TOP

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica.

By Martin Ndijjo

Added 15th November 2018

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Pi3 703x422

Kenzo ku kkono ne Apass

OLUTALO lw'ebigambo lubaluseewo wakati w'abayimbi Apass (Alexander Bagonza) ne Eddy Kenzo.

Entabwe evudde ku babiri bano okussibwa mu mutendera gwe gumu okuvuganya ku ngule y’omuyimbi omusajja asinga okwesala emisono (Most stylish male artiste) mu mpaka z'eby'emisono eza  Abryanz Style & Fashion Awards 2018 ezigenda okubeera ku Serena hotel nga December 7, 2018.

Bano tebalinze bawagizi kulonda ani asinga, batandikiddewo kwerumba na kwejerega nga buli omu agamba munne bw’atamanyi bya misono era bakoze nsobi okumuteeka mu mutendera guno.

 okuva ku kkono ik ameica xodus ne eenie unter okuva ku kkono; Fik Fameica, Exodus ne Beenie Gunter

 

Kenzo ye yasoose  okuwandiika ku mukutu gwe ogwa instagram obubaka obunafuya Apass.

Olubirabye bino, Apass ye asazzeewo  kwekwatta katambi  mwalumbidde Kenzo gwayise munnakyalo atamanyi bya misono.

Mu katambi kano akasaasaanye ku mikutu gya yintanenti giyite ‘social media’, Apass agenze mu maaso n’alumbira n’abayimbi abalala bwe bavuganya ku ngule yeemu okuli; Fik Fameica gwayise makanika era nti naye eby’emisono byamugwa kkono, Exodus ssaako ne Beenie Gunter.

Akomekkereza agamba nti  bwe baba nga bagezi bawanikirewo kubanga agenda kubawangula baswale.

Kyokka abawagizi abamu balumbye Apass nga bagamba nti asuusizza okuwalampa bayimbi banne n’okwagala okubanafuya akole amawulire.   

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono