TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

By Musasi wa Bukedde

Added 15th November 2018

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Sev2 703x422

PULEZIDENTI Museveni asisinkanye abagagga okuli Drake Lubega, Mansoor Matovu Yanga ne Charles Muhangi n’abakakasa nti mu nnaku musanvu ajja kuba amaze okugonjoola ensonga zaabwe ezibakaayanya. Ensisinkano eno yabadde mu maka ga pulezidenti e Ntebe.

Pulezidenti yagumizza abagagga bano nti buli kimu ekibakwatako akimanyi era agenda kwebuuza ku bannamateeka be abasalirewo eggoye mu nnaku musanvu zokka okuva kati n’ekyo kiggwe. Ensisinkano eno yeetabiddwaamu ne Ssaabawolereza wa Gavumenti Williams Byaruhanga, pulezidenti n’abuulirira abagagga bano obutaddayo mu kkooti wadde nga nkulu nnyo mu by’okutaputa amateeka, wabula bamaze emyaka 13 nga bawozakyokka nga tebatuuka ku kukkiriziganya.

Wadde embeera yabadde bweti, naye abagagga bano bonna abasatu baavuddeyo nga basanyufu kubanga buli omu alowooza nti bajja kuyambibwa okusobola okumalawo endoolito zino. Abagagga bwe baatuukiriddwa okukakasa oba kituufu baasisinkanye Pulezidenti ku Lwokubiri ekiro ne bakkiriza nti kituufu bamusisinkanye naye ebyabaddeyo byabadde byabwe byakyama.

Abasuubuzi basanyukidde ensisinkano eno ne bagamba nti baagala eveemu ebibala kubanga enkaayana wakati w’abagagga bonsatule zitaataaganyizza nnyo emirimu gyabwe ne batuuka n’okufiirizibwa ensimbi nnyingi. Baawadde eky’okulabirako nti wakati mu nkaayana zino ezimaze ebbanga, wabaddengawo oluusi lwe bawalirizibwa okusasula ensimbi z’obupangisa ez’emirundi ebiri naye gye biggweera nga bafiiriddwa kubanga oluusi babeera basasudde muntu mukyamu.

Ssentebe w’abagagga b’omu Kampala aba Kwagalana, Godfrey Kirumira yagambye nti kituufu bakitegeddeko nti pulezidenti yasisinkanye abasuubuzi bano era kino omukulembeze w’eggwanga kye yakoze kirungi kubanga ye ng’omukulembeze w’eggwanga bw’avaayo okutabaganya abasuubuzi be tewaba nsobi yonna ebeera ekoleddwa.

Yayongeddeko nti n’eggulo baasisinkanye minisita w’obutebenkevu Gen. Elly Tumwine ng’akulira abagagga b’omu Kampala okulaba bwayinza okuyamba abasuubuzi bano n’amukakasa nti ensonga eno pulezidenti agikolako era buli kimu kigenda kuggwa mu bwangu. Omwogezi w’ekibiina ekigagtta abasuubuzi ekya KACITA, Issa Ssekito yagambye nti bwe kibeera kituufu nti pulezidenti yasisinkanye abagagga bano kirungi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...