; kkooti gy’agamba nti ebadde wakati mu misango egizze giroopebwa abagagga bano ku nsonga z’ekifo kino ne KCCA gyalumiriza okuwa abagagga bano liizi y’okukulaakulanya ekifo okusirika obusirisi ng’abasuubuzi banyigirizibwa.

Yagambye nti abasuubuzi bagenda kwerwanako nga bayita mu makubo agenjawulo omuli amateeka,okuwandiikira abagagga abakwatibwako ensonga eno n’okutuukirira ofiisi za Gavumenti ezenjawulo okukakasa ng’omusuubuzi wa wansi tanyigirizibwa.

MUHANGI ABAANUKUDDE Charles Muhangi bwe yatuukiriddwa ku nsonga z’ekiwandiiko kino yaggumizza ebiri mu kiwandiiko nga bw’agamba nti; “Abo bali mu mboozi zaabwe kuba bateekedwa okusasula ssente zange kubanga bantu bakulu abasobola okwawula ekituufu ku bulimba.

Era anaaba tasobodde kukikola agenda kuba nga yeegobye yekka singa ebbanga lye nabawade liggwaako”. Muhangi agugulana ne bagagga banne okuli, Drake Lubega ne Mansoor Matovu Yanga nga buli ludda lulumiriza nga bwe bali bannannyini abatuufu ab’ettaka n’ebizimbe, ekitabudde abasuubuzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Taata alumirizza bawala be okumukuba...

Taata alumirizza bawala be okumukuba

Tip1 220x290

Sharif Bogere asomesezza abazannyi...

Sharif Bogere asomesezza abazannyi b'e bikonde e Lugogo

Kab2 220x290

Kabushenga bamwongedde ekisanja...

Kabushenga bamwongedde ekisanja ky'okutegeka emisinde gya Kabaka

Fot1 220x290

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu...

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu mu Hockey

Waliyoomutweogulumiramuliisowebuse 220x290

Engeri ez’enjawulo obulumi bw’omutwe...

Manya ekika ky'omutwe ekiranga endwadde ekutawaanya n'eky'okukola nga tonnatuuka mu ddwaaliro okugukkakkanya